Okulunda Enkoko (ebinyonyi) kye ki?
Kuno kwe kulunda ebinyonyi eby’awaka okugeza nga; enkoko, ssekokko, embaata nebirala nga bya kulya oba kutunda.
Weetegereze
Omuntu ssekinoomu
Kampuni
Oteekeddwa okugenda ku mutimbagano ku kibanja kya URA www.ura.go.ug.
Nyiga wano okusobola okwewandiisa ng’omuntu ssekinoomu       Â
Nyiga wano okusobola okwewandiisa nga kampuni oba ekibiina
Nyiga wano; okusobola okulaba eddembe ly’olina wamu n’ebikusuubirwamu ng’omuwi w’omusolo.
Omusolo gwa kampuni (Corporation Tax)
Kampuni esasula ebitundu asatu ku buli kikumi by’ennyigiza yayo ng’ogyeeko ensasaanya.
Nyiga wano okusobola okufuna ebisingawo ku ngereka y’omusolo gwa kampuni
Omusolo gw’ennyingiza ogw’omuntu ssekinoomu
Omusolo gw’ennyingiza ku muntu ssekinoomu gusinziira ku nyingiza ye.
Nyiga wano okusobola okufuna ebisingawo ku ngereka y’omusolo gw’omuntu ssekinoomu.
Weetegereze
Omusolo ogujjibwa ku musaala gw’omuntu (Paye As You Earn) gujja kuvunanyizibwanga kw’oyo alina abakozi ku ddundiro lye b’asasula omusaala ogusukka mu mitwalo abiri mw’esatu n’ekitundu (235,000). Omusolo guno gulina okusalibwangako buli mwezi.
Withholding Tax (WHT) gwe musolo ogujjibwa ku nnyingiza ogusalibwako ku nsibuko ng’omuntu omu tannasasula munne gw’asuubuliganye naye. Omulunzi singa atunda eby’amaguzi ebisukka mu kakadde k’ensimbi, gw’abiguzizza ateekeddwa okumusalako ebitundu mukaaga ku buli kikumi (6%).
Omulunzi ateekeddwa okufuna “credit certificate” enamuyambako okusasula ku musolo gwe yandisasudde ku nkomerero y’omwaka gw’eby’ensimbi okusinziira ku litaani ye.
Omusolo gwa namulanda (VAT) gujjibwa ku bintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo era nga gutwala ebitundu kumi na munaana ku buli kikumi (18%).
Omuntu yenna okuwandiisibwa ku VAT ateekeddwa okuba ng’atunze eby’amaguzi bya bukadde kikumi mw’ataano mu bbanga lya mwaka gumu oba nga bya bukadde asatu mu musanvu n’ekitundu mu bbanga lya myezi esatu egisooka egy’omuddiringanwa.
Omusolo gwa WHT ne VAT gijja kuvunaanyizibwanga kw’abo ababa basazeewo okwongera omutindo kw’ebyo ebijjibwa ku malundiro
Litaani zino zikolebwa nga litaani endala zonna ez’ennyingiza.
Nyiga wano; okusobola okufuna ebisingawo ku ngeri y’okukolamu litaani