Buuza Kamisona 1

Kituufu nti mwayimirizza omusolo gwe tubadde tusasula ku ndagaano ogwa stamp duty ate nga mubadde mwakaguleeta?

Omukumbeze w’eggwanga bw’anassa omukono ku nnongoosereza ezaaleetebwa mu mateeka g’omusolo, ez’omwaka gw’ebyensimbi 2025-26, omusolo gwa Stamp Duty gujja kuba tegukyaggyibwa ku ndagaano okuva nga 01 July 2025.

Nkola ki gye muyitamu okuleeta emisolo emipya kuba siwulirangako nga batwebuzaako nga ffe abaguwa ne tubawabulamu ku nkola entuufu bwe yandibadde.

Emisolo emipya gireetebwa nga kiva ku ngeri ebyenfuna by’eggwanga gye biba bitambulamu, n’obwetaavu bwa gavumenti okuyingiza ensimbi ezigiyambako okuddukanya eggwanga. Abantu bangi abeebuuzibwako okuli ebitongole by’obwannakyewa, ebikwanaganya abasuubuzi n’abantu ba bulijjo.

Omuntu okubalibwa mu ba musigansimbi alina okubeera ne ssente meka, asobole okufuna emiganyulo gye tuwulira ng’ettaka eryobwereere n’obutawa musolo okumala ekiseera.

Okubeera musigansimbi tekisinziira ku wa omuntu gy’ava. Kuno kuliko abagwira ne bannansi. Buli mwaka, waliwo emitendera gy’abantu egy’enjawulo egiweebwa obuweerero okusinziira ku nsimbi ze basize mu ggwanga n’ebyo mwe baba bazitadde. Okugeza, omwaka gw’ebyensimbi oguwedde, okussibwa mu ttuluba lino, musigansimbi ng’ava mu limu ku mawanga g’omukago gwa East Africa nga ne Uganda mw’ogitwalidde yali ateekeddwa okuba ng’asize ddoola 300,000 mu kitundu mw’aba atadde ekkolero obutasukka kilometer 50 okuva mu kibuga Kampala oba ddoola 150,000 kw’abo abasize ensimbi mu kilometer 50 okwesuula ekibuga Kampala.

Ephraim e Mbale; Nina enteekateeka z’okuzimba loogi, kyokka simanyi misolo mituufu gye nteekeddwa okuwa. Nsaba kutangaazibwa.

Mwami Ephraim, bw’ozimba loogi, oteekeddwa okusooka ne weewandiisa ku musolo gwa URA n’oweebwa ennambba y’omusolo emanyiddwa TIN. Okubirizibwa okukuuma ebiwandiiiko ku nnyingiza n’ensaasaanya yo, olwo omanye omusolo gw’oteekeddwa okusasula. Emisolo gy’olina okusasula gye gino wammanga:

  • Omusolo ku nnyingiza (Income Tax), nga guno gusasulwa ku magoba g’oba okoze buli mwaka.
  • Omusolo gwa Pay As You Earn (PAYE) nga guno oguggya ku misaala gy’abakozi n’oguweereza eri URA buli mwezi
  • Ennyingiza yo bwerinaasuumukamu ne n’esukka obukadde 150 mu mwaka, ojja kusasula omusolo gwa VAT.

Singa mungerekera omusolo, bizinensi yange neefuna obuzibu ng’okwokebwa, mubeera musobola okugunsonyiwa. Bwe kiba kisoboka okunsonyiwa nina kwekubira wa enduulu?

Omusolo guggyibwa ku nsimbi eziba ziyingiziddwa mu bizinesi oba amagoba agakoleddwa. Bizinesi bw’efuna obuzibu okugeza okukwata omuliro, teba musolo gwa kusasula. Okubirizibwa okutuukirira woofiisi y’omusolo ekutwala ogitegeeze ku nsonga eno, ojja kuyambibwa, kyokka, oteekeddwa okuba n’obukakafu obulaga nti wawaaba ensonga eyo ku Poliisi era n’oweebwa alipoota ekakasa nti enjega eyo yakutuukako.

