
Lwaki buli lwetuva mu kalulu amafuta galinnya, kino nkyetegerezza ebbanga ddene (Aaron Bbaale e Masaka).
Mwami Bbaale, okulinnya kw’amafuta kiva ku nsonga nnyingi era ez’enjawulo. Mu kiseera kino, okulinnya kw’amafuta tekuva ku kalulu akaakaggwa, wabula nga minisita bwe yalambise gye buvuddeko, olutalo oluli wakati w’amawanga okuli Amerika, Yisirayiri ssaako ne Iran, kyaviirako okuggala akagolomolo akamanyiddwa nga Strait of Hormuz, ng’ate kano ke katambuza amafuta okuva mu mawanga g’ekyondo kya Buwarabu okuli Saudi Arabia, Qatar, Bahrain, Kuwait, Iraq n’amawanga amalala. Kino kyaviirako ebbula ly’amaafuta olw’okuba nti tegasobola kutuuka ku katale k’ensi yonna.
Nze Hassana okuva e Mbale, nina emmotoka yange ekika kya Starlet namba UAB 031R. Nina kusasula ssente meka okufuna digital number plate? Logbook gye nina ye ya kiragira naye nga Mzee eyaginguza yafa. Nyinza kuyambibwa ntya?
Mwami Hassan, nga tonnasaba nnamba ya digito, osaanye wekkaanye engeri y’okukyusa kkaadi y’emmotoka yo okuva ku ya kiragala okudda ku njeru (e-logbook). Engeri gye kiri nti annyini mannya agali mu kkaadi yafa,
- Langa mu mawulire ng’oyita be kikwatako okukuyamba mu kukyusa obwannannyini bw’emmotoka, ng’eggulire lino lirina okutambula okumala ebbanga wiiki bbiri, lisobole okusomebwa.
- Olupapula ekirango kyo kwe kiyitidde, lukuume. Kyalira poliisi ekuli okumpi, ogitegeeze nti nannyini w’emmotoka yafa.
- Poliisi yaakukuwa alipoota ekakasa nti wabulwa gwe kikwatako ku kkaadi eyo. Twala emmotoka yo ku woofiisi ya minisitule y’ebyentambula esangibwa ku kitebe ekikulu e Nakawa.
- Ojja kuweebwa akapapula kw’onoosasulira ensimbi z’okugyekebejja, eekebejjebwe, oweebwe alipoota y’ebikwata ku mmotoka yo.
- Oluvannyuma, ojja kugenda mu kkooti n’ebiwandiiko ebyo waggulu, ekuwe court order ekukkiriza okukyusa obwannannyini bw’emmotoka okuva mu mannya g’oyo eyafa okudda mu gago.
Ojja kusasula ensimbi 150,000 nga zino ze z’okugula nnamba puleeti ya digito, era ekuweebwe.
Davis Senkindi ku Mini Price mu Kampala, Nalina TIN Number gye nsasulirako, bwe namala ebbanga nga sisuubula ne bankubira amasimu nga bagamba bamanja ate nga sirina bbanja lyonna. Kyantuukako nga twakava mu Covid, mu budde buno simanyi oba bakyamanja era nyinza kutandikirawa?
Mwami sekindi, bw’oweebwa TIN eggyirako obuvunaanyizibwa bw’okussaamu ennyanjula ya bizinesi yo ssaako n’okusasula omusolo, nga buno bw’otabutuukiriza, system yaffe ekugerekera omusolo butereevu mu kimanyiddwa nga Default Assessment. Ensonga lwaki ofuna obubaka oluvannyuma lw’ebbanga nga tokola, eri nti TIN yo ekyalabiba mu system yaffe. Okugonjoola ensona eno, kyalira w’ofiisi y’omusolo ekutwala mu kitundu kyo oyambibwe. Olwokuba waggalawo bizinesi yo, TIN yo yaakusirisibwa, era obubaka obukubanja omusolo bujja kukoma. Kyokka bw’onaddamu okukola bizinesi, ojja kuba oteekeddwa okuddamu okuzuukusa TIN eyo enaaba esirisiddwa, ogende mu maaso n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ku musolo.
Nyinza ntya okuzuula oba nga kampuni yange ebadde esasula omusolo gwa Withholding tax?
Omusolo gwa Withholding tax guwoozebwa abo abaaweebwa olukusa okugukungaanya (Withholding Agents), okuva kw’abo ababaguza ebyamaguzi oba obuweereza nga bisuka akakade kamu. Bano babaggyako ebitundu 6 ku 100 (6%) ku muwendo gw’okubasasula ne baguweereza eri URA oluvannyuma lw’omwezi. Engeri y’okumanyaamu oba kampuni yo yasasula omusolo guno, kyalira woofiisi ya URA ekuli kumpi. Wano tujja kwetaaga TIN yo okukeberaomusolo oguzze gusasulwa ebbanga eriyise nga muno mw’otwalidde n’ogwa Withholding tax.
Nze njagala mulimu gwonna ne bwe gubeera gwa kwera mu luggya kuba saasoma ate nga sirina mulimu (Sarah Nabakooza).
Mukyala Nabakooza, URA erina enirimu egy’enjawulo gy’etera okulanga mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo okuli ne gi muggattabantu. Nkusaba okebere mu mikutu egyo, oluusi emirimu bwe gityo gibaamu.
Ssente Gavumenti z’ewola abayizi okusoma ku looni, ziteekebwako omusolo nga bazisasula mu maaso?
Ennyingiza ya gavumenti yasonyiyibwa okusasula omusolo okusinziira ku tteeka ly’omusolo ku nnyingiza (Income tax Act). N’olwekyo, teri musolo gussibwa ku nsimbi abayizi ze basasula eri gavumenti oluvannyuma lw’okubawola mu nteekateeka z’okusoma.
Enkola ya EFRIS erimu ebituli nti mulimu abatunzi abagattamu ebitundu 18 ku 100. Kyokka abamu bagyebalama ne batagikozesa n’ekigendererwa ky’okufuna amagoba amangi. Ensonga eno mu gisalidde magezi ki?
EFRIS bwe yaleetebwa mu Uganda, minisita w’ebyensimbi yalondobayo abo bonna abeewandiisa ku musolo gwa VAT ng’era ya buwaze gye bali. Nga URA tukola ebikwekweto eby’enjawulo ku bizinesi era ezo ezisangibwa nga tezigissa mu nkola oba nga zeebalama okusasula omusolo gwa VAT, baweesebwa engassi eyenkana n’obungi bw’omusolo gwe zirina okusasula nga gukubisiddwamu emirundi ebiri.
Okusasula omusolo nga neeyambisa essimu kituufu nti osasula ssente nnyingi okusinga azitutte mu bbanka mu mpeke (Yunusu Muleterwa).
Nedda. Bw’okozesa essimu okusasula omusolo tekyongeza bungi bwa nsimbi z’osasula. Wano, oggyibwako ebisale ebisaamusaamu okusinga ate bwe wanditindizze eggendo okugenda mu bbanka, ebiseera ebimu ezitubeera ewalako ng’ate nazo zisasuza ensimbi z’okusasula. Jjukira nti otaasa n’ebiseera by’okusimba ennyiriri ng’osasula. N’olwekyo, okubirizibwa okusasula omusolo ng’oyita ku ssimu yo olw’obwangu bw’enkola eno.
No Comments yet!