Buuza Kamisona 44

Enkola ya URA okusolooza ssente mu masomero ga Gavumenti yakomawa kuba twali tugyesunze nga tumanyi egenda kutuwonya okutubinika fiizi.

Ekitongole kya URA kyaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okukungaanya ebisale by’amatendekero ga gavumenti aga waggulu gonna okwetooloola eggwanga. Ensimbi zino zisasulwa okuyita ku akawunti za URA mu bbanka ez’enjawulo n’enkola endala zonna okuyitirwa okusasula ebisale okugeza Mobile Money. N’olwekyo, abantu bonna abasomera oba okuweerera mu matendekero ga gavumenti bakubirizibwa okusasula ebisale nga bayitira mu nkola eno.

Ndowooza nti URA lwandibadde mulowooza ku ky’okuzzaawo omusolo gw’omutwe kuba obutabaawo kireetedde abavubuka bangi okulagajjala ne batabaako kye bakola kivaamu ssente.

Omusolo gw’omutwe (Graduated Tax) gwasikizibwa ogwa Local service Tax (LST) n’ekigendererwa ky’okukakasa nti abagusasula balina ennyingiza. Guno gusasulwa abakozesebwa n’abo abeekozesa bokka. Wano bw’oba osasula Trading License osasulirako omutemwa gw’omusolo guno. Jjukira nti ekimu ku bigendererwa by’omusolo guno kuliko okukendeeza ebizibu ebyali byetobese mu ku guwooza okuli ensimbi ennyingi ezaasaasaanyizibwanga okuguwooza, obuvune abagukungaanya bwe baafunanga n’emitawaana emirala mingi. Abavubuka gavumenti efaayo okubakubiriza okukola okuyita mu nteekateeka ez’enjawulo okuli ey’emyoga, Parish Development Model (PDM) n’endala.

Bwe nzimba ennyumba y’amaka, nina kusasula misolo ki?

Olw’okuba ennyumba gy’ozimba nga ya maka eba yiyo ya kusulamu, teri mu musolo gw’ogisasulira kubanga teri nnyingiza gy’ogifunamu ng’omuntu.

Mbuuza ekigambo TIN kitegeeza ki?

TIN, mu bujjuvu Taxpayer Identification Number, y’ennamba y’omusolo eweebwa omuntu ssekinnoomu oba kkampuni eba yeewandiisizza ku musolo. Eno egabwa omulundi gumu nga kwe kulondoolwa ensonga z’omusolo zonna.

Weetegereze: Waliwo enteekateeka y’okukyusa okuva ku kukozesa ennamba eno okudda ku kukozesa ennamba y’endagamuntu (NIN) eri omuntu ssekinnomu oba BRN eri bizinesi.

Nina nnamba enkadde eya UBL/R gye njagala okukyusa nfune empya. Bwe muba mulanga mugamba tulina okusasula 150,000/- kyokka bwe nasaba ne bang’amba 700,000. Mumpe ku magezi ekituufu kye kiriwa?

Emmotoka eyingizibwa eggwanga omulundi gwayo ogusooka essibwako ennamba ya digito empya ku nsimbi 715,000. Kyokka bw’oba ng’osangiddwa ng’olina ennamba enkadde ng’oyagala kukyusa kudda ku ya digito, osasula ensimbi 150,000.

Nalina business era nga nafuna ne TIN number. Nagivaako omulala n’atandika okugiddukanya kyokka mu kiseera kino bakyampeereza message nga bammanja omusolo. Nkole ki?

Buli lw’oggulawo bizinesi, n’ogiwandiisa ku musolo ne tukuwa TIN, olina obuvunanyizibwa okututegeezaako bizinesi eno bw’eba efunyeemu okusoomoozebwa okugeza okugiggala oba okukyusa obwannannyini. Ekyo bwekiba tekikoleddwa, URA erowooza nti okyali mu bizinesi, ng’eno y’ensonga lwaki oweerezebwa message ezikujjukiza okusasula. Olw’okuba bizinesi eyo yava mu mikono gyo, bw’oba tolina nnyingiza ndala gy’ofuna ku TIN eyo, nkusaba okyalire woofiisi ya URA ekuli okumpi olwo TIN eno esirisibwe akaseera k’onaamala nga tolina nnyingiza. Nannyini bizinesi eno akubirizibwa okufuna TIN ye ku lw’omusolo gw’erina okusasula.

Lwaki emisolo temugituteera mu nnimi ennansi ebiwandiiko okusinga okubituwa mu lungereza lwe tutategeera (Brian Ssekamatte e Mukono).

Mwami Ssekamatte, ebiwandiiko ebikwata ku musolo bivvuunulwa mu nnimi ennnansi 13! Okusoma ebiwandiiko bino, nkukubiriza okukyalira ekibanja kyaffe ku www.ura.go.ug  Mu mbeera y’emu, waliwo n’obutabo obufulumizibwa mu nnimi ez’enjawulo obukwata ku musolo. Nkukubiriza okujjumbira emisomo gyaffe oba okukyalira woofiisi ya URA ekuli okumpi, osome ku biwankiike bino.

Singa Gavumenti ebowa emmotoka z’omukungu wa Gavumenti ne zitundibwa ku nnyondo era muziggyako omusolo?

Emmotoka yonna bw’eba eyingizibwa eggwanga awatali kwawulamu oba ya mukungu wa gavumenti oba nedda, eteekeddwa okusasulirwa omusolo. Kyokka bw’emala ebbanga eryalagirwa mu mateeka nga tennasasula musolo, esobola okutundibwa ku nnyondo. Mu mbeera y’emu gavumenti bw’eba eboye emmotoka y’omukungu yenna, n’esalawo okugitunda ku nnyondo, ensimbi ezo ziba za gavumenti ate mu mateeka, ennyingiza ya gavumenti teggyibwako musolo.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content