
Bwe neewola ssente ku ssimu, amagoba ge batusaba nago mugaggyako omusolo kuba galabika nga gasusse obungi.
Kampuni z’esimu zikolagana ne bbanka ez’enjawulo okuwola abantu ensimbi. Ebiseera ebimu kampuni ezo zennyini zirina enteeketeeka mwe ziwolera abantu ku nsimbi zaazo. Ensimbi zino bwe ziba zisasulwa, musasulirwamu amagoba, ng’amagoba ago gye galaze ye wassibwa omusolo.
Singa ng’ana okusasula omusolo gwa bizinensi n’egwa, kirina engeri gye kiyinza okunkosaamu nga nzizeemu okuggulawo bizinensi endala mu maaso?
Bw’oba ne bizinesi nga wagiwandiisa ku musolo, eweebwa TIN ng’eno ejjirako obuvunaanyizibwa bw’okusasula omusolo. Bizinesi eno bw’egwa, TIN yaayo n’esigala ng’eriko omusolo ogubanjibwa, oluvannyuma nnyiniyo n’aggulawo bizinesi endala, akozesa TIN y’emu ku bizinesi empya. Kino kitegeeza nti olw’okuba bizinesi enkadde yali ebanjibwa omusolo, ekkatala lino lisigalawo ku bizinesi empya.
Twagala kutandikawo enkola y’okusondera bannaffe ssente z’okuzimba, kituufu nti ssente ezo tuba tulina okuzisasulira omusolo?
Omusolo gusasulwa ku nnyingiza ya bizinesi oba amagoba agakoleddwa. Bwe wabaawo okusondera omuntu ensimbi okukola ekintu kyonna, teziggyibwako musolo kubanga ziba tezivudde mu kukola mirimu.
Omuntu bwawangula omusango mu kkooti ne babeeramu ssente ze bamuliyirira nazo zisasulirwa omusolo okuzifuna?
Omuntu bw’awangula omusango mu kkooti n’abaako ensimbi ezimuliyirirwa, okumanya oba ziggyibwako omusolo oba teziggyibwako kisinziira ku nsonga lwaki aliyiriddwa ensimbi ezo. Okugeza, bw’aba aliyiriddwa okugobwa ku mulimu mu bukyamu, kitegeeza nti ensimbi ezimuliyiriddwa gwandibadde musaala oguggyibwako omusolo mu mateeka, n’olwekyo, ziggyibwako omusolo. Mu mbeera endala, omuntu bw’aliyirirwa okugeza olw’okwonoona erinnya lye, ensimbi zino teziggyibwako musolo kubanga mu mbeera eya bulijjo tezitwalibwa nga nnyingiza eggyibwako musolo mu mateeka.
Singa abasirikale ba URA bayimiriza omuntu nga baagala okwaza ebyamaguzi omuntu n’agaana, avunaanibwa musango ki era kuliko kibonerezo ki?
Ofiisa wa Kasitomu bw’ayimiriza omuntu n’ekigendererwa ky’okwaza ekidduka kyokka nnannyini kidduka n’agaana, guba musango. Omusango guno bwe gumukka mu vvi, atanzibwa okusinziira ku tteeka erirungamya enkunngaanya y’omusolo gwa Kasitomu (erya East African Community Customs Management Act).
Okugeza bwe muzuulibwamu ebyamaguzi ebyawerebwa, asibwa emyaka egitasukka etaano oba okusasuzubwa ensimbi ebitundu 50 ku 100 ku musolo gwabyo oba okukola ebibonerezo byombi.
Solomy e Jinja, simanyi oba nga mukimanyi nti abasuubuzi baffe badduse mu ggwanga olw’emisolo egisusse ne bagenda e Kenya. Kino temulaba nga kivaako eggwanga okufiirizibwa.
Mukyala Solomy, omuntu yenna bw’aba akola bizinesi, aba n’ensonga ez’enjawulo lwaki alonda ekifo mw’assa bizinesi okuli akatale, ebikozesebwa n’ebirala. N’olwekyo, si musolo gwokka nti gwe guviirako abantu okusengula bizinesi zaabwe okuva mu ggwanga erimu okudda mu ddala.
Omuntu asuubula ebintu ebyonooneka amangu ng’ekitongole mumuyamba mutya okulaba nga tebimwonoonekerako mu kkubo? Juliet Namuleme e Katalemwa.
Ebyamaguzi ebyonooneka amangu kitera okuva ku ngeri gye bireetebwamu, okugeza obutabitambuliza mu mbeera esobola okubikuuma nga biramu. Nga gavumenti, emmotoka ezikuuma ebyamaguzi ebyonooneka amangu (eza firiiji) zaaweebwa obuweerero ku musolo gwa Import Duty n’ekigendererwa ky’okusobozesa abantu okuzifuna ku bbeeyi ensaamusaamu. Jjukira nti ebyamaguzi bino bwe bituuka mu ggwanga, bisoosowazibwa mu kukolebwako aba Kasitomu ne biweebwa ba nnyini byo. Mu mbeera endala, abantu abafulumya ebyamaguzi ebyonooneka amangu balina ebitundu ebyassibwawo mwe babitereka (cold rooms) mu free zones nga wano biyambibwako obutoonooneka mangu nga bwe birinda okufulumizibwa eggwanga.
Abantu bangi abagobeddwa ku makubo olwa trade order, kyokka nga babadde basasula omusolo. Temulaba ng’abantu b’ekika ekyo mwetaaga okubaliyirira kuba kitegeeza mubadde mubaggyako ssente mu bukyamu.
Abantu okusengulwa ku makubo mu nkola ya Trade Order kyakolebwa lwa nsonga nti amakubo tegakkirizibwa kukolerwako bizinesi, n’olwekyo, teri musolo gwabaggyibwangako mu mateeka. N’olwekyo, teri nsimbi ze balina kuliyirirwa.
No Comments yet!