
1- Abantu abafuna omusaala wano mu ggwanga bagyibwaako omusolo gwa bitundu bimeka kituyambe okumanya ssente entuufu bakama baffe ze bateekeddwa okututemako buli mwezi kunsonga ya PAYE?
Omusolo oguggyibwa ku musaala gw’abakozi ogumanyiddwa nga Pay As You Earn guwoozebwa mu mbeera ez’enjawulo nga bwe ziragiddwa wammanga:
|
Ensimbi eziyingizibwa mu mwezi |
Omusolo ogusasulwa |
|
Ensimbi ezitasukka Shs. 235,000/= |
Teri musolo gusasulwa |
|
Ensimbi ezisukka Shs. 235,000/= naye nga tezisukka Shs. 335,000/= |
Ebitundu 10 ku 100 (10%) ku nsimbi ezisukka Shs. 235,000/= kyokka nga tezisukka Shs. 335,000/=. |
|
Ensimbi ezisukka Shs. 335,000/= naye nga tezisukka Shs. 410,000/= |
Shs. 10,000/= ng’ogasseeko ebitundu 20 ku 100 (20%) ku nsimbi ezisukka Shs. 335,000/= |
|
Ensimbi ezisukka Shs. 410,000/= |
a. Shs. 25,000/= ng’ogasseeko ebitundu 30 ku 100 (30%) eby’ensimbi ezisukka Shs. 410,000/= b. Ensimbi eziggyibwako omusolo bwe zisukka Shs. 10,000,000/=, ebitundu 10 ku 100 (10%) biggyibwa ku nsimbi ezisukka mu Shs. 10,000,000/=. |
N’olwekyo, omusolo guno guwoozebwa okusinziira ku nnyingiza y’omukozi. Jjukira nti ddembe lyo ng’omukozi okutegeezebwa akukozesa omusolo ogukuggyiddwako buli mwezi ng’akuwa akapapula akalaga obukakafu bwagwo (pay slip)
2- SACCOS ezitaneewandiisa n’ekibiina kya UMRA okufuna layisinsi okutereka n’okuwola ssente nazo zigyibwaako emisolo ku magoba ge zibeera zikoze okuva mu bamemba baazo mu ggwanga?
Omusolo gusasulwa bizinesi eyeewandiisizza ku musolo. Ebibiina by’obwegassi ebitereka n’okuwola ensimbi ba memba baabyo ebimanyiddwa nga SACCO byaweebwa obuweerero ku musolo ku nnyingiza yaabyo (Income Tax) okutuuka nga 30 June 2027.
3- Omusolo gwa Customs tax tuteekeddwa gukusasula ddi?
Omusolo oguggyibwa ku bintu ebiyingizibwa mu ggwanga gisasulwa mu kiseera ebintu ebyo by’oguze we biyingirira mu ggwanga okuyita ku nsalo y’eggwanga oba ku kisaawe ky’ennyonyi. Kyokka mu mbeera ez’enjawulo, waliwo ebintu ebisasulirwa omusolo nga byakatuuka ku myalo okuli ogw’e Mombasa oba Dar-es-Salam ng abwe kiba kirambikiddwa Kamisona wa Kasitomu.
4- Nawandiiisiza kkampuni yange mu December wa 2024, naye bansindikidde obubaka okuva mu URA nti manjibwa engassi ya 1,000,0000/= mu January wa 2025? Ddala kino kyazze kitya nga siremererwangako kusasula misolo gy’enteekeddwa kusasulwa?
Bw’otandika bizinesi ey’engeri yonna, oba n’obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebiwandiiko oluvannyuma n’ossaamu litaani ssaako n’osasula omusolo. Engassi ereetebwa embeera ereetebwa embeera ez’enjawulo nga kwekuli n’omuntu obutassaamu litaani mu budde newankubadde ng’asasudde omusolo. Nkusaba okyalire woofiisi ya URA ekuli okumpi bakulambululire ensonga lwaki engasi eyo yakussibwako. Jjukira nti osobola okukozesa omukisa gw’ekisonyiwo ekyateereddwawo kw’abo bonna abaateekwako amagoba n’engassi okutuuka nga 30 June 2024 singa basasula omusolo ogubabanjibwa nga 30 June 2026 terunnayita, nga baaskusonyiyibwa amagoba n’engasssi.
5- Nkola nya singa nsasula omusolo mu bujjuvu kyakka nga muliraanwa wange bwe tukola bizinesi y’emu nga ye tasasula?
Buli mukozi wa bizinesi ateekeddwa okusasula omusolo omutuufu okusinziira ku nnyingiza ye oba amagoba g’akola muliraanwa wo obutasasula musolo si kya bwenkanya kubanga tewaba kuvuganya kwa kyenkanyi. N’olwekyo, bwe weesanga nga muliraanwa wo tasasula musolo mu butuufu bwagwo, nkusaba otutuukirire ku nnamba 0772141075. Nkusuubiza nti obubaka bwo bwakukuumibwa nga bwa kyama, era tujja kukola ekisoboka ekisoboka okulaba nga muliraanwa wo asasula omusolo omutuufu.
6- Lwaki URA teteeka misolo ku bintu bya Bamusigansimbi abatundira emmaali yaabwe ebweru w’ebibangirizi bya Bannamakkolero? Kino kijja kuyamba okutondawo emirimu gy’abasuubuzi abateekeddwa okubibasuubulako okubiguza bakasitoma baabwe mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo?
Ebyamaguzi ebifulumizibwa mu kkolero lyonna mu Ugada biteekebwako omusolo nga tetusinzidde wa webitundiddwa. Ekya bannamakolero okwetundira ebyamaguzi kyokka nga babisuubuzizza n’abasuubuzi kisobola kugonjoolwa minisitule y’ebyobusuubuzi.
7- Omuntu bw’afa, musigala mukyamuggyako omusolo?
Omuntu yenna bw’afa enkolagana ye ng’omuntu ne URA eggalwawo kyokka bw’aba ng’alina bizinesi, omuntu omulala alondebwa mu mateeka okugiddukanya (Administrator). Bizinesi ezo zisigala ziggyibwako omusolo kasita ennyingiza eba ng’ekyaliwo.
8- Boda boda ewa income tax?
Yee Bodaboda esasula omusolo ogumanyiddwa nga Advance Income Tax nga guno gusasulwa buli mwaka. Mu Uganda, buli boda boda eweebwa olukusa okusaabaza omuntu omu, ng’era esasula omusolo gwa nsimbi 20,000/= buli mwaka. Bw’ofuna ennamba y’omusolo oba TIN ng’olina ennyingiza endala yonna, ooteekeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo nga n’okusasula omusolo oguba gukugerekeddwa okusinziira ku TIN eyo.
No Comments yet!