Buuza Kamisona 54

Enock Kajubi e Kabulasoke-Gomba, ddala mu kyalo tulina okusasula property tax?

Mwami Kajubi, Property rates nsimbi ezisasulwa buli muntu alina ekizimbe ekiyingiza ensimbi okugeza ekipangisibwa okukoleramu bizinesi wamu n’okusulamu. N’olwekyo, olw’okuba etteeka lino likola okwetooloola eggwanga, buli muntu waali awatali kwawula kyalo oba kibuga, kasita aba ng’agwa mu ttuluba eryogeddwako waggulu, asasula ensimbi ezo. Jjukira nti ensimbi zino zisasulwa omulundi gumu mu mwaka era zikungaanyizibwa munisipaali, disitulikiti, town council okwo ssaako n’ebibuga.

Singa mba nina business yange nga si mpandiise naye eggyibwako omusolo?

Tekikkirizibwa kuggulawo bizinesi n’ogiddukanya nga si mpandiise. N’olwekyo, bw’ozuulibwa ng’olina bizinesi etali mpandiise ku musolo, tukuwandiisa, oluvannyuma ne tukugerekera omusolo gw’okusasula okusinziira ku nnyingiza yo. kyokka bizinesi yo bw’esangibwa nga tennayingiza nsimbi za ssalira okuggyibwa omusolo, teri musolo gukugerekerwa, naye okubirizibwa okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi kubanga eno y’engeri yokka gye tusobola okumanya oba bizinesi yo etuuse okuwa omusolo oba nedda.

Nsaba kuntangaaza ku musolo gwa Import Duty.

Omusolo guno gusasulwa ku bintu ebyalondobwamu okuva ebweru w’eggwanga mu kiseera we biyingizibwa mu Uganda, nga twesigama ku miwendo egyakkaanyizibwako mu mukago ogutaba amawanga g’obuvanjuba bwa Afirika. Omusolo guno guwoozebwa ku byamaguzi mu ngeri zino wammanga:

  • Ebikozesebwa okukola ebintu ebirala (Raw materials) ku 0%, ebireeteddwa nga bibulako omutindo (Intermediate goods) ku 10%, ebiwedde okukolebwa (Finished goods) ku 25%, ebiwedde okukolebwa nga byetaaga okukuumibwa (Protected goods) ku 35% n’ebyo ebikolebwa mu bungi mu Uganda okukusukka 35%.
  • Jjukira waliwo n’omusolo oguggyibwa ku bipimibwa mu kilo nga guno gussibwako ku nsimbi eziba zikkiriziganyiddwako (specific value).

Lwaki abantu beemulugunya ku nsonga y’emisolo egisusse ne mutagifaako ate nga gye giviiriddemu business zaffe okugwa?

Ensonga y’okwemulugunya kw’abantu ku musolo ogusukkiridde etunulwamu gavumenti ye nsonga lwaki enkola ez’enjawulo zireetebwa mu nnongoosereza ku mateeka g’omusolo buli mwaka. Okugeza, olw’emisolo egyetuumye ku bantu, ekisonyiwo kyayibwawo ng’omuntu asasula musolo gumubanjibwa gwokka n’asonyiyibwa amagoba n’engassi. Mu mbeera y’emu, ebyamaguzi ebimu ebiyingizibwa mu ggwanga byassibwako obuweerero, ekyokulabirako mu nnongoosereza z’omusolo mu mwaka 2026-27, omuntu ayingiza ebikola enjeyo enzungu, ebikozesebwa mu kukola meter z’amasannyalaze eza digito, ebikozesebwa mu kukola engatto n’ebirala byakuggyibwako omusolo ku bitundu 0 ku 100 (0%). Kino kikolebwa okugondeza ku bakola ebintu ebyo olwo ebbeeyi yaabyo n’eteekanama ng’eyebyo okusibwa omusolo.

Lwaki Gavumenti tewera Sigala kutundibwa mu Uganda, kuba wa bulabe kyokka atundibwa olwokuba Gavumenti emuggyako omusolo.

Gavumenti essa omusolo ogw’enjawulo ku bintu by’eraba nga okukozesebwa kwabyo kulimu obulabe eri abantu n’ekigedererwa ky’okukendeeza ababyettanira, okugeza sigala, omwenge, zzaala n’ebirala. Mu mbeera y’emu, gavumenti essa obukwakkulizo ku babikola mu kiseera ky’okubiranga omuli okulabula ababikozesa mu bungi obusukkiridde ne mu myaka egitakkirizibwa mu mateeka.

Bizinesi y’ebbaala esasula misolo kika ki?

Okufaananako ne bizinesi endala, bizinesi y’ebbaala esasula emisolo gino wammanga:

  • Omusolo ku nnyingiza (Income Tax) buli mwaka.
  • Ettunzi lya bizinesi eno bwerisukka obukadde 300, ewandiisibwa ku musolo gwa VAT era n’egusasula.
  • Abakozi ba bizinesi eno basasula omusolo ku misaala gyabwe bwe baba basasulwa ensimbi ezisukka 235,000 buli mwezi. Obuvunaanyizibwa buno buba bwa nannyini bizinesi nga y’atoola ensi mbi zino ku bakozi n’azisasula eri URA ng’ayita mu kussaamu litaani.

Gavumenti etuyambye etya ffe abasuubira okutandika bizinesi entonotono kubanga kitwala ekiseera bizinesi ezimu okwetengerera okusasula omusolo.

Gavumenti essaawo enkola ez’enjawulo okugondeza mu batandisi ba bizinesi entonotono okugeza bizinesi etannasobola kukola ttunzi lisukka bukadde 10 mu mwaka teggyibwako omusolo ku nnyingiza. Mu mbeera y’emu, mu mwaka gw’ebyensimbi 2025-26, gavumenti yassaawo obuweerero ku bizinesi ezeewandiisa oluvannyuma lwa nga 01 July 2025 okumala emyaka esatu singa zituukiriza bino wammanga:

  • Kapito wa bizinesi ateekeddwa okuba nga tasukka bukadde 500.
  • Nga nannyini bizinesi akuuma ebiwandiiko byayo n’okussaamu litaani emanyiddwa nga Business Information Return.
  • Nga nannyini bizinesi taganyulwangako mu nkola efaanana bweti.

Kityo Lawrence, Abantu bonna tusasula emisolo gye gimu oba gyawukana. Bwe giba gyawukana kisinziira ku ki?

Mwami Kityo, si kituufu nti abantu bonna basasula omusolo gwe gumu. Omusolo gusasulwa okusinziira ku nnyingiza okugeza omusaala ogusasulwa abakozi, ensimbi bizinesi z’eyingiza, ebyamaguzi omuntu yenna by’aba asuubudde okuva ebweru w’eggwanga n’embeera endala.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content