
Baatugambye okukyusa okuva ku TIN namba tutandike okukozesa NIN, njagala kumanya nkikola ntya (Flavia e Fort Portal)
Okuva nga 01 July 2025, Ekitundu ekyokuna eky’etteeka erirungamya enkungaanya y’omusolo erimanyiddwa nga Tax Procedures Code Act kirambika okukyusa okuva ku kukozesa ennamba y’omusolo emanyiddwa nga Tax Identification Number (TIN) esikizibwe ennamba y’endagamuntu emanyiddwa nga National Identification Number (NIN) oba eya bizinesi emanyiddwa nga Business Registration Number (BRN).
Abantu bonna abeewandiisa ku musolo bateekeddwa okuzza obujja ebibakwatako mu ngeri gye baawandiisibwa ku musolo nga badda ku kukozesa NIN eri abantu ssekinnoomu oba BRN eri bizinesi, ennamba z’essimu ze bakozesa, we basangibwa, ekika kya bizinesi gye bakola n’ebirala.
Abawi b’omusolo ng’ebibakwatako tebikwatagana na mbeera gye balimu balambikibwa system okusooka okubikyusa nga baakayingira mu akawunti zaabwe eza TIN bwe baba tebanneeyongerayo ku nsonga ndala ku kibanja kya URA.
Okuzza obujja ebikukwatako, yingira mu akawunti yo eya TIN ku kibanja kya URA ku www.ura.go.ug oba kyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi oyambibwe.
Okumanya ebisingawo, tutuukirire ku services@ura.go.ug oba ku nnamba y’essimu ettasasulirwa 0800217000, oba ku zisasulirwa 0323-444602/0323-444603, oba ku WhatsApp 0772140000.
Kityo e Mpererwe – Nina ekibira kyange eky’emiti gya kalitunsi, kituufu nti waliwo emisolo gye nina okusasula era gye giriwa?
Mwami Magembe, omuntu yenna akola emirimu egiggyibwamu ensimbi aba n’obuvunaanyizibwa okwewandiisa ku musolo oluvannyuma n’agusasula okusinziira ku nnyingiza ye. Nga ggwe asala emiti, URA tekuggyaako musolo mu kiseera w’ogisalira naye oteekeddwa okufuna olukusa okuva mu kitongole ky’ebibira, nga luno olusasulirayo ensimbi entonotono. Bw’otwala emiti egyo okugitundira awantu wonna, oteekeddwa okusasula omusolo eri URA okusinziira ku nnyingiza.
Okusolooza abantu abatono emisolo emingi, kibakolera kitya ng’abasinga tebawa musolo mu ggwanga?
Omusolo guggyibwa ku bizinesi n’abantu abalina ennyingiza entonotono, kw’ossa n’abo abalina ennyingiza eri waggulu. Mu mbeera eno, omusolo guwoozebwa okusinziira ku nnyingiza, ng’abo abalina ennyingiza entonotono basasula omusolo omusaamusaamu, kyokka abo abalina ennyingiza ey’amaanyi, basasula omusolo mungi ko.
Kamisona, njagala kumanya bwemba n’emmotoka yange nga mpangaalira bweru wa ggwanga, nkola ntya obutasasula musolo nga nkomawo?
Okusobola okuyingiza emmotoka gy’obadde nayo ebweru w’eggwanga nga togisasulidde musolo, oteekeddwa okutuukiriza obukwakkulizo buno wammanga:
- Olina okuba n’ebiwandiiko ebiraga nti ggwe nnannyini mmotoka eyo.
- Emmotoka eyo oteekeddwa okuba ng’obadde ogikozesa okumala ebbanga eritakka wansi wa myezi 12.
- Emmotoka eyo eteekeddwa okuba nga ya buyonjo (nga si nkozi ya mirimu)
- Paasipooti yo erina okulaga nti omaze emyezi egitakka wansi wa 12 ng’owangaalira mu ggwanga eryo.
Weetegereze: emmotoka eno bw’emala okuwandiisibwa n’oweebwa ennamba emmyufu, tolina kukyusa bwannannyini bwayo ng’ebbanga lya myezi 24 terinnayita.
