Buuza Kamisona 66

Lwaki omuntu bw’amala okusasula omusolo e Nakawa ate asanga aba URA ne bamuyimiriza ku Jinja Road? Kino nkirabamu okutumalira ebiseera kuba olumu tuba ne bakasitooma abatulindiridde.

Ekitongole kya Uganda Revenue Authority, oluvannyuma lw’okukola ku muntu ayingizza ebyamaguzi mu ggwanga, bw’aba talina kwekengerwa kwonna ku ngeri gy’ayanjuddemu ebyamaguzi bye eri aba Kasitomu n’okusasula omusolo, ateebwa n’atwale ebyamaguzi bye mu katale. Ensonga etuyuyimirizisa bannannyini byamaguzi abamu ebiseera ebisinga ya butaba beesimbu kimala mu nkolagana yaabwe naffe. Jjukira, abantu ab’enjawulo batera okututemyako ku butali bwesimbu obw’enjawulo, olwo abavunaanyizibwa ku bikwekweto (enforcement) ne balondoola era ne bayimiriza ebyamaguzi ebyo. Bwe wataba nsonga yonna ya kukukusa byamaguzi, bannyini byo bateebwa ne beeyongerayo mu katale.

Ndi Salongo Magala e Mbarara City; Abakozi bammwe bwe batuyimiriza, obuuma obulinga amasimu bwe baba nabwo bulina mugaso ki? Nsaba kutangaazibwa.

Ssaalongo Magala, obuuma abakozi baffe bwe batambula nabwo mu kukunngaanya omusolo buyitibwa Android Gadgets. Buno bubayambako okukebera ebidduka ebikozi by’emirimu oba byasasulirwa omusolo gwa Advance Income tax. Mu ngeri endala, buyambako abakozi baffe okugereka omusolo ku nnyingiza (Income tax). N’olwekyo, teweeraliikirira bakozi baffe bwe bakusisinkana nga bali n’obuuma buno kubanga bubayambako kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe.

Kituufu nti ababaka ba Palamenti abafuna obutitimbe bwa ssente tebaggyibwako musolo?

Kino si kituufu. Ababaka ba Palamenti baggyibwako omusolo ku musaala gwabwe ogwa buli mwezi. Ennyingiza yaabwe endala (allowances) ye yaweebwa obuweerero ku musolo.

Ndi muyizi ku yunivasite Kamisona, kyokka embeera gyempitamu nzibu kuba mbulwa n’ekyokulya ate nga ndi mwana wa buwala. Nsaba mutulowoozengako nga wabaddewo omukisa gw’emirimu kuba ntambulira mu bikemo.

Nkukubiriza okussaamu amaanyi mu misomo gyo omalirize yunivasite. Oluvannyuma, bwe wanaabaawo emirimu egirangiddwa, osseemu okusaba. Oluvannyuma lw’okugezesebwa, bw’onooba otuukirizza ebisaanyizo bye twetaaga ku mulimu ogunaaba gulangiddwa, ojja kuweebwa omukisa okukolera mu kitongole kya URA.

Lwaki unit y’amasanyalaze n’amazzi biggyibwako omusolo munene nga ebitongole ebyo bya muwi wa musolo kyokka tusasula ssente nnyingi. Lutabi e Mityana.

Mwami Lutabi, omusolo ogwassibwa ku unit y’amasannyalaze n’amazzi gwe gwa VAT ku bitundu 18 ku 100 (18%). Guno obunji bwagwo businziira ku nsimbi ezisasulwa ku buli unit ne unit z’okokozesezza. Ndowooza ng’omusolo ogwo si mungi nnyo kubanga ne ku byamaguzi ebirala okuli omunnyo, ssabbuuni n’ebikozesebwa abantu ebirala kwassibwako omusolo ogwo.

Kituufu nti SACCO baziggyako omusolo oba abatukulira be batufera?

Ebibiina omwegattira abantu ab’enjawulo mwe bayita okutereka n’okwewola (SACCO) tebiggyibwako musolo ku nnyingiza yaabyo. Omusolo gwokka ogusuubirwa gweguggyibwa ku misaala gy’abakozi (PAYE), nga guno gusasulwa buli mwezi.

Ndi makanika wa piki, nga ndi mufunampola era omwaka nfuna ssente eziri wakati wa 4,500,000 ne 5,200,000 nga njagala kumanya omusolo gwe nina okusasula (John Bosco).

Mwami Johnbosco, ensimbi z’oyingiza mu mwaka ziri wansi w’ezo ezitandikirwako okuggyibwako omusolo mu mateeka (10,000,000). N’olwekyo, tolina musolo gw’osasula. Wabula, okukakasa kino, oteekeddwa okukuuma ebiwandiiko ebikwata ku nnyingiza yo nga buno bwe bukakafu kwe tusinziira okumanya oba oteekeddwa okusasula omusolo oba nedda. Bw’otookuume biwandiiko, tujja kuwalirizibwa okuteebereza omusolo gw’osasula.

Emmotoka eziva mawanga g’ebweru nga South Sudan nga ziriko enamba zaayo, nina kuzivuga kumala bbanga ki nga sinagikyusa kugiteeka mu nnamba za Uganda?

Emmotoka eva mu ggwanga eddala ng’erina nnamba puleeti y’eggwanga eryo tekkirizibwa kuvugibwa mu Uganda nga tennasasula musolo na kukyusibwa nnamba puleeti okudda mu za wano. Kyokka, emmotoka ey’ekika ekyo bw’eba ng’eyingidde eggwanga n’ekigendererwa ky’okukola obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okumala ekiseera ekigere, nnyini yo ateekeddwa okussaamu okusaba olukusa olw’okugikozeseza wano. Bwe luba lumuweereddwa, asasula ebisale era n’aweebwa layisinsi (Temporary Road License) y’ebbanga ly’enaamala wano eritasukka nnaku 90.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content