
Singa omukozi wa URA akozesa obukambwe obususse ng’akwasisa amateeka ne buviirako omuntu okufuna akabenje asobola okuvunaanibwa?
Buli mukozi wa URA alina amateeka agamulambika ku buvunaanyizibwa bwe ng’akola omulimu ogumuweereddwa. Omukozi wa URA bw’atuusa obuvune ku muntu mu bugenderevu, avunaanibwa ng’omuntu nga kino kikolebwa ekitongole kya URA, era omusango bwe gumukka mu vvi, abonerezebwa ng’amateeka bwe galagira.
Ssemakula e kiteezi – Nasasula omusolo gwa Withholding tax ku mmotoka yange nga ngiyingiza mu ggwanga kyokka sirina bizinesi gye nkola, mu bufunze bankozesa. Omusolo guno nkola nzikirizibwa okugusaba bagunzirize?
Mwami Ssemakula, bw’oyingiza emmotoka mu mannya go n’osasula omusologwa Withholding tax, okkirizibwa okuddizibwa ensimbi ezo singa otumatiza nti ennyingiza yo ya mulimu gy’okozesebwa yokka. Wano, osobola okussaamu okusaba n’oddizibwa ensimbi ezo.
Omuntu alina ennyumba ey’emizigo ebiri nga buli gumu bagupangisa sh. 80,000/- mbeera nsasula omusolo gwenkana ki?
Bw’oba n’emizigo ebiri nga buli gumu ogufunamu ensimbi 80,000 buli mwezi kitegeeza nti emizigo ebiri gikuwa ensimbi 160,000 buli mwezi, ekitegeeza nti mu mwaka ofuna ensimbi 1,920,000. Jjukira nti ensimbi ez’essalira eziggyibwako omusolo ziri 2,820,000 mu mwaka. Kino kitegeeza nti olw’okuba ensimbi z’oyingiza ziri wansi w’ezessalira, toggyibwako musolo. Wabula kino tekiggyaawo buvunaanyizibwa bwo kussaamu litaani newankubadde nga tolina musolo gwa kusasula.
Ennyingiza ya L.C eva ku sitampu gye bakuba ku bintu ebyenjawulo lwaki temutandika okugiwozaako?
Aba L.C. basuubirwa okutuusa obuweereza eri abantu b’omukitundu. Ensimbi eziggyibwa ku bantu zisuubirwa okuba nga ziddukanya woofiisi ya ssentebe w’ekyalo n’ekitundu mw’asangibwa.
Nnyina business naye baaginzibako nga maze okugiwandiisa mu URSB nga URA yangerekera omusolo era TIN number yange eri 1020569031. Mu mbeera eno URA eyinza kunyamba etya? (Mark K)
Mwami Mark K, tunyolerwa wamu naawe ku lw’okutaataaganyizibwa mu bizinesi yo. Eky’okuba nga bizinesi yo yabbibwa tekikuggyaako bwannannyini ku TIN yaayo n’obuvunaanyizibwa bwayo ku musolo. Nkusaba weeyanjule ku Poliisi y’omukitundu mwe wali oddukanyiza bizinesi yo oluvannyuma okyalire woofiisi ya URA ekuli okumpi ng’eno ejja kugonjoola ensonga zo.
Abamu tuli bavubi, kyokka URA eyitirizza okutulugunya abavuba mukene mu L.Victoria. Kevin e Wakiso.
URA tevunaanyizibwa ku bikolebwa ku nnyanja. Minisitule eyaweebwa obuvunaanyizibwa obwo ye y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi. Omulimu ogwaffe gwa kukuaanya musolo eri oyo alina ennyingiza nga kino tukikola mu kutegeeragana n’oyo akola bizinesi.
Bwemba nina ebyuma bya zaala kineetaagisa ki okufuna license oba TIN number? (Martin Agaba e Kisoga)
Mwami Agaba, bw’oba olina ebyuma bya zzaala, oteekeddwa okuwandiisa bizinesi yo n’ekitongole kya Uganda Registration services Bureau (URSB) n’eweebwa erinnya. Oluvannyuma owandiisa bizinesi yo ku musolo ne URA n’eweebwa TIN. Wano, weetaaga ebiwandiiko okuli Certificate of Incorporation ne Company Form 20 bino nga bikuweebwa URSB. Okufuna Trading License, weetaaga okusooka okuweebwa olukusa ekitongole kya Lotteries and Gaming Regulatory Board. Oluvannyuma lw’ebyo waggulu, osobola okutandika okuddukanya bizinesi yo ey’ebyuma bya zzaala.
Nga URA mukoze mutya okutuusa obuweereza bwammwe eno wansi mu byalo? (Kasambya-Mubende).
Ng’ekitongole, mulimu gwaffe okutuusa obuweereza obw’enjawulo eri abawi b’omusolo okwetooloola eggwanga okubasobozesa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabweo. Mu mbeera eno tulina woofiisi ez’enjawulo okwetooloola eggwanga (okugeza ow’e Kasambya okubirizibwa okweyuna woofiisi esangibwa e Mubende). Mu ngeri y’emu, tulina woofiisi evunaanyizibwa ku kusomesa. Mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa buno, tukolagana n’abakulembeze b’ebibiina omwegattira abakozi b’emirimu okugeza abasuubuzi, abalimi, bannamakolero n’abalala, nga kuno kw’otadde n’abakulembeze b’ebitundu. Bano tukwatagana nabo nga tuyita mu woofiisi yaffe ey’ekitundu mwebasangibwa. N’olwekyo, bw’oba olina obwetaavu ku buweereza bwaffe, tuukirira woofiisi ekuli okumpi, ate bw’oba oyagala okusomesebwa ku nsonga z’omusolo, nsaba okwatagane n’abakulembeze abo batutuukirire okusaba kwo kuddibwemu.
Jjukira nti ne woofiisi yaffe erina enteekateeka engenderere w’etuukira ku bawi b’omusolo okubasomesa we kiba kyetaagisizza.
No Comments yet!