
Nga URA lwaki temutandikawo nkola y’okusiima abantu ssekinoomu ababeera basasudde obulungi emisolo mu budde n’abasasudde okumala ebbanga eddene?
Buli mwaka, ekitongole kya Uganda Revenue Authority kirina enteekateeka y’okusiima abawi b’omusolo abatuukiiriza obuvunaanyizibwa bwabwe okukira ku balala. Abawi b’omusolo bano basiimibwa mu biti eby’enjawulo okuli eky’abasinze okusasula omusolo omungi, abasinze okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku musolo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, n’ebiti ebirala. N’olwekyo, abawi b’omusolo bakubirizibwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku musolo, ob’olyawo nga banaasiimibwa mu nkola ya URA eya buli mwaka.
Singa poliisi ekwata ebizibiti ne bibulako avaayo ng’agamba nti ye nnyinibyo, oluvannyuma ne basalawo okubitunda era mubiggyako omusolo?
Ebintu byonna ebitundibwa gavumenti ku nnyondo, ensimbi ezibivaamu eba nnyingiza ya gavumenti ate mu mateeka ennyigiza ya gavumenti teggyibwako musolo. N’olwekyo, ebintu ebiboyeddwa Poliisi ne bitundibwa ku nnyondo, tebiggyibwako musolo.
Weetegereze: Oyo yenna aweebwa obuvunaanyizibwa okutundirako gavumenti ku nnyondo, by’aba atunze bwe bibaako omusolo gwa VAT, guggyibwako era akakatibwako okugusasula eri URA.
Mw. Rujoki weebale butakoowa kutuwa magezi n’okwanukula ebibuuzo byaffe ku by’emisolo era nsaba n’ebitongole ebirala ebya Gavumenti bituteeremu omuko mu Bukedde baanukule ensonga zaffe (Fred Mawanda e Mbarara)
Mwami Mawanda, weebale kusiima mpeereza yaffe. Tuli ba kugenda mu maaso nga tuddamu ebibuuzo n’ensonga zammwe endala ze mwandyetaaze okutangaazibwa ku musolo.
Omuyimbi bwategeka ekivulu, misolo ki gyalina okusasula era agisasula wa?
Omuyimbi ategese ekivvulu alina okukikola nga yawandiisibwa ku musolo ng’omuntu ssekinnoomu oba nga kkampuni, era asasula emisolo gino wammanga:
- Omusolo ku nnyingiza (Income tax). Ensimbi eziyingizibwa mu kivvulu zibalibwa ng’ennyingiza endala yonna era oluvannyuma lw’ekiseera okugeza mu myezi esatu, mukaaga oba omwaka, omuyimbi abala ennyingiza ya bizinesi ye, n’atoolako ensaasaanya, olwo amagoba kw’asasula omusolo gwa Income tax eri URA.
- Omusolo gwa VAT. Buli tikiti etundibwa eriko omusolo gwa VAT ebitundu 18%, nga guno gukunngaanyizibwa ne guweerezebwa eri URA.
- Omusolo gwa Withholding tax. Olw’okuba ng’omuyimbi ono akozesa ebintu n’obuweereza okuva eri abantu ab’enjawulo, bw’aba yaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okukunngaanya omusolo ng’asasula omuntu oba kkampuni emutuusaako obuweereza nga busukka ensimbi akakadde kamu, agiggyako omusolo gwa Withholding tax ku bitundu 6% n’agusasula eri URA buli mwezi. Jjukira nti omuyimbi ng’ono bw’akozesa abakugu (professional services) okugeza ba sound engineers, ensimbi ne bwe ziba teziwera kakadde ateekeddwa okuggya ku muntu oyo omusolo gwa Withholding tax.
Weetegereze: Omuyimbi bw’aba akansizza muyimbi munne okuva ebweru w’eggwanga, ku nsimbi z’amusasula ateekeddwa okumuggyako omusolo gwa Withholding tax ebitundu 15% nga bw’atakikola, ye ng’omuntu y’avunaanyizibwa okusasula omusolo guno.