URA obuvunanyizibwa bwammwe bwa kusolooza musolo, ate lwaki mu bitundu ebimu tusangawo abakozi b’ebitongole nga UTOF nga be babanja omusolo gwa takisi mu Kampala?

Ekitongole kya URA kivunaanyizibwa ku kukuŋŋaanya musolo, kyokka ebisale ebimu tebikuŋŋaanyizibwa kitongole kino, ng’empooza z’obutale, ebisale bya ppaaka n’ensimbi endala.

Singa nemererwa okusasula omusolo gw’ebintu ebivudde ebweru w’eggwanga, kitwala bbanga ki Gavumenti okusalawo okubitunda esobole okwesasula?

Bw’oba olina ebyamaguzi mu weyahawusi ng’olemereddwa okusasula omusolo gwabyo, oweebwa ebbanga lya myezi mukaaga okusasula omusolo ogwo, ng’oluvannyuma lwagyo, osobola okussaamu okusaba n’oyongerwamu emyezi esatu bw’oba tonnafuna nsimbi za kusasula. Ebbanga lino bwe liggwaako, ebintu bitundibwa ku nnyondo. Osabibwa okukozesa omukisa gw’okusasula omusolo mu bitundutundu, nga wano oweebwa ebyo by’osasulidde omusolo okwewala ebyamaguzi byo okutundibwa ku nnyondo.

Fred Rwegyema e Mbarara; nina mukwano gwange yampeereza ssente okuva ebweru, kyokka gwe yaziwa yankubira essimu nti baazikwatira ku kisaawe e Ntebe nga teziwadde musolo. Omusolo guno gyeguli oba anjiiya buyiiya?

Mwami Rwegyema, URA terina musolo gw’eggya ku nsimbi muntu yenna z’aba atambudde nazo, yadde ezo eziweerezeddwa omuntu okuva ebweru w’eggwanga, kyokka amateeka agalwanyisa okukukusa ensimbi (money laundering) galuŋŋamya omuwendo gw’ensimbi n’engeri gye zitambuzibwamu.

Fred Kakomo; Ekitongole kya URA kirinawo enkola y’okusiima abantu ssekinoomu n’ebitongole ebiba bisasudde obulungi omusolo kuba ndaba nga kyandiwadde amaanyi n’abalala okusasulira mu budde.

Mwami Kakomo, buli mwaka, ekitongole kya URA kirina enkola ennambulukufu mwe kisiimira abawi b’omusolo ababeera bakoze obutaweera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku musolo. Bano, basiimibwa mu ngeri ez’enjawulo okuli okubakyalira mu bifo gye bakolera ssaako n’okuyitibwa ku kitebe kya URA ekikulu ne basiimibwa.

Kiki ekibagaana okussa omusolo ku makanisa ate nga kimanyiddwa nti galina ennyingiza kuba bafuna ebiweebwayo n’abasiga bangi ensangi zino.

Ekkanisa n’amasinzizo gonna, ekiweebwayo, zakat ne ssaddaaka tekuggyibwa musolo. Kino kiri bwe kityo kubanga ennyingiza eno eba tevudde mu kukola bizinesi za kufuna magoba, ng’eno ye nsonga lwaki ensimbi ezo gavumenti yaziwa obuweerero. Kyokka amasinzizo bwe gafuna ennyingiza okuva mubintu ng’amasomero, leediyo, TV ebifo ebipangisibwa n’endala, ennyingiza eyo teyaweebwa buweerero, n’olwekyo, eggyibwako omusolo. Buvunaanyizibwa bw’abaddukanya amasinzizo okuwandiisa ebivaamu ennyingiza ku TIN yaabwe, oluvannyuma ne batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okwanjula ennyingiza n’okusasula omusolo.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content