Buuza Kamisona 20

Njagala kutandika bizinensi entono ey’okutunda ebitabo, misolo ki eginindiridde okusasula? Ye nina kugisasula dd inga ntandise oba nga sinatandika.

Bw’otandika bizinesi yo, okubirizibwa okugiwandiisa n’ekitongole kya Uganda Registration Service Bureau (URSB), oluvannyu ogiwandiise ku musolo ne Uganda Revenue Authority (URA). Kuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo okuli ennyingiza n’ensaasaanya, nga wano ojja kutegeera obungi bw’ensimbi bizinesi yo z’eyingiza. Nga bizinesi entonotono, okusinziira ku biwandiiko byayo, bw’onooweza omugatte gw’ettunzi erisukka mu bukadde 10 mu mwaka, ojja kuba otuuse okusasula omusolo ku nnyingiza. Waliwo n’engeri endala ey’okusasula omusolo okusinziira ku magoba ga bizinesi yo ng’ofuna ensaasaanya n’ogyawulako ennyigiza.

Weetegereze: omusolo ku bizinesi yo togusasula ng’etandika, wabula ogusasula ng’ekoze ennyingiza egiteeka mu ttuluba erisasula omusolo.

Ebiseera bya kampeyini tewaba kukola bikwekweto ku ba boda boda ne takisi ezitalina bisaanyizo era n’abatembeeyi beeyiwa ku kkubo awatali abakuba ku mukono. Kuno okufiirizibwa mukukola mutya?

Obuvunaanyizibwa bw’okulambika ebidduka ku nguudo buli wansi wa minisitule y’ebyentambula ng’eyambibwako poliisi. Mu ngeri y’emu n’abatembeeyi bavunaanyizibwako bakulembera kibuga Kampala.

Mpapula ki oba ebiwandiiko bye nteekeddwa okuba nabyo okutandika okusuubula ebintu ebweru w’eggwanga naddala mu mawanga nga China,Dubai oba India?

Teri mpapula za njawulo musuubuzi z’ateekeddwa kuba nazo okutandika okusuubula ebyamaguzi okuva ebweru w’eggwanga. Kye weetaaga ye paasipooti ne VISA ekukkiriza okuyingira eggwanga ly’osuubira okusuubulamu. Kakasa nti by’osuubira okusuubula tebyawerebwa kuyingizibwa mu ggwanga oba okussibwako obukwakkulizo.

Florence Kalemeera e Bushenyi: bannange nze tewali kintu kinuma nga okusasula omusolo buli mwaka, kyokka ne wabulawo enkola y’okutuddiza kuba mu butuufu neekubiriza ne nsasula mu budde.

Mukyala Kalemeera, buli mwaka URA erina enteekateeka y’okusiima abawi b’omusolo okusinziira ku ngeri gye baba batuukirizzaamu obuvunaanyizibwa bwabwe. Ensonga nnyingi ezeesigamibwako okulonda olukalala lw’abo abasiimibwa. Nkusaba weeyongere okutuukiriza obuvunaanyibwa bwo ku musolo, oba oli awo, onaalondobebwayo mw’abo ab’okusiima.

Omusolo gwa ­­­­­­Import duty gusasulwa ne ku mmotoka eziva ebweru w’eggwanga oba?

Buli kintu ekiggyibwa mu ggwanga eddala okuyingizibwa mu Uganda kiteekeddwa okusasulirwa omusolo gwa Import Duty, okuggyako ebyo ebyassibwako obuweerero mu mateeka olw’ensonga ez’enjawulo. Mu mbeera eyo, emmotoka eziyingizibwa mu ggwanga ziteekeddwa okusasulirwa omusolo gwa Import Duty.

Bwemba naggula emmotoka okuva mu bondi era nga ne logbook yaayo ngirina. Kyokka abaginguziza ne balemwa okunyambako okukyuusa obwanannyini bwayo okudda mu manya gange, nyinza kukola ntya ona nina kweeeyambisa nkola ki endala okulaba ng’emmotoka eno ekyuusibwa okudda mu mannya gange?

Kikulu nnyo okuba ng’okyusa obwannannyini bw’ekidduka mangu ddala nga waakakigula okuva ku muntu oba mu bondi, nga bwe kiri mu tteeka erirungamya entambula y’ebidduka nti omuntu aweebwa ennaku 14 oluvannyuma lw’okugula ekidduka okukizza mu linnya lye. Bwe weesanga ng’akuguzizza ekidduka ekyo yeeremye okukuwa ebiwandiiko ebyesigamwako okukyusa obwannannyini bwakyo, osabibwa okwekubira enduulu mu kkooti okufuna ekiwandiiko ekimukaka okukuwa ebiwandiiko ebyeetaagisa, oluvannyuma ojje ku kitebe kya URA ekikulu ekidduka ekyo kikyusibwe okuva mu linnya ly’eyakikuguza okudda mu liryo.

Kitundu ki ekisinga okusoloozebwaamu omusolo omungi mu ggwanga?

Bwe tuba tuwandiisa omuntu ku musolo, tuteekululamu emiteeko okusinziira ku mirimu gye yeenyigiramu (sectors). N’olwekyo, omusolo bwe guba gukungaanyizibwa, tetutunuulira bitundu bya ggwanga mwe guggyiddwa wabula emirimu egy’enjawulo.

Emmanuel okuva mu Kampala.Bwobeera landiroodi ng’obadde osasula bulungi ssente za rental tax. Obeera wetaagisa n’okusasula n’omusolo gwa VAT?

Bw’oba landiloodi ng’ensimbi z’okungaanya mu by’opangisa zisukka obukadde 150 mu mwaka oba obukadde 37.5 mu myezi esatu egyomuddiringanwa kyokka ng’ebizimbe obaebibangirizi by’opangsa bigwa mu ttuluba ly’ebyo ebikolebwamu bizinesi (commercial), oba oteekeddwa okusasula omusolo gwa VAT nga bino bye bitundu 18 ku 100 (18%) ku nsimbi z’oba okungaanyizza. N’olwekyo, bw’oba weewandiisa ku musolo, TIN yo ebaako emisolo okuli Rental Income Tax ne Value Added Tax (VAT).

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content