Singa omukozi asindikibwa mu luwummula olukake nga bamunoonyerezaako omusaala n’asigala ng’afuna gwa kitundu. Kye mbuuza nga URA mwe musolo gwa PAYE musigala mumuggyako ebitundu 30 ku 100 oba mukendezaako mu kiseera ekyo?
Omusolo ku musaala gw’abakozi guggyibwako okusinziira ku nnyingiza y’omuntu. Omusaala bwe guba mutonotono, omusolo guggyibwako nga mutonotono si na kindi n’obutaggyirako ddala. Ky’okka ate omusaala bwe guba mungi, omusolo oguggyibwako ne guba mungiko mu nkola emanyiddwa nga progressive tax. Omukozi asindikiddwa mu luwummula olw’obuwaze kyokka n’asigala ng’asasulwa kitundu kya musaala gwe, omusolo gwe gubalirirwa nga tukozesa enkola yaffe entongole. Olw’okuba omusaala gwe guba gukendeezeddwako, n’omusolo gukendeerako.
Singa nsasula omusolo mungi ku gwe nteekeddwa okusasula, waliwo omukisa gwokunziriza eziba ziyiseemu era nkola ntya okuzifuna (Jalia Asiimwe e Fort Portal)
Omuntu yenna akola bizinesi asaanidde okuba ng’alina TIN kwe tulondoolera bizinesi bw’etambula mu kusasula omusolo. Bw’osasula omusolo ne gusukka mu gwalibadde gusasulwa ka tugeze omwaka, oli wa ddembe okussaamu okusaba n’oddizibwa ensimbi ekimanyiddwa nga refund. Mu kukola kino tutunuulira omusolo ogukubanjibwa ne tuggyako gw’osasudde olwo enjawulo yaagwo n’ekuddizibwa, ng’ojjuza ffoomu esangibwa ku kibanja kyaffe. Kyokka ku musolo ogusasulwa buli mwezi, waliwo ffoomu ez’enjawulo z’ojjuza olwo n’ozissaamu n’oddizibwa ensimbi.
Njawula ki eri wakati wa Income tax ne trading license?
Omusolo ku nnyingiza (Income tax) guggyibwa ku nnyingiza ya bizinesi ey’essalira okugeza obukadde obusukka mu 10 mu ttunzi ku bizinesi entonotono n’ensimbi ezisoba mu 335,000 mu musaala gw’omukozi buli mwezi. Kino kitegeeza nti wateekeddwa okubaawo bizinesi oba omukozi ng’alina ennyingiza ekkirizibwa okuggyibwako omusolo. Trading license ku luuyi olulala si musolo. Zino nsimbi ezisasulwa nannyini bizinesi okuweebwa olukusa okukolera mu kitundu mw’aba atadde bizinesi. Ensimbi zino zisasulwa bizinesi ne bw’eba tennafuna nnyingiza.
Enjawulo endala eri nti omusolo ku nnyingiza (Income tax) gukunngaanyizibwa kitongole kya Uganda Revenue Authority, ate ebisale bya Trading license bikunngaanyizibwa gavumenti z’ebitundu okuli KCCA, ebibuga eby’enjawulo, disitulikiti, munisipaali ne town council.
Twawulirako nti URA mwagala kutandika kuwooza ssente ezikung’anyizibwa mu luwalo? Njagala kumanya oba nga mwatandika.
Teri nteekateeka yonna ya kuwooza musolo ku nsimbi ziweebwayo mu luwalo ewa Ssaabasajja Kabaka. Kino kyatangaazibwa ekitongole lwe nnakyala e Bulange Mengo. Ensimbi zino teziggyibwako musolo kubanga tezifunibwa nga nnyingiza ya bizinesi.
No Comments yet!