
Omuntu bwawangula ssente okugeza mu misinde, nazo muziggyako omusolo?
Omuntu bw’akiikirira Uganda mu mpaka z’emizannyo (sports competition), ensimbi n’ebirabo by’aba awangudde mu ngeri eno tebiggyibwako musolo okusinziira ku Kitundu 21 eky’etteeka ly’omusolo ku nnyingiza (Income Tax Act)
Mugezaako okunoonyereza lwaki abantu tebakyayagala kuwa musolo? Abamu tulaba ng’emisolo egitatugasa.
Okuwa omusolo buvunaanyizibwa bwa buli muntu afunye ennyingiza eggyibwako omusolo mu Uganda. Ensonga nnyingi eziviirako abantu obutaagala kuwa musolo ng’ezimu ku zo kuliko obutamanya mateeka ga musolo, obwagazi bw’abantu okubeera n’obugagga obw’amangu, okulowooza nti omusolo tegutuukiriza buvunaanyizibwa bwagwo kimala n’ensomnga endala nnyingi. Kye tusinga okukubiriza abawi b’omusolo kwe kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe kubanga lino ly’ekkubo lyokka eggwanga mwe lisobola okuyita okweggya mu nvuba y’okwesigama ku buyambi bw’amawanga ga nnaggwadda.
Kiva ku ki okubeera nga tulina bizinesi ezigwa mu ttuluba lye limu mu nnyingiza era nga tukolera mu kitundu kye kimu kyokka ne tusasula omusolo ogw’enjawulo?
Buli lw’otandika bizinesi, oteekeddwa okugiwandiisa mu mateeka. Oluvannyuma lw’okugiwandiisa, okubiriziibwa okukuuma ebiwandiiko byayo okuli ennyingiza ensaasaanya n’ebiwandiiko ebirala, oluvaannyuma weebalirire mu musolo ggwe kennyini gw’olina okusasula mu kimanyiddwa nga self-assessment, osseemu ennyanjula oba litaani, olwo osasule omusolo. Ensonga lwaki bizinesi zisasula omusolo ogw’enjawulo kwe kuba nti ennyingiza n’ensaasaanya yaazo eba ya njawulo newankubadde nga zisangibwa mu kitundu kye kimu.
Ku nsonga y’ekisonyiwo ku musolo, amagoba n’engassi ebyassibwa ku bizinesi y’omuntu oluvannyuma lwa 30 June 2024, nabyo mubiwa ekisonyiwo?
Newankubadde ekisonyiwo kino kyassibwawo ku musolo ogubanjibwa omuntu okutuuka nga 30 June 2024, amagoba n’engassi ebyassibwa ku musolo ogwassibwako ekisonyiwo okuva lw’otandise bizinesi yo okutuuka nga nga 30 June 2024, era byaweebwa ekisonyiwo. N’olwekyo, omuntu yenna bw’aba ng’abanjibwa omusolo okutuuka nga 30 June 2024, bw’asasula omusolo ogumubanjibwa nga 30 June 2026 terunnayita, wa kusonyiyibwa amagoba n’engassi.
Bwe sikkiriziganya na musolo gungerekeddwa akulira woofiisi ya URA, nneekubira wa enduulu?
Bw’otakkaanya na musolo gukugerekeddwa, olina eddembe ly’okwemulugunya, obutasukka nnaku 45 nga waakaweebwa assessment eyo. Gino wammanga gye mitendera mw’oyita okwemulugunya.
- Kyalira ekibanja kyaffe ura.go.ug
- Yingira mu akawunti yo eya TIN. Wano oteekeddwa okuba ng’olina TIN yo ne paasiwaadi
- Nyiga ku objections with liability nga wano w’osobola okussizaamu okwemulugunya ku musolo ogukugerekeddwa.
- Yingizaamu ebyetaagisa mu ffoomu ekuweereddwa oluvannyuma obubaka obwo obuweereze.
Osuubira okuddibwamu obutasukka nnaku 90 ku nsalawo yaffe ku kwemulugunya kwo.
Kintu Bulasio– Bunnamwaya, Ensonga ze twawulirako ez’okulekera awo okukozesa TIN esikizibwe Ndagamuntu yakoma wa?
Mwami Kintu, tukwebaza obujjumbize ku nsonga y’okutambula n’ekumanya ebikwata ku musolo mu Uganda. Mu nnongoosereza z’omusolo mu mwaka gwa 2025-2026, mwassibwamu ekiragiro ky’okukyusa okuva ku kukozesa TIN okudda ku kukozesa ennamba y’endagamuntu (NIN). Kaweefube w’enkyukakyuka eno agenda mu maaso kubanga endagamuntu ennamba zino zigabwa ebitongole bya njawulo (NIN egabibwa kitongole kya NIRA ate nga TIN egabibwa URA). N’olwekyo tugenda mu maaso mu kussa enkyukakyuka eno mu nkola, era mu kiseera ekitali kya wala kino kya kutandika okugobererwa.
Enkola ya sitampi ku byamaguzi eya DTS bwe sigikozesa mpeesebwa ngassi ki?
Enkola ya sitampu ku byamaguzi eya Digital Tracking Solution (DTS) yasabuukululwa mu mwaka 2019 n’ekigendererwa ky’okukuuma omutindo gw’ebyamaguzi. Wano, twakwatagana n’ekitongole ky’omutindo ekya UNBS mu kaweefube w’okuyamba abakozesa ebyamaguzi ebyo obutaweebwa bicupuli. Kkampuni yonna efulumya ebyamaguzi ebyalondobebwayo nga kuno kw’otadde n’abo ababiyingiza mu ggwanga okuva mu mawanga amalala bateekeddwa okussa sitampu ezo ku byamaguzi nga tebinnayingira mu katale. Omuntu oba kkampuni yonna eremererwa oba egaana okussa sitampu zo ku byamaguzi, singa gugikka mu vvi esasuzibwa engassi ya bukadde 50. Mu mbeera y’emu bw’ossa sitampu ku kyamaguzi kyonna kyokka n’otagikwasaganya na system yaffe (activation), osasuzibwa engassi ya bukadde 20.
Njagala okumanya omusolo gwa import duty ogw’ebintu ebyenjawulo kinnyambe okutegeera omusolo omutuufu gw’enteekeddwa okusasula nga zinatandika kusuubula bweru w’eggwanga?
Bw’oba oyagala okumanya embala y’omusolo ku bintu eby’enjawulo by’oyingiza eggwanga, kyalira ekibanja kyaffe ku www.ura.go.ug, onyige ku Imports and Exports. Oluvannyuma onoonye awali Customs Valuation nga wano w’olambikibwa ku ngeri gye tuggya omusolo ku byamaguzi eby’enjawulo.
No Comments yet!