Njagala kuwandiisa company yange ku musolo. Biki bye neetaaga okugiwandiisa?
Okuwandiisa company yo ku musolo, oteekeddwa okuba nga wagiwandiisa n’ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB) n’eweebwa ebiwandiiko okuli Certificate of Incorporation ne Company Form 20 (eyamanyibwa nga Company form 7). Ebiwandiiko bino ebibiri ng’ogasseeko ne TIN za ba dayirekita bye weetaaga okuwandiisa Company yok u musolo.
Tusaba mutukendeereze ku misolo ku kasooli kuba omulimi n’omusuubuzi ssente zituggwaako?
Omuntu yenna akola bizinesi yonna gy’aba asiimye nga mw’otwalidde n’okusuubula kasooli, n’akola etunzi erisukka obukadde 10 omwaka, aggyibwako omusolo okusinziira ku nnyingiza ye. Kyokka bw’aba nga tasussizza nsimbi ezo, taggyibwako musolo ku nnyingiza eba efuniddwa. Mu mbeera endala, kasooli atanagattibwako mutindo (ng’akyali mpeke) yasonyiyibwa omusolo gwa VAT.
Bwemba ntandise bizinesi yange nga nina TIN, nayo ngifunira TIN yaayo oba nkozesa yange ng’omuntu?
Bw’otandika bizinesi nga weesanze olina TIN, tekikwetaagisa kugifunira TIN ndala. Wano ky’okola, okyalira woofiisi yo ey’omusolo TIN yo n’ekolebwako enkyukakyuka (amendment of registration details), bizinesi yo n’egattibwa ku nnyingiza yo.
Omuntu alina obuyumba bwe obwabapangisa nga yennyingiza yokka, abeera alina kusasula misolo ki?
Omuntu yenna alina ennyumba z’abapangisa oba ekipangisibwa kyonna, ateekeddwa okusasula omusolo ku nsimbi nnyingiza eva mu bupangisa mu myezi gye bamala nga bakozesa ekipangisibwa ekyo, ng’omusolo guno gumanyikiddwa nga rental income tax. Bw’oba ng’ensimbi z’ofuna mu bupangisa tezisukka 2,820,000 teri musolo gukuggyibwako. Kyokka, singa oyingiza ensimbi ezisukka mw’ezo waggulu, okugeza 10,000,000, tufuna ensimbi ezo ne tuzikendeezaako 2,820,000, olwo ezisigaddewo neziggyibwako ebitundu 12 ku 100 (12%) ng’omusolo, nga bwe kiragiddwa wammanga:
Ennyingiza = 10,000,000
Ezitoolwako = 2,820,000
Eziggyibwako omusolo = 10,000,000 – 2,820,000 = 7,180,000
= 12% X 7,180,000
Omusolo ogusasulwa guli 861,600
Jjukira nti ebno ye’geri gye tubala omusolo ku bipangisibwa singa oba weewandiisa ng’omuntu ssekinnoomu.
Nalina bizinesi yange nga nagiwandiisa ku musolo, kyokka n’eggyibwawo mu kikwekweto kya Trade Order nga ebanjibwa omusolo. Kati nkola ntya obudde buno ku musolo ogwo ogubanjibwa?
Nga nannyini bizinesi, walina obuvunaanyizibwa bw’okussaamu litaani n’okusasula omusolo. Olw’okuba nga bizinesi yo yaggalwa tekiggyaawo buvunaanyizibwa bwo bwa kusasula musolo omukadde (mu kiseera mwe wakoleranga). N’olwekyo, nkusaba okyalire woofiisi yo ey’omusolo onnyonnyolwe ku musolo ogukubanjibwa, osasule ogwo ogukubanjibwa mu kiseera mwe wakoleranga. Naye olw’okuba bizinesi yaggalwawo, tegeeza aba woofiisi ku kusirisa TIN yo kubanga bizinesi yaggalwawo. Kino kya kukuyamba obutongera kukuweereza bubaka bukubanja musolo ku bizinesi eyo. Kyokka bw’onoddamu okukola ng’ofunye ekifo eky’enkalakkalira, yaakuzuukusibwa ogende mu maaso n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ku musolo.
No Comments yet!