
Ku nkola ya EFRIS, mwatugambye nti ffe abapangisa tusabe ba landiloodi baffe lisiiti za EFRIS. Ndi ku kizimbe mu City. Bwe bampa lisiiti ya EFRIS nfuniramu wa?
Omupangisa yenna bw’aba asasula landiloodi we ensimbi z’obupangisa, ateekeddwa okuweebwa invoice oba lisiiti ya EFRIS (e-receipt oba e-invoice).
Eno y’engeri gy’oganyulwa mu kukola kino:
- Omuwendo oguli ku Lisiiti ya EFRIS eba nsaasaanya yo, era osobola okugikozesa ng’ossaamu litaani y’omusolo ku nnyingiza ya bizinesi yo (income tax) ng’omwaka guggwaako. Ensimbi zino okkirizibwa okuzikendeeza ku ttunzi ly’omwaka ogwo, ekikendeeza ku nsimbi eziggyibwako omusolo, nga wano osasula omusolo omusaamusaamu.
- Okuyita mu nkola eno, kya kuggyawo obutali bwesimbu bwa landiloodi naawe okufuna obwenkanya ku nsimbi z’osasula kubanga ensimbi z’omuwa ze zirina okulabikira ku invoice oba lisiiti ya EFRIS
- Bw’oba weewandiisa ku musolo gwa VAT ng’oteekeddwa okuddizibwa ensimbi mu kimanyiddwa nga refund, oyanguyirwa kubanga oba olina e-invoice.
Jjukira, oyo yenna eyeewandiisa ku musolo gwa VAT, taweebwa refund bw’aba talina e-invoice ng’obukakafu.
Ba landiloodi baganyulwa batya mu kugaba lisiiti za EFRIS?
Landiloodi bw’agaba lisiiti oba invoice ya EFRIS (e-receipt oba e-invoice), aganyulwa mu ngeri zino wammanga:
- Ayanguyirwa okussaamu litaani y’omusolo oguggyibwa ku nnyingiza y’ebipangisibwa (rental income tax)
- Bw’aba yeewandiisa ku musolo gwa VAT, ayanguyirwa okuddizibwa ensimbi mu kimanyiddwa nga refund.
- Lisiiti ne invoice za EFRIS ziyamba landiloodi okusasula omusolo omutuufu nga tataataaganyiziddwa ba URA.
- Ebiwandiiko bya bizinesi ye bibeera birambulukufu nga ne bibula oba okujjiira mu muliro URA eba ne kkopi yaabyo.
Nsaba mu new curriculuma mu kifuule kyabuwaze okusomesa ku musolo okuviira ddala mu Pulayimale?
Nga URA, tulina kaweefube agenda mu maaso ow’okussa omusolo mu curriculum y’omutendera gwa Pulayimale. Jjukira nti ne ku mutendera gwa Siniya okuli O ne A level, okusomesa omusolo kwassibwa mu curriculum era n’essibwa mu nkola mu mwaka gwa 2021. Ekigendererwa mu kino kwe kusobozesa omuyizi okuviira ddala wansi ng’asoma ku musolo gye guwoozebwamu n’obuvunaanyizibwa bwe ku gwo.
Singa bizinensi yange egwa n’eggalawo, nina kukola ki okulaba ng’aba URA tebaddamu kungerekera musolo?
Bizinesi yo bw’efuna okusoomozebwa n’eba nga tekyasobola kukola, weetaaga okutukyalira ku ofiisi ya URA ekuli okumpi olambikibwe ku ngeri y’okussaamu okusaba okuwummuza TIN (deactivation) yaayo okutuuka lw’onaddamu okukola bizinesi. TIN yo bw’eba ewummuziddwa, oba tokyagerekerwa musolo gukwatagana na bizinesi eyo.
Akasiimo omuntu k’afuna ng’awumudde obuweereza nako mukaggyako omusolo?
Okusalawo oba akasiimo k’omukozi k’aweebwa ng’awummudde emirimu kaggyibwako omusolo oba tekaggyibwako kisinziira ku kika ky’omukozi.
Omukozi ng’omusaala gwe gubadde guggyibwako omusolo, akasiimo k’aweebwa ng’awummudde emirimu kaggyibwako omusolo. Kyokka omukozi ng’omusaala gwe teguggyibwako musolo okugeza omuserikale mu magye g’eggwanga, mu poliisi, omukozi w’omu ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti (DPP) n’abalala abagwa mu ttuluba lino, akasiimo ke tekaggyibwako musolo.
Singa consolidator mwe twegattidde ng’aba groupage abadde anoonyerezebwako, lwaki abasuubuzi b’aleetedde emmaali basasuzibwa olw’ebintu okulwisibwa mu warehouse ku misango egitabakwatako?
Consolidator bw’atikka ebyamaguzi by’abasuubuzi abeegattidde awamu mu kimanyiddwa nga groupage bissibwa ku Master Bill of lading ye, nga bwe bituuka ku mwalo e Mombasa, ateekeddwa okubyawulamu buli omu n’aweebwa Individual House Bill, ne yeesasulira omusolo ku TIN ye ng’akozesa ajenti gwe yeerondedde. Enkola eno bw’eba egobereddwa tewali nsonga lwaki eby’amaguzi by’abasuubuzi abatalina musango birwisibwa mu warehouse olw’okunoonyerezebwako kw’oyo abibaleetedde mu konteyina ye. N’olwekyo, abasuubuzi bakubirizibwa okugoberera emitendera egyo baleme okutaataaganyizibwa.
Kitwala bbanga ki URA okwekebejja ebyamaguzi ebiva ebweru w’eggwanga n’okubibalira omusolo?
Bwe kiba ng’ebiri ku mpapula eziwerekedde ebyamaguzi bikwataga n’ebintu ebireeteddwa, okubyekebejja n’okubalirira omusolo nnyini byo gw’anaasasula kitwala ebbanga eritasukka nnaku ttaano.
Aba URA mulikomya ddi enkola y’okukolera mu kuteebereza nga mubala emisolo. Buli akubala akugamba kusasula ssente zize.
Mu nkola ya URA ey’okukunngaanya omusolo omuwi w’omusolo aweebwa ebbeetue ebbeetu okukuuma ebiwandiiko olwo ne yeebalirira nga ye ku musolo gw’alina okusasula mu kimanyiddwa nga self-assessment. Oluvannyuma assaamu litaani n’asasula omusolo ye kennyini gwe yeebaliridde. Kyokka okwegerekera bwe kuba kugaanyi, olwo tumutuukirira ne tumugerekera. Ne ku luuyi lwa Kasitomu, nkusaba ofube okulaba ng’empapula ezisuubuliddwako ebyamaguzi nnambulukufu, kyanguyize abakozi baffe okukubalirira ku musolo gw’olina okusasula.
No Comments yet!