Buuza Kamisona 57

Lwaki URA temweyambisa bassentebe ba L.C abaalondebwa okumatiza abantu okusasula omusolo kuba be basinga okukwatagana n’abantu ba bulijjo?

Mu kaweefube w’okukunngaanya omusolo, ekitongole kya Uganda Revenue Authority kikolagana n’abantu ab’enjawulo mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa buno. Mu mbeera eno tutuukirira abakulembeze b’abasuubuzi mu bitundu gye tukunngaanya omusolo, abakulira eby’okwerinda, nga muno ne ba ssentebe ba LC 1 mwe tubatwalidde. Kino kituyamba okukunngaanya omusolo okuli oguggyibwa ku nnyingiza y’abalina ebipangisibwa (Rental income tax), omusolo ku bizinesi entonotono (presumptive tax) n’ebika by’omusolo ebirala. Tuli baakugenda mu maaso n’enkolagana eno olwo tutuukirize obuvunaanyizibwa bwaffe nga tukolera wamu

Lwaki omwaka gw’ebyensimbi gutandika mu July ate nga tumanyi nti omwaka gwa bulijjo gutandika mu January?

Amawanga ageegattira mu mukago gwa East Africa gakkiriziganya okusoma bajeti mu mwezi ogw’omukaaga buli mwaka. N’olwekyo, buli nnongoosereza z’omusolo ezikolebwa mu gw’omukaaga zissibwa mu nkola mu mwezi oguddako (nga gwe gwomusanvu). Kino kye kyaviirako okuba ng’omwaka gw’ebyensimbi gutandika nga 01 Ogwomusanvu okutuuka nga 30 Ogwomukaaga omwaka oguddako.

Nteekateeka ki ez’emisolo egiri mu Bajeti y’omwaka guno eziyamba abakola ebintu mu ggwanga obutakosebwa bintu biva mawanga malala?

Enteekateeka zino wammanga zassibwa mu nnongoosereza mu mateeka g’omusolo ag’omwaka guno (2026/27) okuli:

  • Omusolo gwa environmental levy gwassibwa ku mivumba gy’engoye ku bitundu 30 ku 100 (30%) ku muwendo gwa Kasitomu ogwa CIF
  • Amataala ga pikipiki, zi indicator, ettaala eddene eryomumaaso zi side mirror n’ebirala ebigwa mu ttuluba eryo. bya kuggyibwako omusolo ku bitundu 0 ku 100 (0%) ku munnamakolero ayingiza ebikozesebwa okukola ebintu ebyo okumala omwaka gumu.
  • Ebikozesebwa mu ffumbiro nga biri mu kika kya aluminium bya kuggyibwako ku bitundu 35 ku 100 (35%) okuva ku 25 ku 100 (25%) okumala omwaka gumu

Bino bikoleddwa okuyamba amakolero agakolera ebintu ebyo wano, olwo kikendeeze ku kuvuganya okwandivudde kw’ebyo ebiyingizibwa mu ggwanga.

Nalina TIN number nanye ne neerabira we nagiwandiika, nyinza kukola ntya okuginzijukiza kuba ngyetaaga?

Omuntu yenna ateekeddwa okufuna TIN omulundi gumu. TIN eyo nnyini yo ne bw’aba agyerabidde, talina kufuna ndala kubanga esigala nga gyeri ku mutimbagano gwa URA. Bwe weesanga mu mbeera eno, gano ge makubo g’okozesa okugifuna:

  • Wanula App yaffe eya ‘Ask URA’ okuva ku Google Play Store oba App Store
  • Ku App eyo, nyiga ku ‘Search Taxpayer’
  • Munda, osobola okukozesa ennamba yo ey’essemu gye wewandiissizaako oba e-mail
  • Londako ekikya kya TIN ng’onyiga ku ‘Search Parameter’ okumanya oba TIN ya muntu ssekinnoomu (Individual) oba ya Kampuni (Non-Individual)
  • Bw’omala okussaamu ekimu kw’ebyo, nyiga ‘Search, olwo TIN yo ekulagibwe.

Osobola n’okukyalira ofiisi ya URA n’oyambibwa.

Omukozi wa ofiisi ng’akozesebwa kimukakatako okusasula emisolo emeka, kuba ndaba gye batusaba giyitiridde obungi.

Mwami Makumbi, omukozi wa ofiisi, asasula omusolo okuva ku musaala gwe, nga guno gumanyiddwa nga Pay As You Earn (PAYE), nga guno gumuggyibwako mukama we n’aguweereza eri URA. Omukozi bwe yeesanga ng’alina ennyingiza okuva mu bizinesi n’ebipangisibwa, asasula omusolo ku nnyingiza ya bizinesi n’eyo eva mu bipangisibwa. 

Ensi yajjula abafere, nyinza ntya okwawula omukozi wa URA omukyamu ku mutuufu?

Omukozi wa URA ateekeddwa okujja gy’oli ng’alina ekimwogerako (Identity Card) y’omulimu. Eno erina okubaako ekifaanyi kye, amannya ge gombi n’ekifo mw’aweerereza (Position), nga yazzibwa obuggya. Bw’oa n’okubuusabuusa, kuba ku nnamba zaffe ezitasasulirwa (0800117000 oba 0800217000), ojja kuyambibwa.

Emisolo empipya egyeteekebwa mu Bajeti y’omwaka guno gyatandika okukola kuba twawulira nti amabago agakwata ku misolo Palamenti ge yayisa mbu Pulezidenti yagaana okugateekako omukono.

Amateeka g’omusolo ag’omwaka 2026/2027 nga bwe gaakoleddwamu ennongoosereza Pulezidenti yagassaako omukono ne gatandika okukola nga 01 July 2026. Kyokka waliwo ebika by’omusolo okuli omusolo ku nnyingiza (Income Tax) n’ogwa Excise Duty agaali gakyekenneenyezebwa, wabula Pulezidenti yagataddeko omukono nga 20 August 2026, nago ne gatandika okukola

Ndagirira engeri ennyangu gye nsobola okusasula omusolo nga mpita ku ssimu yange ey’omungalo?

Okusasula omusolo ng’oyita ku sssimu yo ey’omungalo:

  • Nyiga *285#
  • Nyiga 5 okusasula omusolo gwa bizinesi entonotono (Presumptive tax)
  • Yingizaamu TIN yo
  • Ssaamu erinnya lya bizinesi yo
  • Londako omwaka gw’ebyensimbi mw’osasulira omusolo
  • Nyiga 1 okulondako omwaka gw’olimu
  • Yingizaamu omugatte gw’ettunzi lyo mu mwaka
  • Oluvannyuma, oli waakulabibwa omusolo gw’olina okusasula
  • Nyiga 1 okusalawo oba osasula okuyita ku nkola ya Mobile Money
  • Ssaamu PIN yo osasule omusolo.

Mu mbeera y’emu osobola okusasula omusolo ng’oyitira ku MTN Mobile Money (nyiga *165#) oba Airtel Money (*185#) ogoberere endagiriro.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content