Buuza Kamisona 9

1- Twagala URA okututangazaamu ku misolo gy’esolooza n’egisoloozebwa Gavumenti z’ebintu kubanga abasuubuzi bangi tebagimanyi.

Ekitongole kya URA kivunaanyizibwa ku kukungaanya ebika by’omusolo eby’enjawulo, nga bwe birambikiddwa wammanga:

  • Omusolo ku nnyingiza ya bizinesi. Guno guwoozebwa mu ngeri za mirundi ebiri, okuli:
  • Oguggyibwa ku magoba, nga wano nannyini bizinesi afuna ennyinigiza ya bizinesi n’atoolako ensaasaanya ng’omuwendo gw’ensimbi ogusigaddewo kwe kuggyibwa omusolo ku bitundu 30 ku 100.
  • Oguggyibwa ku bizinesi entonotono ezikola ettunzi wakati w’obukadde 10 n’obukadde 150. Bizinesi ezigwa mu kkowe lino zisasula omusolo okusinziira ku nnyingiza yaazo
  • Omusolo ku nnyingiza y’abakozi, nga guno guggyibwa kw’abo abasasulwa omusaala ogusukka 235,000/= buli mwezi. Na guno gubalibwa okusinziira ku musaala gw’omukozi buli mwezi
  • Omusolo oguggyibwa ku nnyingiza y’ebipangisibwa okuli ebibangirizi, amayumba agasulwamu n’ebizimbe omukolerwa bizinesi
  • Omusolo gwa Withholding tax, nga guno guggyibwa kw’abo abatuusa obuweereza oba ebyamaguzi ku balala. Bw’oba oguza omuntu omulala ebyamaguzi ebisukka akakadde k’ensimbi, omusolo ogwo gukuggyibwako, ne guweerezebwa eri URA buli luvannyuma lw’omwezi.
  • Omusolo gwa VAT, nga guno guggyibwa ku byamaguzi kwe ebyalondobwamu, okuva ku kkolero gye biggyibwa n’ebiggyibwa emitala w’amayamja okutuuka ku muntu asembayo. Jjukira nti guno gusasulwa buli mwezi, oluvannyuma lw’okussaamu litaani yaagwo.
  • Omusolo gwa Excise Duty nga guno gussibwa ku byamaguzi n’obuweereza ebiba birondeddwayo, okuli ebikoleddwa mu ggwanga n’ebiyingizibwa okuva ebweru okugeza amazzi, omwenge, amafuta, n’ebirala. Obuweereza okussibwa omusolo ogwo kuliko airtime w’amasimu, ebisale bya bbanka (bank charges) n’ebirala. Omusolo guno omuntu asembayo okukozesa ebyamaguzi oba obuweereza agusasulira ku byamaguzi n’obuweereza, ng’oyo eyeewandiisa ku musolo agukungaanya n’aguweereza eri URA buli luvannyuma lwa mwezi, ng’ataddemu litaani yaagwo.
  • Omusolo oguggyibwa ku byamaguzi ebiyingizibwa mu Uganda, nga muno mulimu ogwa Import Duty, VAT, Withholding tax ne Environmental Levy okusinziira ku byamaguzi ebiba biyingizibwa.
  • Omusolo oguggyibwa kw’abo abalina bizinesi ezeenyigira mu zzaala, nga guno gusasulwa buli kiseera abawanguzi we baweebwa ensimbi zaabwe ez’obuwanguzi. Guno gusasulwa buli Lwakusatu lwa wiiki oluvannyuma lw’okussaamu litaani. Jjukira nti n’ebibanda bya zzaala bisasula omusolo okusinziira ku nnyingiza yaabyo buli mwaka.

N’ebika by’omusolo ebirala bingi.

Omusolo guno guwoozebwa n’ekigendererwa ky’okutuusa obuweereza eri abantu okuli ebyokwerinda, ebyenjigiriza, enguudo n’ebintu ebirala bingi ebigasiza awamu abantu.

Gavumenti z’ebitundu zivunaanyizibwa okuggya ensimbi ku bakozi ba bizinesi n’ekigendererwa ky’okubawa layisinsi okukolera mu kitundu, okuggya omusolo ku wooteeri okusinziira ku bisenge ebisangibwa ku wooteeri ne ba kasitoma gye baba babiguzeemu, empooza ku kutambuza ebintu eby’enjawulo ng’ebisolo, enku n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.

