
Tutandika ddi okukyusa okuva ku TIN okudda ku NIN?
Okukyusa okuva ku TIN okudda ku NIN nkola eyaleetebwa mu nnongoosereza z’amateeka agafuga omusolo mu mwaka gw’ebyensimbi 2025-2026. Ekiseera kino kaweefube wa maanyi ateereddwa mu kuyingiza ennamba y’endagamuntu (NIN) mu akawunti ya TIN. Singa embeera etambula nga bwe tusuubira, tulowooza nti okuva nga 01 January 2027, NIN enaatandika okukozesebwa okuyingira mu akawunti yo eyoomusolo, mu kifo kya TIN. Nkubiriza abawi b’omusolo okukyalira ofiisi zaffe ezibali okumpi, baggyibweko ebinkumu olwo NIN zaabwe zikwanaganyizibwe ne TIN.
Muntu ki omutuufu asasula omusolo gwa VAT? Basuubuzi oba agula ebintu?
Omusolo gwa VAT gwegwo oguggyibwa ku byamaguzi n’obuweereza kwe gwassibwa. Omutu asembayo okugula ebyamaguzi y’asasula omusolo gwa VAT, olwo omusuubuzi bw’aba yawandissibwa ku musolo ogwo n’avunaanyizibwa ku kugukunngaanya ku byamaguzi byonna ebitudiddwa n’aguweereza eri URA buli mwezi.
Lwaki URA yalinyisizza emiwendo kwewanyisiza doola, wakati mu katuubagiro k’ebyenfuna?
Okulinnya kwa ddoola ebiseera bino kiva ku nsimbi entono Uganda z’efuna mu bitundibwa ebweru bw’ogeraageranya ne z’esaasaanya mu kugula by’eyingiza, nga kw’otadde n’olutalo oluli mu kyondo kya buwarabu. Ensimbi ddoola kw’ewaanyisibwa zirangirirwa bbanka ya Uganda enkulu era ne URA kw’esinziira okulaga omuwendo gw’okukyuusa buli mwezi lwe gutandika.
Buvunanyizibwa bwammwe nga URA okulondoola ssente ze mutuggyamu kye zikola oba ogwammwe gukoma ku kuzikung’anya kyokka.
Obuvunaanyizibwa bwa URA kwe kugereka n’kukuŋŋaanya omusolo, olwo ne guweerezebwa mu ggwanika ly’ensimbi z’eggwanga. Omulimu gw’okulondoola ensimbi kye zikola gukolebwa ssaababalirizi w’eggwanga (Auditor General), n’ebitongole bya gavumenti ebiweebwa ensimbi ezo okuzisaasaanya.
Nze Lubowa Ponsiano e Nansana – Komisona ffe abalina bizinensi ezikozesa amasanyalaze agatabeerako ebiseera ebisinga tulina bwe tuyinza okwekubira enduulu ne batukendeereza ku misolo?
Mwami Lubowa, tubasaasira nnyo olw’okutaataaganyizibwa mu bizinesi zammwe ekiva ku butabaako bwa masannyalaze gamala. Omuntu yenna atasobola kukola olw’embeera ng’eyo, ebiseera ebisinga amagoba ge gakendeera si na kindi okukola loosi. Bwe weesanga ng’okoze loosi, teri musolo gw’osasula.
Ndi musuubuzi era nadyagadde okuwandiisa busineness yange mu mateeka kyokka nina okutya nti bwenakaikola abeemisolo nga bajja. Mulina ekiseera kye mutuwa nga tetunnatandika kusasula misolo?
Okutandika bizinesi empya tekitegeeza kusasulirwo musolo kubanga bizinesi eyo eteekeddwa okuba ng’ekola amagoba oba ettunzi erisukka obukadde 10 mu mwaka. Bw’oba ogitandise, kya buvunaanyizibwa ggwe kennyini okyalire ofiisi yaffe ekuli okumpi ensonga z’omusolo zikolebweko. Mu mbeera y’okuweebwa obuweerero eri bizinesi empya, ennongoosereza mu mateeka g’omusolo ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025-26, gavumenti yassaawo obuweerero eri bizinesi ezaawandiisibwa okuva nga 01 July 2026 okumala emyaka esatu singa zituukiriza obukwakkulizo okuli okussaamu litaani emanyiddwa nga Business Infor mation return, okuba nga nnyini yo taganyulwanga mu nteekateeka efaanana bweti n’okuba nga tesukka bukadde 500 mu kapito.
Munaakola mutya nga URA ku kizibu kya business ezigwa buli kaseera kyokka bannyini zo ne basigala nga bafuna obubaka obubajjukiza okusasula emisolo.
Omuntu yenna addukanya bizinesi, bw’afuna okusoomoozebwa bizinesi ye n’eggalawo, akubirizibwa okukyalira ofiisi ya URA emutwala, abakozi baffe bakakase nti bizinesi eyo eggaddwawo. Kino bwe bakikakasa, basirisa TIN yaayo, olwo nannyini yo n’ataddamu kufuna bubaka bumubanja musolo.
Nga URA mulina enkola y’okugerekera business etali mpandiise ku musolo. Kino musinziira kuki okukikola kuba ebyenteebereza ndaba nga tebyesigika.
Buvunaanyizibwa bwa muntu yenna atandise bizinesi okugiwandiisa ku musolo. Kino bw’aba takikoze, tekiggyaawo kuba nti nnyini yo aba n’obuvunaanyizibwa bw’okusasula omusolo. N’olwekyo, bwe tusanga bizinesi nga tewandiisibwanga kyokka ng’ebadde ekola okumala ebbanga, olw’okuba nti bizinesi kika kino tezitera kukuuma biwandiiko, tuwalirizibwa okugeraageranya omusolo gw’okusasula. Okwewala kino, tukubiriza abatandise bizinesi okuziwandiisa ku musolo, okukuuma ebiwandiiko byazo, okussaamu litaani n’okusasula omusolo okwewala okutaataaganyizibwa.
No Comments yet!