Buuza Kamisona 69

Bosco Mweruka; mwatugamba tufune TIN number naye nga temutubuulidde nkozesa yaayo. Muganda wange John Nkoola yajikozesanga, ekibi n’afa mu 2019. Mu kiseera kino nfuna obubaka ku ssimu nga baagala nsasule emisolo gyesimanyi, nyinza kuyambibwa ntya?

Mwami Mweruka, TIN eweebwa omuntu, era agikozesa awatali gugigabana na muntu mulala yenna. Obubaka bw’ofuna ku ssimu yo bukuweerezebwa okunziira ku TIN ggwe kennyini gye waweebwa. TIN muganda wo eyafa eweerezebwako obubaka ggwe kennyini bw’otasobola kufuna kubanga e-mail gye yassaako tosobola kugiyingiramu. N’olwekyo, nkusaba okyalire ofiisi ya URA ekuli okumpi, TIN yo ekeberebwe era olambikibwe omusolo gw’olina okusasula. Bw’oba tolina bizinesi gy’okola, esirisibwe.

Fred Mutaweta e Kasese; ng’abasuubuzi, wadde twagala okusasula emisolo kyokka bizinensi zigwa buli olukya, ssente z’obupangisa zitumalawo, amafuta n’okunyigirizibwa okulala. Teri kisoboka kukolebwa kutukendeereza ku kazito k’omusolo mu mbeera eno ey’okusoomoozebwa?

Mwami Mutaawe, obuyinza bw’okukola ennongongoosereza mu mateeka g’omusolo okuli okuggyawo oba okukendeeza ku misolo egimu buli mu mikono gya minisitule y’ebyensimbi. Enkunngaana ez’enjawulo zikolebwa okuwa ebirowoozo ku kiyinza okukolebwa ku nsonga z’omusolo. Ng’ekitongole ky’omusolo waliwo enteekateeka ezizze zissibwa mu nkola nga n’ezimu zikyakolebwa, okuli zino wammanga:

  • Ekisonyiwo ku magoba n’engassi ku musolo ogubanjibwa okutuuka nga 30 June 2025, singa gwe bagubanja asasula omusolo gwokka nga 30 June 2027 terunnayita
  • Obuweerero ku musolo eri bizinesi ezaatandikibwawo nga 01 July 2025 okumala emyaka esatu. Wano, bizinesi tesasula musolo ku nnyingiza singa kapito waayo tasukka bukadde 500 nga ne nnyini yo ateekamu litaani emanyiddwa nga Information return okumala ekiseera ky’obuweerero.
  • Bwe wabaawo okukaluubirirwa okusasula omusolo, omuwi w’omusolo asobola okusaba n’agusasula mu bitundutundu.
  • Omusolo ogugerekeddwa omuntu asobola okugwemulugunyaako era n’awulirizibwa ng’ayita mu kimanyiddwa nga Objection and Appeals.

Jjukira nti ne pulogulaamu ez’enjawulo weeziri ez’okusomesa abawi b’omusolo ku ddembe n’obuvunaanyizibwa bwabwe ku musolo n’ensonga zonna ezikwata ku musolo.

URA nkimanyi ng’ekitongole ekikung’anya omusolo mu ggwanga. Nammwe omusaala gwe musasulwa guggyibwako omusolo gwa Pay as You Earn?

Yee. Ng’abakozi ba URA, tuggyibwako omusolo gwa Pay As You Earn (PAYE) buli mwezi nga tukozesa embalirira y’omusolo ekozesebwa ne ku bakozi abalala mu ggwanga. Omusolo guno guggyibwako buli mwezi era ne guweerezebwa eri URA okugatta ku nsimbi ezigenda mu kittavu ky’eggwanga.

Embeera y’akatuubagiro k’ebyenfuna akali mu ggwanga omuli okulinnya kwa doola n’ebbeeyi y’amafuta, muyambye mutya business obutakosebwa nnyo?

Embeera y’akatuubagiro k’ebyenfuna akali mu ggwanga okuli okunaabuuka kw’ensimbi, okulinnya kw’ebintu ebitundibwa n’embeera endala kakosezza nnyo bizinesi okwetoloola eggwanga, ekiviireddeko abawi b’omusolo okukaluubirirwa okugusasula mu budde. Eri bizinesi ezisoomoozebwa, waliwo enteekateeka ez’enjawulo okuli:

