Buuza Kamisona 64

Nawulidde nti mwayongezza ennyingiza ya bizinesi etandikirwako okuwandiisibwa ku musolo gwa VAT. Kino kitegeeza nti ne kwe musinziira okuggya omusolo ku bizinesi entonotono kukyukamu?

Okusinziira ku nnongoosereza mu tteeka ly’omusolo gwa VAT mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027, ensimbi ez’essalira ng’ettunzi mu bizinesi ezitandikirwako okuwandiisa bizinesi ku musolo gwa VAT zaayongezebwa okuva ku bukadde 150 okudda ku 300 mu mwaka. Wabula, ensimbi mu ttunzi ezisinziirwako okuggya omusolo ku bizinesi entonotono zo tezaakyusibwa (zaasigalayo okuva nnyingiza esukka obukadde 10 okutuuka ku bukadde 150 mu mwaka).

Nga nnyingizza ebyamaguzi byange mu Uganda ne nsasula omusolo gwa Withholding tax, kituufu nti ensimbi ezo bazinziriza?

Bw’oba oyingiza ebyamaguzi mu ggwanga, osasula emisolo egy’enjawulo okuli n’ogwa Withholding tax ku bitundu 6%. Ensimbi ezo zikuddizibwa mu singa weesanze ng’oyingizza emmotoka yo ey’obuyonjo, n’otukakasa nti mu kukozesebwa wokka w’oggya ennyingiza (amakulu ng’osasulwa musaala). Kyokka ensimbi ezo tezikuddizibwa mu mpeke bw’oba ne bizinesi. Wano, okozesa ensimbi z’osasudde ng’omusolo gwa Withholding tax okukendeeza ku kkatala ly’omusolo gw’osasula ku nnyingiza, mu kimanyiddwa nga tax credit.

Nze Ssenono e Kawempe. Nina obuyumba bwange obw’abapangisa, nange nteekeddwa okwewandiisa ku nkola ya EFRIS?

Mwami Ssenono, ennyumba zo ez’abapangisa bw’oba oziggyamu ensimbi ezitasukka 2,820,000 mu mwaka, tokakatibwako kwewandiisa ku nkola ya EFRIS. kyokka, bw’oba oziggyamu ensimbi ezisukka ezo waggulu, oteekeddwa okwewandiisa ku nkola ya EFRIS era abapangisa bo obawe e-receipts.

Singa omukozi wa URA ayolesa empisa ensiiwuufu ng’agereka n’okukunngaanya omusolo, nneekubira wa enduulu?

Buli mukozi wa URA ateekeddwa okwolesa empisa ennungi ng’akolagana n’abawi b’omusolo. Singa weesanga nga waliwo ayolesezza empisa ensiiwuufu, osobola okututegeezaako ng’oyita ku nnamba y’essimu; 0800257700. Ojja kuyambibwa.

Nfuna ntya omulimu mu URA era mirimu ki egiriyo mu kiseera kino? (Jane Abbo e Soroti)

Mukyala Abbo ekitongole kya Uganda Revenue Authority kikozesa obwerufu mu kunoonya ebitone eby’enjawulo okusinziira ku bwetaavu bw’abakozi obuba buliwo. Kino kikolebwa okuyita mu kulanga emirimu, n’okugoberera okugezesebwa okwenjawulo, olwo okuvuganya ne kubaawo, abanywedde mu bannaabwe akendo ne baweebwa emirimu egyo. Nkukubiriza okukeberanga ku kibanja kyaffe wansi wa Careers okulaba emirimu egiba girangiddwa.

Okuwandiisa ekiwandiiko kyonna mu URSB, kiriko omusolo gwa ssente meka?

Nze Nabisere Christine e Nansana – Omusolo gwa Stamp Duty ku ttaka gusasulwa atunda oba agula, era gubalibwa gutya?

Mukyala Nabisere, omusolo gwa Stamp Duty ku ttaka gusasulibwa agula, ng’era y’oyo obwannannyini ku ttaaka eyo gwe buddira. Omusolo ogwo gubalibwa bwe guti:

  • Omubalirizi wa gavumenti ow’ebyettaka omutongole (Chief Government Valuer) afuna okusaba kw’oyo eyandyagadde okukyusa obwannannyini ku ttaka.
  • Abalirira omuwendo gw’ettaka eryo
  • Ku muwendo gw’abaliridde, kwe kuggyibwa ekitundu 1.5%

Okugeza: Singa ettaka libalirirwamu 10,000,000

Omusolo ogusasulwa = 1.5% X 10,000,000

= 150,000

Amos Mugoya e Iganga: Omuntu bwatandika bizinensi, URA ejja mangu okumugerekera omusolo nga ne bizinensi tennaba kukola magoba. Lwaki mukola mutyo?

Mwami Kibuule, bizinesi bw’eba tennakola magoba, terina musolo gugigerekerwa ku nnyingiza mu mateeka.  Kyokka, buli lw’otandika bizinesi, oteekeddwa okwewandiisa ku musolo, n’oweebwa TIN nga wano olina obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo oluvannyuma n’ossaamu ennyanjula oba litaani eya buli mwaka. Bw’otakola ekyo, tuba tusigazizza kujja ne tuteebereza ennyingiza yo, oluvannyuma ne tukugerekera omusolo gw’okusasula.

Nfiirwa ki singa siwandiisa bizinesi yange ku musolo?

Bw’otowandiisa bizinesi yo ku musolo, ofiirwa mu ngeri zino wammanga:

  • Gavumenti eba tekumanyi n’olwekyo, mu nteekateeka ez’enjawulo okugeza okudduukirirwa mu biseera by’obusandali ng’amataba tolowoozebwako.
  • Tosobola kuganyulwa mu ttenda za gavumenti kubanga oba tosobola kufuna Tax Clearance Certificate (TCC). Jjukira gavumenti ye muntu asinga obugagga mu ggwanga.
  • Tosobola kuganyulwa mu nteekateeka z’okwekulaakulanya ezissibwawo gavumrnti okugeza GROW.
  • Bizinesi yo, mu mateeka tekkirizibwa kuweebwa lukusa lwa kukolera mu kifo w’oba osiimye
  • Toba na bwannannyini ku linnya lya bizinesi eyo. Era, omuntu omulala Asobola okujja n’awandiisa bizinesi ye mu linnya lye limu mw’okolera, era wano akkirizibwa okukugaana okuddamu okukozesa erinnya eryo.

N’olwekyo, nkukubiriza okuwandiisa bizinesi yo, ng’oyitira mu kitongole kya URSB, oluvannyuma ogiwandiise ku musolo, kikusobozese okukola emirimu gyo nga teri akutaataaganya.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content