
Nsaba kunambululira ku kisonyiwo gye mpulira eri abantu abamaze ebbanga nga babanjibwa omusolo (Ben Ronald e Busia).
Mwami Ben, Ekisonyiwo kino kiri mu Kitundu 47B mu tteeka erirunngamya enkunngaanya y’omusolo nga wano omuwi w’omusolo asonyiyibwa amagoba n’engassi ku musolo ogumubbanjibwa okutuuka nga 30 June 2024 singa asasula omusolo ogwo nga 30 June 2026 terunnayita. Guno mukisa gwa njawulo okusasula omusolo ogukubanjibwa nga toyongeddwako kazito ka magoba n’engassi, okukusobozesa okutandika obuggya mu lugendo lwo olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ku musolo.
Lwaki URA temuwabula Gavumenti n’etatandika kuwooza musolo ku mafuta mu July kuba gasangiddwa gali waggulu ate bwenagattako omusolo gwa UGX 200 ku buli liita teguujabagire?
Ekitongole kya URA kivunaanyizibwa ku kugereka, kukunngaanya n’okwanjula omusolo eri gavumenti okugisobozesa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwayo. Omusolo ku mafuta gwayisibwa olukiiko lw’eggwanga olukulu era ennongoosereza eno erindiridde omukono g’omukulembeze w’eggwanga. Ensonga lwaki omusolo guno guleetebwa kwe kusobozesa gavumenti okukunngaanya ensimbi ezimala, n’olwekyo, ng’ekitongole, bwe tuwabula ku kuggyawo omusolo tuyinza okuleka gavumenti mu mbeera mw’etasobolera kufuna nsimbi zimala kuddukanya mirimu mu ggwanga.
Kituufu nti waliwo omusolo omupya gwe mwatadde ku basomesa ba Arts oluvannyuma lwa Gavumenti okubongeza omusaala gwa bitundu 25 ku 100 (Fred Kananura e Kamwenge).
Mwami Kananura, teri musolo mupya gwateereddwa ku basomesa ba Arts oluvannyuma lwa gavumenti okubongeza omusaala. Omusolo gwe basasula gwe gumu n’ogw’abakozi abalala oguggyibwa ku musaala ogubasasulwa buli mwezi okusinziira ku nnyingiza yaabwe.
Lwaki URA etusibako ba tax egents ba Kasitomu ne balemwa okukolagana nange butereevu. Ekisooka batuseera nga ne bwoba oyagala weekolere ebintu tebakukkiriza.
Omutu yenna asalawo okuyingiza oba okufulumya ebyamaguzi, ateekedda okufuna ajenti w’omusolo amanyiddwa nga Customs clearing agent nga bwe kirambikibwa mu tteeka ly’omusolo gwa Kasitomu erifuga amawanga g’omukago gwa East Africa EAC-CMA). Abantu bonna abakola omulimu guno batendekebwa okusobola okugu ku mutindo ogukkirizibwa. Bwe weesanga nga tomatidde na ajenti ono ky’akola, osobola okwekubira enduulu ng’oyita ku mikutu gyaffe egy’enjawulo okuli 0800117000 (eno tesasulirwa), ku WhatsApp; 0772140000, n’emikutu emirala.
Lwaki Gavumenti yayongezza omusolo ku mafuta ng’ekimanyi bulungi nti gagenda kuvaako ebintu byonna okulinnya? Lwaki temwalowoozezza ku bintu by’okwejalabya omuntu byasobola okwesonyiwa?
Gavumenti yaleeta omusolo (gwa UGX 200) omupya ku buli liita y’amafuta mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/27 n’ekigendererwa ky’okwongera ku nsimbi ezikunngaanyizibwa mu musolo. Omusolo guno gusuubirwa okusobozesa gavumenti okukunngaanya obuwumbi 450 mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/27. Kino kya kuyambako gavumenti okutuukiriza obuvunaanyizibwa eri abantu baayo. Jjukira nti etteeka lino terinnassibwako mukono gwa mukulembeze wa ggwanga.
Njagala kumanya ekifo eky’okumpi ffe abakolera mu kibuga wakati we tusobola okugenda okwebuuza ku by’emisolo kuba ofiisi eyali mu Kikuubo mwagiggyawo (Madinah Namboowa mu Kikuubo)?
Mukyala Namboowa, tulina woofiisi ez’enjawulo okwetooloola ekibuga Kampala abawi b’omusolo we basobola okwebuuza ku nsonga z’omusolo zonna. Ng’abakolera mu Kikuubo, musobola okwebuuza ku woofiisi zaffe okuli esangibwa ku, Old Kampala mu maaso g’omuzikiti gwa Gaddafi, ne ku kizimbe kya Boulevard ku Kampala Road. Mu ngeri y’emu, bw’oba tosobodde kuyambibwa ku woofiisi ezo, tutuukirire ku nnamba yaffe etasasulirwa; 0800117000 oba ku mukutu gwa WhatsApp; 0772140000, ojja kuyambibwa.
Nafunamu obubaka nga bandagira okusasula rental returns. Baali bategeeza ki?
Bw’oba wafuna obubaka obufaanana butyo, kitegeeza nti nga owandiisibwa ku musolo, wateekako ennyumba oba ebifo ebipangisibwa. Bw’oba olina ebipangisibwa byonna ng’omuntu ssekinnoomu, ovunaanyizibwa okussaamu litaani, ng’eno y’ennyanjula ku ngeri ekifo oba ebifo byo ebipangisibwa gye biyingizaamu, oluvannyuma osasule omusolo oguba gukugerekeddwa.
Ekyokugoba abantu ababadde bakolera mu konteyina nga basasula omusolo, tekibakosezza nga URA mu nyingiza yammwe. Abantu abo mubalwaniridde mutya kuba ne Gavumenti yeerabira nti efiirwa.
Ebikwekweto ebyakazibwako erya Trade Order byassibwa mu nkola n’ebigendererwa eby’enjawulo okuli okulongoosa ebibuga, okusobozesa ababadde bakolera e mabbali w’ekkubo okuwandiisa bizinesi zaabwe mu butongole, nga kuno kw’otadde ne ku musolo n’ensonga endala nnyingi. Tusuubira nti abantu abo bwe banaafuna ebifo eby’enkalakkalira we bwakolera, baakuwandiisa bizinesi zaabwe ku musolo, basobozese gavumenti okwongera ku musolo gw’ebaggyamu, okusinga we bakolera mu bifo ebitali bya nkalakkalira. Jjukira nti bw’okolera mu kifo ekitakkirizibwa mu mateeka, gavumenti tesobola kukuwa lukusa kukikoleramu (trading License).
No Comments yet!