  • Okusasula omusolo mu nkola ya kibanjampola, ekisobozesa abawi b’omusolo obutakaluubirirwa nnyo mu kugusasula. Kino kikolebwa oluvannyuma lw’okusaba okusasula omusolo mu bitundutundu, nga bwe wabaawo okukkaanya wakati wo ne URA, ekiwandiiko ky’okukkiriziganya ekimanyuddwa Memorandum of Understanding (MOU) kibagibwa okulunngamya ebitundutundu omusolo mwe gusasulirwa.
  • Ekisonyiwo ku magoba n’engassi ku musolo ogubanjibwa okutuuka nga 30 June 2025, singa gwe bagubanja asasula omusolo gwokka nga 30 June 2027 terunnayita
  • Obuweerero ku musolo eri bizinesi ezaatandikibwawo nga 01 July 2025 okumala emyaka esatu. Wano, bizinesi tesasula musolo ku nnyingiza singa kapito waayo tasukka bukadde 500 nga ne nnyini yo ateekamu litaani emanyiddwa nga Information return okumala ekiseera ky’obuweerero.

Okuyita mu nkola ezo waggulu, omuwi w’omusolo asuubirwa okugondezebwamu mu ngeri gy’asasulamu omusolo.

Florence Namagembe e Kasubi; Kituufu nti omuntu bwafuna ssente za NSSF era muziggyako omusolo?

Mukyala Namagembe, ensimbi eziterekebwa mu bittavvu eby’enjawulo mu Uganda teziggyibwako musolo kubanga ziba zaggyibwa ku nnyingiza okugeza omusaala oba bizinesi okuba kwaggyibwa dda omusolo. N’olwekyo, bw’oba nga watereka ne NSSF, ensimbi zo ozifuna zonna awatali kuggyibwako musolo.

Magezi ki ge muyinza okumpa ng’atandika business agalina okunnyamba okusasula obulungi omusolo kuba saagala kufuna bibonerezo n’okuwa engassi olw’obutasasula.

Bw’oba otandise bizinesi, kola bino wammanga okwewala okugwa mu nsobi y’obutasasula musolo ekiyinza okukuviirako okuweesebwa engassi:

  • Wandiisa bizinesi yo mu mateeka n’ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB),
  • Oluvannyuma, giwandiise ku musolo ne Uganda Revenue Authority oweebwe TIN.
  • Kakasa nti okuuma bulungi ebiwandiiko bya bizinesi ebituufu, nga kuno kwe kusinziirwa okumanya oba olina omusolo gw’otuuse okusasula okusinziira ku nnyingiza n’ ensaasaanya yo.
  • Ssaamu litaani eraga engeri bizinesi yo gy’ekola n’okumanya omusolo gw’olina okusasula.
  • Sasula omusolo ogubaliriddwa okusinziira ku litaani gy’otaddemu. Ebika by’omusolo ogusasulwa kuliko omusolo ku nnyingiza (income tax), omusolo oguggyibwa ku misaala gy’abakozi (bw’oba nabo), ogwa VAT bw’oba weewandiisa ku kugusasula n’ebika by’omusolo ebirala bw’oba wabyewandiisaako.

Jjukira nti bw’oba tolina nnyingiza oba magoba gakakatibwako kusasula musolo, oweebwa ekiseera bizinesi n’esooka efuna embavu (naye nga kino kimanyibwa olw’ebiwandiiko byayo by’oba okuumye. Ng’otuukirizza obuvunaanyizibwa obwo waggulu, weewala okusasuzibwa amagoba n’engassi.

Kiva ku ki okubeera nga nkola bizinesi y’emu ne muliraanwa wange kyokka ye ne mumugerekera omusolo omutonotono kyokka nze nemungerekera mungi?

Buli bw’oba ne bizinesi, okubirizibwa okukuuma ebiwandiiko ebikwata ku nnyingiza n’ensaasaanya yaayo, nga wano we wasinziirwa okubalirira omusolo gw’osasula. Singa muliraanwa wo akuuma bulungi ebiwandiiko bye, abalirirwa mu bulambulukufu era n’agerekerwa omusolo ogw’ekigero. Kyokka ggwe bw’oba tobikuuma, tuwalirizibwa okugeraageranya, ekintu ekiyinza okukuviirako okugerekerwa omusolo omungiko. N’olwekyo, okubirizibwa okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo ebituufu oganyulwe mu kusasula omusolo omusaamusaamu.

Singa mbeera n’ennyumba zange ez’abapangisa ne zikwata omuliro, nkola ntya ku nsonga z’omusolo?

URA ekimanyi bulungi nti waliwo ebigwa bitalaze mu bizinesi z’abantu. Bwe weesanga ng’enjega eyo ekuguddeko mu nnyumba zo ez’abapangisa, osabibwa okuloopa embeera eyo ku Poliisi, oluvannyma naffe n’otutegeezaako. Era ku lw’ekyo, litaani gy’ossaamu mu mwaka ogwo eteekeddwa okuba ng’ekwatagana n’ekiseera we yamala nga tennakwata muliro.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content