Buuza Kamisona 22

1- Embeera eyatutuukako ey’amazzi okutuyingira n’eyonoona ebintu byaffe mu Arcade nsuubira mwagimanya aba URA. Mu mbeera eno mutuyambye mutya kuba wadde mwali mwatugerekera era nga tuli beetegefu okusasula naye emmaali yaggwaawo.

Kituufu nti waaliwo enjega eyagwa mu kibuga eyamanyibwa eggwanga lyonna nga n’ekitonngole kya URA mw’okitwalidde, era tusaasira bonna abaafifrizibwa emmaali yaabwe. Omusolo guggyibwa ku bizinesi ekola amagoba oba ennyingiza ekakatibwako okuguggyako. N’olwekyo, bwe wabeerawo okufiirizibwa kwonna okuyinza n’okuvaamu okukola loosi, teri musolo gusasulwa. Mu mbeera eno, bw’oba nga watuukibwako enjega eno, weeyanjule ku poliisi n’obukakafu obulaga kino, oluvannyuma okolagane ne woofiisi y’omusolo ekutwala, ensonga ezo zigonjoolwe.

Weetegereze: Omusolo ogwali gukubanjibwa ng’enjega eno tennagwa gusigala gukyabanjibwa. Wabula, oluvannyuma lw’obuzibu buno, omusolo mu kiseera kino gusobola okutunulwamu.

2- Emmotoka bwe bagibbako ennamba y’emmotoka kituufu nti tulina kuzzaako mpya era bazisasuza ssente meka?

Emmotoka bw’ebbibwako ennamba, oteekeddwa kuzzaako ezo empya ezaaleetebwa. Kino kiri bwe kityo lwa nsonga nti ekiseera kinaatera okutuuka okuba nga buli mmotoka ka zibe enkadde ziteekeddwa okussibwako ennamba ezo. Ennamba y’emmotoka bw’ebbibwa nga kusigaddeko emu, oteekeddwa okukomyawo eyookubiri, osseeko ebbaluwa ya piliisi eraga nti ebbiddwa, olange mu mawulire nti ennamba yo yabbibwa, otwale obukakafu buno ku woofiisi ya misitule y’ebyentambula esangibwa ku kitebe kya URA ekikulu e Nakawa. Ennamba y’e motoka osobola okugifuna ku nsimbi 150,000/= oluvannyuma lw’okusasula 49,000/= eri URA.

3- Njagala kutandika bajjira wano e Wakiso, naye mitendera ki gye mpitamu okuwandiisa bizinensi yange neewale okutataaganyizibwa.

Nga tonnatandika bbajjiro, kola bino wammanga:

  • Wandiisa bizinesi yo n’ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB), oweebwe erinnya lyayo ettongole, ne Certificate of Registration oba Certificate of Incorporation bw’oba owandiisizza Kampuni ng’obukakafu bw’okugiwandiisa.
  • Twala ebiwandiiko ebyo ku woofiisi ya URA ekuli okumpi owandiise bizinesi oba kkampuni yo ku musolo, oweebwe ennamba y’omusolo (TIN).
  • Oluvannyuma lw’ebyo, ojja kuweebwa layisinsi okuva ku disitulikiti y’e Wakiso, otandike okukakkalabya emirimu gyo.
  1. Savio Katabalwa e Mukono; Twalina bizinensi yaffe ey’embaawo kyokka yonna n’eggwaawo olwomuliro ogwakwata. Kyokka nakati URA ekyatusindikira obubaka nga batusaba emisolo.

Mwami Katabalwa, nkusaasidde nnyo olw’omutawaana gwe watuukako mu bizinesi yo! Bw’oweebwa TIN ya bizinesi oluvannyuma lw’okugiwandiisa ku musolo, oteekeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ku musolo okuli okukuuma ebiwandiiko, okussaamu ennyanjula oba litaani n’okusasula omusolo. Bizinesi yo bw’esaanawo, weeyanjule ku poliisi oweebwe alipoota ekakasa nti ddala bizinesi yo yasaanawo mu muliro. Oluvannyuma, kyalira woofiisi ya URA ekutwala n’alipoota ya poliisi, olwo TIN ya bizinesi yo esirisibwe, olekere awo okufuna obubaka bw’okubanjibwa omusolo. Kyokka bw’onaddamu okukola bizinesi, tegeeza woofiisi y’emu TIN yo ezzibweko.

5- Singa nsasula omusolo ne nkizuula oluvannyuma nga nawaddeyo ssente nnyingi, waliwo enkola gye nsobola okuyitamu okufuna ssente zange?

Bw’osasula omusolo ogusukka kw’ogwo gw’olina okusasula, waliwo enkola ya mirundi ebiri:

Enkola esooka, bw’oba osasudde musolo gwa bizinesi yo, ensimbi ezo zisobola okukuyambako okukendeeza ekkatala lw’omusolo gw’olina okusasula mu kimanyiddwa nga tax credit. Kyokka bw’etaba bizinesi, oddizibwa ensimbi zo mu kimanyiddwa nga tax refunds.

6- Mbuuza omukulu wa URA, ffe abasapulayinga kampuni ezimu ne zirwawo okutusasula tuli mu buzibu. Zimanyi okutwala emyaka nga ebiri nga tezinatusasula nga bagamba Gavumenti nabo tenabasasula kyokka nga wazikolera EFRIS (VAT receipt). Obuzibu buli mwezi VAT yeeyongera era tutuuse ekiseera nga ze tubanja ntono nnyo ku URA zeetusaba. Buli lwogenda mu kampuni gyobanja bakugamba Gavumenti tenatusasula ngate ne URA tumanyi kitongole kya Gavumenti, kati ffe tukole ki ddala?

Bizinesi yonna bw’etuusa ku gavumenti obuweereza oba ebyamaguzi, eteekeddwa okugiwa e-invoice ng’eyitira mu nkola ya EFRIS. Kakasa nti bw’oba okola e-invoice eno, olaga bulungi nti oguzizza gavumenti (B2G). Mu mbeera eno, omusolo gwa VAT okakatibwako okugusasula oluvannyuma lwa gavumenti okukusasula kubanga obuweereza bw’owa gavumnenti tububalira mu nkola ya VAT eya Cash Accounting. N’olwekyo, teweeraliikirira nti emiwendo gya VAT gya kukula okujjako oluvannyuma lwa gavumenti okukusasula ensimbi. Ku luuyi olulala, asapulayinze omuntu eyasapulayinga gavumenti, ettunzi lyo bweriba terisukka bukadde 500, naawe teekamu okusaba okudda ku nkola ya Cash Accounting. Tetuggya kukubanja musolo gwa VAT nga tonnasasulwa.

7- Richards Arinaitwe e Sheema; bizinensi ya mobile money nayo bagiweera emisolo ku nnyingiza oba abantu ze babatemako nga basindika n’okuggyayo ze zimala.

Mwami Arinaitwe, bizinesi ya Mobile Money teggyibwako musolo ku nnyingiza ng’ogwo oguggyibwa ku bizinesi entonotono. Omusolo ogumanyiddwa nga Withholding tax nga guno gwe guggyibwa ku nnyingiza y aba ajenti (commission) gwe gusasulwa gwokka.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content