Buuza Kamisona 36

Enkola gye mpulira eya individual House Bill etegeeza ki era erina njawulo ki n’eyo ebaddewo?

Enkola ya Individual House Bill yaleetebwa okugonjoola engeri abantu abayingiriza ebyamaguzi awamu mu nkola emanyiddwa nga groupage gye basasulamu omusolo. Emabegako, omuntu omu yakungaanyanga abasuubuzi ab’enjawulo abayingiza byamaguzi ebitonotono, n’abiyingiriza mu konteyina emu. Bwe byatuusibwanga e Mombasa, ng’oyo abiyingizza akiriyalinga omusolo gw’abasuubuzi bonna abeegattidde mu konteyina ku kiwandiiko kimu ekimanyiddwa nga Master House Bill ng’akozesa TIN ye. Enkyukakyuka eyaleetebwa eri nti oluvannyuma lw’okutuusa konteyina omuli ebyamaguzi by’abasuubuzi ab’enjawulo, buli musuubuzi aweebwa ebyamaguzi bye n’ekiwandiiko kya Individual House Bill ne yeesasulira omusolo ogumugerekeddwa ku bintu bye.

Kati nsigala nkyasobola okwegatta ne bannange ne tuyingiriza wamu ebyamagguzi mu konteyina y’omuntu omu mu (Consolidator) nkola ya groupage?

Enteekateeka eno teggyaawo kuyingiriza byamaguzi mu konteyina emu naye ekikyuka kwe kuba nti ebyamaguzi bwe bituusibwa e Mombasa, oyo ayambyeko okugatta abasuubuzi ab’enjawulo awa buli musuubuzi Individual House Bill ne yeesasulira omusolo ng’akozesa TIN ye, ekintu ekikendeeza obudde obutwaliba okukiriyalinga ebyamaguzi.

Enkola eno empya tefuula kuyingiza byamaguzi na kusasula musolo kya bbeeyi?

Nedda. Lwa nsonga nti kino kiyambako omusuubuzi okwesasulira omusolo gwe awatali kubuzaabuzibwa. Jjukira nti emabegako omugugu ogumu mu konteyina bwe gwabeerangako obuzibu oba omu ku basuubuzi n’alemererwa okufuna ensimbi z’okusasula omusolo mu budde kyalwisangawo konteyina yonna, ekintu ekitasoboka mu nteekateeka eno empya.

Biwandiiko ki bye nneetaaga okwekiriyalingira ebyamaguzi byange?

Ebiwandiiko bye weetaaga okukiriyalinga ebyamaguzi kuliko Invoice kwe byagulirwa, bill of lading n’ekiwandiiko ky’olukalala lw’ebyamaguzi ebyo ekimanyiddwa nga packing list. Teweerabira nti weetaaga okuba ne TIN yo okusobola okutuukiriza kino.

James Banya e Mbale – Bwembawa amawulire agakwata ku bantu abakukusa ebintu nga tebaagala kusasula musolo, waliwo omutemwa ogumpeebwa?

Mwami Banya, bw’oba n’amawulire agatuyamba okutuuka ku beepena okusasula nga bayitira mu kukukusa ebyamaguzi oba engeri endala yonna, tukubire ku ssimu 0772141075. Amawulire go gaakukuumibwa nga ga kyama. Amawulire gano bwe gatuyamba okuzuula omusolo ogutagerekerebwa, oweebwa ekitundu 1 ku 100 (1%) oba obukadde 15, ekitono kw’ebyo. Bwe wabaawo omusolo ogukungaanyiziddwa okuva mu mawulire ago, oli waakuweebwa ebitundu 5 ku 100 (5%) ku musolo ogukungaanyiziddwa oba obukadde 100, ekitono ku byombi.

Kampuni z’amasimu bwe zituwola ssente ku ssimu, batuteeramu amagoba. Ku magoba ago nga URA muggyako omusolo oba temukirowoozangako?

Omusolo guggyibwa ku nnyingiza yonna okuggyako eyo eyasonyiyibwa. N’olwekyo, kampuni y’essimu bw’ekuwola ensimbi, amagoba agakuteerwako eba nnyingiza ya kampuni eyo, era gaggibwako omusolo.

Peter e Ssembabule – Kituufu nti omusolo gwe tuwa Bannabyabufuzi gwe bakozesa mu kalulu oba si kituufu

Mwami Peter, omusolo ogusasulwa gussibwa mu kittavvu ky’eggwanga (Consolidated Fund), ne gutemwatemwa buli kitongole kya gavumenti ne kiweebwa omutemwa n’ekigendererwa ky’okutuusa obuweereza ku bantu. Bannabyabufuzi bakozesa nsimbi zaabwe mu kaweefube waabwe so si musolo.

Nga URA mulina enteekateeka y’okuddiza ku bawi b’omusolo?

Yee. Enteekateeka eyo weeri era ng’ekitongole tulina ebituukiddwako ebiwerako okugeza essomero ly’e Bulubandi eryazimbibwa ebizimbe ebisomerwamu okuyamba ku bayizi abaali basomera wansi w’emiti, okuddiza eri abasiyisiraamu mu kiseera ky’ekisiibo ne kaweefube omulala agenda mu maaso

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content