
Margret Kafeero e Nansana: simanyi oba aba URA mukola okunoonyereza? Kuba ffe abali mu bizinensi twakizuula nga bw’osasula emisolo gyonna nga bwegiragirwa bizinensi tesobola kusigala ng’eyimiridde.
Mukyala Kafeero, omusolo ku nnyingiza ya bizinesi teguwoozebwa ku bizinesi etakola magoba. Kino kiri bwe kityo kubanga nannyini bizinesi afuna ettunzi n’atoolako ensaasaanya olwo amagoba kw’asasula omusolo omusaamusaamu. Ebika b’omusolo ebirala biwoozebwa mu ngeri zino wammanga:
- Omusolo gwa VAT gusasulwa omuntu asembayo okukozsa ebyamaguzi oba obuweereza nga wano bizinesi ekola nga ajenti wa URA okuguwaayo buli mwezi.
- Omusolo gwa Local Excise Duty guggyibwa ku byamaguzi ebyalondebwayo nga ne wano gusasulwa asembayo okukozesa ebyamaguzi. Guno nagwo guweebwayo buli mwezi
- Omusolo ku nnyingiza y’abakozi nga guno guggyibwa ku musaala gw’omukozi asussa 235,000/= ne guweebwayo buli mwezi.
N’olwekyo, bizinesi esobola okusasula emiisolo gino n’esigala nga weeri. Nkusaba weeyunire nnyo emisomo gyaffe ku musolo n’okukyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi onnyonnyolwe engeri omusolo gye gukolamu. Gy’onookoma okutusemberera, n’okwanguyirwa ensonga zo ez’omusolo.
Ryan: Ssente ezisabibwa bannanyini akeedi mu Kampala okuli eza mataala, kasasiro ne kabuyonjo nazo muziggyako omusolo?
Mukulu Ryan, ba nnannyini akeedi mu kibuga baggyibwako omusolo okusinziira ku nnyingiza gye bafuna okuva ku nsimbi z’obupangisa mu mwaka. Ensimbi z’amataala, kasasiro ne kabuyonjo zibayambako okubatuusaako obuweereza mu mbeera ze muwangaaliramu mu bizimbe.
Waliwo omusolo URA gwewooza ku ssente eziterekebwa mu bbanka ne zimala ebbanga eddene?
Teri musolo guggyibwa ku nsimbi za muntu bw’aba aziterese mu bbanka okumala ebbanga erisukkiridde. Kino kiri bwe kityo kubanga ekiseera ensimbi omuntu w’azifunira ng’ennyingiza ziba ziggyiddwako omusolo.
Ku lwokuyamba bizinensi ezitandika lwaki URA teziwaayo ebbanga lwakiri lya myaka ebiri nga tezisasula misolo gyonna kiziyambe okukulaakulana.
Mu nnongoosereza z’omusolo mu mwaka gw’ebyensimbi 2025-26, gavumenti yassaawo obuweerero eri bizinesi ezaatandikibwa okuva nga 01 July 2025 nga tezisussa kapito wa nsimbi obukadde 500, nga zino za kusonyiyibwa omusolo ku nnyingiza okumala emyaka esatu. Okuganyulwa mu buweerero buno, nannyini bizinesi ateekeddwa okuba nga mutuuze wa Uganda, ng’asobola okulaga URA nti bizinesi eyo yatandikibwa mu kiseera ekyogerwako, ng’akuuma ebiwandiiko byayo n’okussaamu ennyanjula obalitaani eri URA okulaga nga bw’ekola (information return). Kino kyassibwawo okuyamba bizinesi ezitandika okuba nga zifuna embavu.
Atunda mmotoka bwaleeta kabini, diifu, engine n’abiteeka ku fuleemu eyakozesebwako edda ng’eyina enamba ate ye n’agifuula emmotoka empya eya bond n’efuna ne namba empya endala kimenya mateeka.
Ekikolwa kino tekikkirizibwa. Emmotoka eteekeddwa okufuna ennamba emu. Bw’ekaddiwa, teri muntu akkirizibwa kugizimba buto ng’agiwandiisa ku nnamba ey’enjawulo.
Entekateeka y’okuggyawo omusolo ku ttaka n’ebibanja ebitundibw ayakoma wa?
Mu nnongoosereza z’omusolo mu mwaka gw’ebyensimbi 2025-26, gavumenti yaggyawo omusolo ku ndagaano zo z’ekika kyonna. N’olwekyo, n’ettaka eriguliddwa ku ndagaano, endagaano eyo teggyibwako musolo.
Nga URA mutuyambye mutya ku kampuni z’amasimu ezitunyagako data waffe mu ngeri etategeerekeka.
URA kitongole ekirina obuvunaanyizibwa bw’okukungaanya omusolo gw’eggwanga. Obuvunaanyizibwa bw’okulungamya ebyempuliziganya n’obuweereza bwazo bwa Uganda Communications Commission (UCC). Nkusaba obatuukirire ku nnamba 0800222777 ojja kuyambibwa.
Ali Ndugura e Mbarara; nsaba aba URA okutandikawo enkola y’okusiima abantu abasinze okusasula omusolo mu ngeri ez’enjawulo okugeza okusasula mu budde, okuwa omusolo omungi, ababagulizzaako nga kikolebwa buli mwaka.
Mwami Ndugura, buli mwaka, URA esiima abawi b’omusolo aboolesa obumalirivu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku musolo. Muno mubaamu okukyalira abawi b’omusolo ab’enjawulo, okussaawo olusiisira lw’omusolo okumala wiiki nnamba (Client Service Week) nga kuno kw’ossa n’okubasiima ku mukolo ogutegekebwa e Nakawa. N’omwaka guno, enteekateeka zigenda mu maaso okulaba ng’abawi b’omusolo ab’enjawulo basiimibwa. N’olwekyo, nkusaba weeyongere okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ku musolo, ob’olyawo ojja kulondwa mw’abo abanaasiimibwa.
No Comments yet!