2- Enkola ya EFRIS yayimirira oba baagiggyawo?

EFRIS, enkola eyatongozebwa nga 01 July 2020 nga mu yali ya buwaze eri buli yeewandiisa ku musolo gwa VAT, kyokka nga n’abateewandiisanga ku musolo guno basobola okugyeyungako. Enkola eno esobozesa okulondoola ettunzi eriba likoleddwa mu bizinesi okuyita mu kugabana obubaka wakati wa nannyini bizinesi ne URA. Engassi ezaali zaaweebwa abaatundanga nga tebakozesezza nkola ya EFRIS n’abataagyeyungako yaggyibwawo omukulembeze w’eggwanga kyokka yo ng’ekola n’esigalawo. N’olwekyo, enkola eno ekyaliwo era abasuubuzi, bannamakolero ne bizinesi ez’enjawulo bakubirizibwa okweyunga ku nkola eno okuganyulwa mu bibala byayo ng’okukuuma obulungi ebiwandiiko bya bizinesi.

3- URA etaddewo makubo ki okukakasa nga Bamusigansimbi naddala bano ababadde beerimbika mu kukola wano ebintu ne basonyiyibwa omusolo, kyokka ne bamaliriza nga beetabye mu kutembeeya ebintu mu ggwanga?

Bamusigansimbi bavunaanyizibwako ekitongole kya Uganda investment Authority (UIA) okukakasa nti endagaano gye baakola egebererwa. Mu mbeera y’emu, minisitule y’ebyobusuubuzi y’ebunaanyizibwa mu kulungamya ensuubula mu ggwanga na b’ani abalina okusuubuza okutuuka ku muntu asembayo.

4- Herbert Kafeero; Nga URA muyambye mutya okulaba nga ssente y’omuwi w’omusolo tebbibwa?

Mwami Kafeero, olw’okuba URA evunaanyizibwa kukungaanya musolo, twassawo enkola eyambako okuziba ebituli omuyinza okuyitibwa okubba omusolo gw’eggwanga. Omuntu yenna atuwa obubaka obututuusa kw’abo ababba omusolo gwa gavumenti, bwe tunununa omusolo ogwo aweebwa ebitundu 5 ku 100 (5%) ku musolo oguba gununuddwa. Okutuwa obubaka buno, yita mu mitendera gino wammanga:

  • Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
  • Noonya awali Whistle blow, osseemu erinnya lyo, TIN yo ne wa gy’osibuka
  • Tuwe ebikwata kw’oyo gw’olaba ng’awuwuttanya omusolo gwa gavumenti
  • Ssaamu ekika ky’omusolo oguwuwuttannyizibwa, n’omuwendo bw’oba ogumanyi
  • Yongera okututegeeza engeri omusolo guno gye gubadde guwuwuttanyizibwamu
  • Bw’oba olina ebiwandiiko ebiraga obukakafu, obigattako n’obitiweereza.

Jjukira nti ebikukwatako bya kykuumibwa nga bya kyama.

5- URA eyambye etya abasuubuzi abasanga obuzibu okulaga URA ensasaanya yaabwe naddala eya ssente z’obupangisa ng’ate lisiiti ezibaweebwa balandiroodi baabwe teziraga muwendo mutuufu gusasuddwa?

Buli lw’osaasaanya ensimbi naddala ez’obupangisa eziriko omusolo gwa VAT, kakasa nti landiloodi omuwa TIN yo akuwe e-invoice okuli ensimbi entuufu z’osasudde. Bw’atakola ekyo, kiba kitegeeza nti aba alina ekkobaane ly’okwebalama okusasula omusolo, nga wano osobola okumuloopa eri URA.

6- Ssente z’abakozi eza NSSF kituufu nti nazo muziwozaako omusolo. Bwe giba gyegiri gitubuulire.

Ensimbi z’abakozi we zituukira mu kittavvu kya NSSF, omusaala kwe ziva guba gwaggyiddwako omusolo. N’olwekyo, teri musolo guziggyibwako mu kiseera nga ziweebwa oyo eyazitereka.

7- Bizinensi ki ze nsobola okuteekamu ssente nga teziwa misolo mu Uganda?

Bizinesi mu ggwanga ezikola amagoba ziteekeddwa okusasula omusolo, okuggyako ezo ezitasussa nnyingiza ya bukadde 10 buli mwaka.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content