Buuza Kamisona 65

Nze Ssewagudde Joel e Gayaza – Nawulidde nti Mugenda kutandika okugoberera NIN okuva ku TIN. Kino kitegeeza nti TIN zigenda kuviirawo ddala? Era bwe mba nneewandiisa ku musolo kyakwetaagisanga kugenda ku NIRA?

Mwami Ssewagudde, ekiseera kino enteekateeka z’okukyusa okuva ku TIN okudda ku NIN zigenda mu maaso, era omuwi w’omusolo tumwetaaza okukakasa nti TIN ye mu kiseera ky’okwewandiisa bw’aba yali teyassaamu NIN, akole ennongoosereza (amendment), TIN ye agigattemu NIN. Okuva nga 01 January 2027, tusuubira okukyusiza ddala okuva ku TIN okudda ku NIN. Oluvannyuma lw’okussa kino mu nkola, omuntu bw’anaabanga ayagala okuwandiisibwa ku musolo si waakugendanga ku kitongole kya NIRA, bw’anaasangibwa ng’alina ndagamuntu (National ID), waakugendanga butereevu mu ofiisi ya URA awandiisibwe ku musolo. Kino kiri bwe kityo kubanga enkola za URA ne NIRA ziwuliziganya.

Bwe nneesanga nga nsasudde omusolo nga sitaddeemu litaani, nkola ntya?

Omuntu yenna mu buvunaanyizibwa ku musolo, ateekeddwa okussaamu litaani ng’eno y’eraga engeri bizinesi gy’eyingizza n’okusaasaanya, wamu n’omusolo gw’okusasula mu mwaka gw’ebyensimbi. Bwe weesanga ng’osasudde omusolo kyokka nga totaddeemu litaani, okubirizibwa okugissaamu bunnambiro. Litaani gy’otaddemu erina okuba ng’ekwatagana n’omusolo gw’osuubira okusasula. Weewale okussaamu litaani ekikeerezi kubanga ojja kuweesebwa engassi (penalty).

Mubadde mutera okubeera n’ekisonyiwo ku interest ne penalties mu myaka egiyise. Na guno omwaka gw’ebyensimbi mulinayo ekisonyiwo?

Yee. Ekisonyiwo ku magoba n’engassi kyayongezeddwayo okutuuka nga 30 June 2027. Oyo yenna abanjibwa omusolo okutuuka nga 30 June 2025, waakusonyiyibwa amagoba n’engassi singa anaasasula omusolo ogumubanjibwa (Principal tax) nga 30 June 2027 telunnayita. N’olwekyo, nkukubiriza okukebera ku Ledger yo osobole okumanya w’oyimiridde ku nsonga z’omusolo n’okukozesa omukisa guno.

Nansimbe Joan e Kasangati – Nsaba kuntangaazaamu ku byamaguzi ebyaziyizibwa okuyingira eggwanga.

Ebyamaguzi ebiziyizibwa okuyingizibwa mu ggwanga (restricted goods) byebyo ng’okuyingizibwa kwabyo kwetaagisa okuba n’olukusa okuva mu bitongole ebikwatibwako okugeza eky’ebyokwerinda (Ministry of Defence), eky’eddagala (National Drug Authority), eky’ebyobulimi (Ministry of Agricullture) n’ebirala. Ebyamaguzi ebyo kuliko eby’okulwanyisa okugeza emmundu nebigenderako, ebisolo, ebiggyibwa ku bisolo by’omunsiko, emmere ng’okwonooneka kwayo kubulako ekiseera kitono n’ebirala.

Abantu abakola ensimbi ku kyeyo bwe baba baziweereza mu Uganda waliwo omusolo gwe basasula?

Nedda. Omuntu yenna aweereza abantu be ensimbi okuva emitala w’amayanja, ensimbi ezo teziggyibwako musolo kubanga guba gwaggyiddwako okuva mu ggwanga ly’akoleramu. Okuggyako ng’ensimbi ezo zissiddwa mu bizinesi, tulinda bizinesi okufuna ennyingiza ekkirizibwa okuggyibwako omusolo, olwo ne guggyibwako. Jjukira nti kkampuni ezitambuza ensimbi ezo ze ziggyako emisoso gy’okuzitambuza.

URA erina ntegeka ki ey’okusomesa abantu omusolo okuviira ddala mu pulayimale kuba abaana bangi tebasukkawo. Bwe mulinda mu siniya temulaba nga baba bafiiriddwa?

Ekitongole kya URA nga kikolaganira wamu n’ekya National Curriculum Development Centre (NCDC), mu kaweefube w’okunnyikiza ebikwata ku musolo mu bantu, kikoze era kikyakola enteekateeka z’okusomesa emiti emito ebikwata ku musolo. Mu mwaka gwa 2021, ebisomesebwa ebipya (curriculum) ku mutendera gwa siniya byateekebwateekebwa, nga bisomesebwa mu masomo g’ebyenfuna ku ddaala lya secondary. Mu mwaka gwa 2023, enteekateeka y’emu yaleetebwa ku mutendera gw’abasoma ebyenfuna mu matendekero g’ebyemikono (BTVETs) era yassibwa mu nkola. Mu ngeri y’emu, enteekateeka zigenda mu maaso okunnyikiza ebisomesebwa bino ku ddaala lya pulayimale.

Nga ntuuse ku kisaawe Entebbe, waliwo ebyamaguzi bye munsonyiwa okubisasulira omusolo?

Yee. Bw’oba ng’okomawo mu ggwanga kyokka ng’omuwendo gw’ebyamaguzi by’olina tebisukka ddoola 2000, ate nga tebirabika ng’ebya bizinesi, tobisasulira musolo gwa Kasitomu.

Omuntu bw’aba abanjibwa omusolo n’afa, mukola mutya?

Omuntu bw’aba abanjibwa omusolo mukama n’amujjulula naye nga bizinesi esigadde etambula, abasigadde bagivunaanyizibwako (administrators), bateekeddwa okutuukiriza obuvunaanyibwa bwayo. N’olwekyo omusolo gusigala gusasulwa.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content