
Singa kkooti ewa ekiragiro ky’okuliyirira omuntu ssente olw’okufiirizibwa kwe yafuna, ssente ezo muziwozaako omusolo?
Omuntu bw’aba afiiriziddwa n’afuna ekiragiro kya kkooti okumuliyirira ensimbi, taggyibwako musolo ku nsimbi zimusasuddwa. Kino kiri bwe kityo kubanga ensimbi ezo aba taziggye mu kukola bizinesi ate ng’omusolo guwoozebwa ku nnyingiza eggyibwa mu bizinesi oba okukozesebwa.
Lwaki omuntu gyakoma okusasulwa omusaala omungi n’omusolo gye gukoma okubeera waggulu. Ekigendererwa kyammwe kya kulaba nga mumwavuwaza oba temwagala agaggawale nnyo?
Enkola y’okuwooza omusolo omutonotono ku nnyingiza entono wamu n’omungi ko ku nnyingiza ennene nkola ya bwenkanya emanyiddwa nga progressive tax system. Ekigendererwa mu kino kwe kuba nti abafuna ekitono basasula kitonotono ne balema kunyigirizibwa, kyokka abafuna ekingi ne basasula omusolo mungi ko okussaawo obwenkanya mu nnyingiza.
Nina bizinensi gye natandika ku nkomerero y’omwaka oguwedde naye sifunanga angerekera musolo. Singa bankwata nga sinasasula era banvunaana oba nina kulinda kungerekera.
Bw’otandika bizinesi, olina obuvunaanyizibwa okugiwandiisa n’ogifunira erinnya okuva mu kitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB), oluvannyuma n’ogiwandiisa ku musolo mu URA ng’okyalira woofiisi oba okusinziira awo wooli n’oweebwa TIN. Waliwo obuvunaanyizibwa obujja n’okuweebwa TIN okuli okukuuma ebiwandiiko, oluvannyuma lwa buli mwaka kikuyambe okussaamu ennyanjula oba litaani n’okusasula omusolo, w’ofunira omukisa okwegerekera. N’olwekyo, tolina kulinda muntu yenna kukugerekera.
Nga URA mulinayo emirimu gy’ekiseera ekitono ng’omwezi ogumu oba ebiri egisobola okukolebwa ffe abayizi abali ku University.
Enkola ya URA nnambulukufu ku mirimu nga gino girangibwa mu mikutu gy’amawulire okuli empapula, okuyita ku kibanja kya URA n’emikutu gi mugattabantu. Ebiseera ebisinga emirimu egirangibwa giweebwa abo ababa bamalirizza emisomo gyabwe okusingira ddala ku ddaala lya yunivasite. Kyokka, waliwo enteekateeka y’okutendeka abayizi abakyali ku yunivasite emanyiddwa nga internship. N’olwekyo, osobola okussaamu okusaba ku nteekateeka eno.
Nga tugenda okumalako omwaka gwebyensimbi, ng’omuwa w’omusolo otuwa magezi ki ku ngeri gye tulina okweteekateekamu?
Ng’omwaka gw’ebyensimbi guggwaako, abawi b’omusolo bakubirizibwa okussaamu litaani za bizinesi zaabwe nga kuno kwe kuli n’ez’ennyingiza eggyibwa mu bipangisibwa (rental income) ezitali za nkomeredde, ez’omusolo ku nnyingiza (provisional returns) eri abo abagoberera omwaka gw’ebyensimbi ogutandika mu July. Mu mbeera y’emu, abagoberera omwaka ogwa bulijjo ogutandika mu January bakubirizibwa okussaamu litaani z’enkomeredde (final returns). Litaani zino ziteekeddwa okugoberezebwako okusasula omusolo nga bw’oba weebaliridde. Mu mbeera y’emu, waliwo litaani z’omusolo ogusasulwa buli mwezi okugeza omusolo gwa VAT, ogw’omusaala gw’abakozi (PAYE), ogwa Local Excise Duty n’emirala. N’olwekyo, tuukiriza obuvunaanyizibwa bwo, oleme kuweesebwa magoba na ngassi.
Kituufu nti omuntu bwe bamulangirira mu lubu lwa baavu, abeera talina kuddamu kusasula musolo gwonna.
Omuntu alangiriddwa mu lubu lw’abaavu lunkupe aba takkirizibwa kukola bizinesi mu mateeka, n’olwekyo, taba na nnyingiza yonna. N’olwensonga eyo, aba taggyibwako musolo.
Ng’ekitongole kya URA n’obuwombeefu nsaba mutaase Bannayuganda abalemedde e Cambodia kuba bawi ba musolo.
Obuvunaanyizibwa bw’ekitongole kya URA kwe kukungaanya omusolo. Obuvunaanyizibwa bw’okukola ku nsonga za banna Uganda abawagamidde mu mawanga amalala bwa minisitule y’amawanga amalala n’ekitebe kya Uganda ekitwala ebitundu omusangibwa embeera eyo.
Bwemba nga nina TIN ne nneesanga nga bizinesi tekyakola nemugisirisa, wabula oluvannyuma ne nziramu ne nfuna bizinesi, nkola ntya?
Bwe weesanga nga TIN yo yasirisibwa olw’okuggwaawo kwa bizinesi yo kyokka ne weesanga ng’ozzeemu okukola, okyalira woofiisi ya URA ekutwala TIN yo n’eddamu n’ezuukusibwa, olwo emirimu gyo ne gigenda mu maaso.
No Comments yet!