
Nkola ntya singa nkizuula nga ekitongole kye nkolera, kinsalako ssente za NSSF kyokka nga tebaziweereza?
Kya tteeka omukozesa bw’aba alina abakozi ab’omuwendo gwonna okussa ebitundu 10 ku 100 (10%) eby’omusaala, olwo omukozi n’assaako ebitundu 5 ku 100 (5%) mu kittavvu ky’eggwanga ekya NSSF n’ekigendererwa ky’okuganyula omukozi ng’awummudde ku mulimu. Omukozesa bw’atagattako mutemwa gwe, kino aba azzizza omusango ogumuviirako okusasuzibwa engassi. N’olwekyo, omukozesa wo bw’aba tataddeeyo mutemwa gwe, okubirizibwa okwekubira enduulu eri ekitongole kino ku nnamba; 0800286773, ojja kuyambibwa.
Misolo ki gye nina okusasula nga nkyusa enkyapa kuba waliwo bakayungirizi abatuggyako ssente ze tutategeera.
Bw’oba okuyusa obwannannyini bw’ekyapa, oteekeddwa okusasula omusolo gwa Stamp Duty ku bitundu 1.5 ku 100 (1.5%) eby’omuwendo omubalirizi wa gavumenti omutongole (government valuer) gw’aba abaliridde mu ttaka eryo. Ekyokulabirako, singa omubalirizi wa gavumenti alaga nti ettaka lya bukadde 10, omusolo gubalirirwa bwe guti wammanga:
Omuwendo gw’ettaka: 10,000,000/=
Omusolo ogusasulwa: 1.5%
= 1.5/100 X 10,000,000 = 150,000/=
N’olwekyo, omusolo ogusasulwa = 150,000/=
Ndi mukazi munaku eyeenonyeza fiizi za bamulekwa nga nkola emirimu gya lejjalejja egyokutunda enku. Kyokka abawooza b’omusolo banumbye mbu sinasasula musolo gwe batangerekerangako. Kati bannange omuntu akole atya?
Bw’oba okola bizinesi yonna omuva ennyingiza, okubirizibwa okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo okulaga ennyingiza yo. bw’eba esukka obukadde 10, awo we tutandikira okubalirira omusolo gw’oba olina okusasula. Jjukira nti ng’oggyeeko URA, gavumenti y’ekitundu mw’okolera olina okugiwaayo ensimbi okuweebwa layisinsi okukolera awo wooli.
Kamisona weebale kutuwabulanga bulijjo era mpa obujulizi ng abwe neerwanako ku bawooza abaali bambala omufuulo ku musolo gwa Local Service Tax. Nakalambira ne mbajjirayo n’amawulire ga Bukedde olwo ne balyoka bakyusaamu mu bye baali babala.
Nkwebaza okujjumbira okugoberera akatuuso kano mu lupapula lwa Bukedde buli Lwakusatu. Nga URA, tweyama okwongera okusomesa abawi b’omusolo ku nsonga zonna ezikwatagana n’omusolo okuyita mu lupapula luno ssaako n’emikutu emirala.
Nsaba mukirowozeeko ku kyokusaba omusolo ku ba Paasita abali ku nguudo mu kibuga kuba balina ennyingiza ya buli lunaku, baleeta akalippagano mu kibuga n’omujjuzo ne basiikiriza ne bizinensi zaffe, kyokka ne mutabaggyako musolo.
Obuvunaanyizibwa bwa URA kwe kugereka n’okukungaanya n’okuwa embalirira ku musolo ogukungaanyiziddwa. Etteeka ly’omusolo ku nnyingiza lirambika nti ennyingiza ku masinzizo yassibwako obuweerero ku musolo. Kino kiri bwe kityo kubanga ennyingiza eno eba tevudde mu kukola bizinesi za kufuna magoba, ng’eno ye nsonga lwaki ensimbi ezo gavumenti yaziwa obuweerero. Kyokka amasinzizo bwe gafuna ennyingiza okuva mubintu ng’amasomero, leediyo, TV ebifo ebipangisibwa n’endala, ennyingiza eyo teyaweebwa buweerero, era eggyibwako omusolo. N’olwekyo, tewannabaawo kawaayiro ka kuggya musolo ku nnyingiza ya mubuulizi wa kigambo kya katonda yenna, ebbanga ly’amala ng’agifuna nga kiweebwayo.
Naggulawo TIN ne URA omwaka oguwedde, kyokka buli kaseera mumpeereza obubaka nga mwagala nsasule emisolo egyayita.
Buli lwe weewandiisa ne URA n’ofuna TIN, oba olina obuvunaanyizibwa bw’okutuukiriza ku nsonga z’omusolo okugeza okukuuma ebiwandiiko, okuteekateeka n’okussaamu ennyanjula n’okusasula omusolo bwe wabaawo ennyingiza esukka obukadde 10 mu mwaka. Bw’oba ofunye TIN n’otafaayo ku buvunaanyizibwa buno, URA ekujjukiza okubutuukiriza ng’ekuweereza obubaka bw’okusasula omusolo mu kimanyiddwa nga default assessment. Nkusaba okyalire woofiisi ya URA enkolagana eno eddizibwe bujja.
Singa tukung’ana abawagizi b’omuntu eyeesimbyewo ne tumusondera ssente za kampeyini era tulina okuziweera omusolo.
Ensimbi ezisonderwa omuntu mu ngeri yonna teziggyibwako musolo kubanga omuntu w’atuuka okuzisonda, zitwalibwa okuba ng’eba nnyingiza ye eba yaggyibwako dda omusolo. N’olwekyo, ng’abawagizi ba munnabyabufuzi, bwe mumusondera ensimbi teri musolo gwe muteekeddwa kusasula.
Bwemba nnyingiza pikipiki mu ggwanga, waliwo ekkomo ku myaka nga
bwe kiri ku mmotoka?
Bw’oba oyingiza emmotoka mu ggwanga, ekkomo lyassibwawo ku mmotoka ezaakolebwa obutasukka myaka 15 emabega. Kyokka bwe kituuka ku pikipiki, tewali kkomo lyassibwawo ku kuziyingiza mu ggwanga.
No Comments yet!