Buuza Kamisona 46

URA mbasaba mutandike enkola y’okwasanguza ebitongole ebyebulankanya okusasula omusolo ensi yonna ebimanye osanga ebirala binaasasula.

Ekitongole kya URA kyalina enkola mwe kyayitanga okwasanguza amannya ga bizinesi n’abantu ssekinnoomu ababeera batatuukirizza buvunaanyizibwa bwabwe ku musolo mu mwaka gw’ebyensimbi. Tweyanzizza ekirowoozo ekyo era ka tukyetegereze.

Ssebo Mw. Rujoki, simanyi oba olina bizinensi gyoddukanya kuba ekiro ewaffe tetukyalaba bakasitooma. Magezi ki g’oyinza okutuwa okwongera okufuna abali mu bizinensi y’okutunda engoye kuba byatusoboka (Florence Namagembe e Nansana).

Mukyala Namagembe, buli lw’otandika bizinesi, wabaawo ennaku z’okutunda ennyo wamu n’ezookusoomoozebwaa. Mu biseera bino byonna okubirizibwa okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo, nga bino bye by’okutuyambako okumanya omusolo gw’okusasula. Kino kiri bwe kityo kubanga ettunzi ly’okoze oba amagoba ga bizinesi yo ge gasinziirwako okugereka omusolo.

Alex Kyakijumba. Bwe nguli emmotoka ng’eri mu mannya geyaginguza okugizza mugange era lwaki muba mwagale nsasule?

Mwami Alex, obuweereza obukwatagana ku kukyusa ekintu kyonna ku mmotoka busasulirwa, era jjukira nti oteekeddwa okuba ng’olina ennamba y’omusolo oba TIN. N’olwekyo ku nsonga yo ey’okukyusa obwannannyini ku mmotoka ekimanyiddwa nga transfer of ownership osasula nga bwe kirambikiddwa wammanga; Ggwe akyusa emmotoka eya buyonjo, osasula 84,000, pikipiki 74,000, n’emmotoka enkozi z’emirimu osasula 104,000.

Ekitongole kya URA kiwuliziganya ne Palamenti bwe wabaawo amateeka g’omusolo amapya agayisibwa?

Yee. Ekitongole kya URA kiwuliziganya butereevu ne Palamenti bwe wabaawo ennongoosereza ku musolo eziba zireeteddwa. Jjukira ng’oggyeeko okugereka, okukungaanya n’okwanjula omusolo mu kittavu kya gavumenti, obuvunaanyizibwa bwa URA obulala kwe kuwabula gavumenti ku mateeka g’omusolo mu ggwanga.

Singa mbeera ne Kampuni gye mmanyi etunda ebyamaguzi ebirina okuteekebwako sitampu za digito kyokka nga teziteekako, nkola ntya?

Bw’oba ne kkampuni gy’omanyi ng’efulumya n’okutunda ebyamaguzi ebiteekeddwa okussibwako sitampu za digito (Digital Stamps) kyokka nga tezissaako, nkusaba otutemyeko ku nnamba yaffe etasasulirwa ku 0800257700. Obubaka bwo bwa kukuumibwa nga bwa kyama tusobole okulondoola kkampuni eyo era nnyini yo alambikibwe ku ky’okukola

Bizinesi y’omwana omuto atannaweza myaka 18 nayo esasula omusolo?

Bizinesi bw’eba ewandiisiddwa mu mannya g’omwana atannaweza myaka 18, eteekeddwa okussibwako abayima baayo okutuuka omwana lw’aweza emyaka 18. Nga bizinesi endala zonna, n’eno eteekeddwa okusasula omusolo bweba erina ennyingiza n’amagoba g’ekola.

Kitimbo e Mpererwe: Bwe mbeera ne bizinesi yange n’egwa, oluvannyuma ne nziramu okukola emirimu, TIN yange ne litaani bikolebwa bitya?

Mwami Kitimbo, bw’oba ne bizinesi n’egwa, kyalira URA TIN yaayo esirisibwe, era bw’oba ozzeemu okukola, oteekeddwa okudda ne tuzuukusa TIN eyali yasirisibwa. Ekiseera TIN ky’emala nga yayimirizibwa kitegeeza nti oba tokakatibwako kussaamu litaani ya bizinesi yo. Kyokka bizinesi bw’eddamu okutojjera, oteekeddwa okussaamu litaani n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala bwonna ku musolo.

Nansikombi e Nateete: Ndi musuubuzi wa masimu era bizinesi yange nagifunira TIN. Ennaku ezo naggulawo edduuka ly’ebyamasannyalaze. Eno bizinesi nayo nteekeddwa okugifunira TIN?

Mukyala Nansikombi, buli lw’otandika bizinesi, oteekeddwa okugiwandiisa n’efuna erinnya mu butongole okuva mu kitongole kya Uganda Registration Service Bureau (URSB). Oluvannyuma, lw’okugiwandiisa, gifunire TIN okuva mu URA. Bw’oba ne bizinesi empya gy’otandise, gyongere ku TIN okuli ey’amasimu.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content