
Lwaki URA ensindikira obubaka ku ssimu nga bammanja sh, 8,200,000/- nga sirina bizinensi yonna gye nzirukanya kuba ogwange gwa kwera luguudo mu KCCA (Deus Jjunju).
Mwami jjunju, omuntu yenna bw’aba yeewandiisa ku musolo okufuna TIN, abuuzibwa ennyingiza ye okugeza musaala gw’asasulwa ku mulimu gy’akolera oba bizinesi gy’addukanya. Okufuna obubaka obukujjukiza okusasula omusolo kitegeeza nti wandibaawo ennyingiza gye walaga ng’osaba TIN ng’eno eggyibwa mu bizinesi ob’olyawo eyalagibwa mu butanwa. Osabibwa okukyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi TIN yo ekolebwemu ennongoosereza bizinnesi eyo eggyibweko. Wano tojja kuddamu kufuna bubaka bukujjukiza kusasula musolo kubanga ng’omukozi, ekitongole ky’okolera kye kivunaanyizibwa okukutoolako omusolo gw’abakozi ogumanyiddwa nga Pay As You Earn oluvannyuma ne kigusasula eri URA.
Nyinza ntya okumanya paasiwaadi ya TIN namba yange nga nagyerabira?
Bw’oba weerabira paasiwaadi ya TIN yo, goberera emitendera gino wammanga, okufuna paasiwaadi empya.
- Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
- Beera ng’ayingira mu akawunti yo eya TIN
- Bw’osabibwa paasiwaadi yo, nyiga wansi ku ‘Forgot Password’ ekitegeeza nti paasiwaadi ya TIN yo ogyerabidde ng’era weetaaga kugizza bujja.
- Obubaka okuli paasiwaadi empya bwa kukuweerezebwa ku e-mail gye wakozesa ng’oggulawo TIN yo.
- Bw’oyingizaamu paasiwaadi eyo, ojja kusabibwa okugikyusa okudda mw’eyo gy’osobola okujjukira amangu.
Oluvannyuma, kyusa paasiwaadi yo okudda mw’eyo ekwanguyira, ng’eno erina kuba ya kyama.
Ndi agenti wa mobile money era ssente ze batusasula Gavumenti esalako omusolo. Kituufu mbu ate tulina okusasula bizinensi lisence, olwo mbeera sisasudde omusolo gwa mirundi ebiri ku bizinensi y’emu (Sumaiya e Bulenga).
Mukyala Sumaiya, ensimbi z’osasula okufuna layisinsi tegubeera musolo. Luno lubeera lukusa okukusobozesa okukolera mu kitundu mw’osangibwa. Kyokka, omusolo gw’osasula eri gavumenti gwe gumanyiddwa nga Withholding tax nga guno gukuggyibwako kkampuni y’essimu ne guweerezebwa eri URA. N’olwekyo, kuno tekuba kusasula musolo mirundi ebiri.
Omuntu eyalangirira mu lubu lwabaavu, bwabeerako bisinensi gyakola abeera akyasasula omusolo?
Omuntu yenna eyalangirirwa mu lubu lwa ba lunkupe (Bankrupt) takkirirzibwa kukola bizinesi mu mateeka ga uganda. N’olwekyo aba talina musolo gumuggyibwako butereevu.
Emisolo egyasomeddwa mu Bajeti gitandika ddi okukola kuba ndaba ebintu ebimu byatandise okulinnya?
Emisolo egyasomeddwa mu mbalirira y’eggwanga gitandika okukola nga 01 July 2026.
Wa we nyinza okwekubira enduulu singa nkizuula ng’omubalirizi wammwe ow’omusolo ambala kifuula nnenge?
Bw’oba toli mumativu na ngeri musolo gye gukugerekeddwamu, obutasukka nnaku 45 okuva lw’ogerekeddwa omusolo n’oweebwa assessment, oweebwa ebbeetu okwemulugunya mu nkola emanyiddwa nga ‘Objection’. Wano, oyitira mu mitendera gino wammanga:
- Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
- Yingira mu akawunti ya TIN yo
- Ku mukono gwo ogwa kkono, noonya era nyige ku kigambo ‘Objections’
- Oluvannyuma londako ‘With Liability’, okanyigeko keggule. Ojja kuweebwa ffoomu mw’onojjuza ennamba ya assessment gy’otakkiriziganya nayo.
- Bw’onoogissaamu, ebigikwatako bya kweyoleka
- Ojja kubuuzibwa muwendo ki gw’otokkiriziganya nagwo, oguwerekerezeeko ensonga lwaki tokkiriziganya nagwo. Wano ojja kuweebwa omukisa okussaamu litaani bw’oba wasangibwa togitaddeemu ekkaatirize omuwendo gw’ensimbi gw’okkiriziganya nagwo, oluvannyuma oweereze.
Ojja kugumiikirizaako obutasukka nnaku 90 okuva lw’otusindikidde obubaka obwo okuddibwamu ku kinaaba kisaliddwawo.
Mulina engeri gye muyinza okunyambamu okubala obulungi ebitabo bya business yange ne sifiirizibwa ate nammwe ne mbawa bulungi omusolo (Moses Katabalwa e Nansana)?
Mwami Katabalwa, obumu ku buvunaanyizibwa bw’ekitongole kya URA kwe kusomesa abantu ku musolo n’engeri y’okuddukanyaamu bizinesi zaabwe, ng’obuvunaanyizibwa buno bwaweebwa w’ofiisi y’abasomesa b’omusolo (Tax Education). Kyokka bwe weesanga nga weetaaga obuyambi ku kukubala ebitabo bya bizinesi yo, okubirizibwa okulonda mu ba Tax agents abaaweebwa olukusa. Okukalala luno osobola okulufuna ng’oyitidde mu mitendera gino wammanga:
- Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
- Wansi w’ekibanja kino nyiga ku ‘Choose an Agent’. Wano, ebika by aba ajenti bya kukulagibwa.
- Londako ‘Domestic Taxes Agents’
- Wano olukalala lwa ba ajenti lwa kukweyoleka, olendeko gw’osiimye, akuyambeko mu kubala ebitabo bya bizinesi yo.
Ekitongole kye nkolera batusalako omusolo gwa PAY, NSSF ne Local Service tax, emisolo gyonna giri mu mateeka? (Ibrahim K e Jinja).
Omukozi yenna akola ng’alina ennyingiza, omusaala gwe guggyibwako omusolo gwa PAYE nga bwe kirambikiddwa mu mitendera egy’enjawulo. Omusolo gwa Local Service Tax gwe gwasikira omusolo gw’omutwe, era gusasulwa buli alina ennyingiza eri abo abeekozesa n’abakosezebwa. NSSF si musolo, kuno kuba kweterekera nsimbi eziba zinaakuyamba mu kiseera nga tokyakola.
No Comments yet!