
Ssente mmeka zetulina okuba nazo okusonyiyibwa omusolo mu bizinensi zaffe okufaananako ba Musigansimbi?
Okubeera musigansimbi tekitegeeza oti oteekeddwa okuba omugwira, wabula n’omutuuze wa Uganda asobolera ddala okugya mu kiti kino. Okusinziira ku tteeka ly’omusolo ku nnyingiza, omuntu yenna nga mutuuze w’erimu ku mawanga agali mu mukago gwa East Africa ng’aweza kapito wa ddoola 300,000/=, nga ku nsaasaanya ye ku musaala gw’abakozi, ebitundu 75 ku 100 (75%) bidda eri abakozi bannansi. Kino kisoboka ng’otadde bizinesi yo mu kifo kya bannamakolero (Industrial Park). Kyokka era bw’osiga ddoola 150,000/= nga bizinesi yo esangaibwa mu buwanvu obusukka kilometer 50 okuva mu kibuga Kampala, naawe ogwa mu kiti kya ba musigansimbi bano. Okusobola okuganyulwa mu mbeera eno, otandika na kuteekamu kusaba tusobole okumanya oba olina ebisaanyizo bya musigansimbi.
Robert e Jinja Bajeti ya ssente ezisoloozebwa okuva mu musolo mu mwaka esomebwa ddi?
Mwami Robert, bajeti y’eggwanga ng’eno y’eraga ennyingiza, n’ensaasaanya y’eggwanga esomebwa mangu ddala ng’omukulembeze w’eggwanga y’akoogerako eri eggwanga ku wa werituuse mu by’enkulaakulana mu kimanyiddwa nga State of the Nation Address. Bajeti esomebwa wakati mu mwezi gwomukaaga (ng’omwaka gw’ebyensimbi omupya tegunnatandika), ng’esomebwa minisita w’ebyensimbi olw’obuvunaanyizibwa obumuweebwa omukulembeze w’eggwanga.
Ekya URA okusolooza fiizi mu masomero ga Gavumenti kituufu nti kitandika mwaka gujja?
URA ebadde n’enteekateeka y’okukungaanya ebisale by’abayizi naddala mu zi ssettendekero za gavumenti okwetooloola eggwanga okumala ekiseera. Enkola eno ekyagenda mu maaso ng’omuyizi ensimbi azisasula ku akawunti za URA, oluvannyuma neziweerezebwa mu ggwanika ly’eggwanga. Ku masomero g’omutendera gwa siniya, gavumenti ekyalungamya ngeri y’okussa kino mu nkola.
Lwaki tusasula omusolo gwa mayumba gaffe ge twezimbidde nga n’ebizimbisibwa nabyo babiggyako omusolo?
Ennyuma gy’ozimbye n’ekigendererwa ky’okugisulamu ggwe ng’omuntu, teggyibwako musolo gwonna. Ennyuma evaamu ensimbi z’abapangisa y’esasula omusolo, ng’ogusooka gwe gwa rental tax ogubalibwa ku nnyingiza gy’ofunye mu mwaka. Gavumenti z’ebitundu okugeza KCCA, munisipaali disitulikiti ne town council ez’enjawulo nazo zisolooza obusuulu ku nnyumba z’opangisa abantu. Buli nsaasaanya ebeera eteereddwa ku kizimnbe ekkirizibwa okutoolwa ku nnyingiza eggyibwa mu bapangisa, naddala ku bizimbe omukolerwa bizinesi (commercial buildings).
Mr. Rujoki mwebale kukung’anya musolo, naye temulina ngeri gye musobola kuteeka Gavumenti ku ninga ku bubbi bwa ssente z’omuwi w’omusolo?
Obuvunaanyizibwa bw’ekitongole kya URA kwe kukungaanya omusolo ne guweerezebwa mu ggwanika ly’eggwanga, ensimbi ezo ne zitemwatemwa mu bitongole eby’enjawulo okuyambako okutuukiriza obuvunanyizibwa obw’enjawulo. Ensimbi zino zirondoolwa ssaababalirizi wa gavumenti (Auditor General), nga n’abenyigira mu kuwuwuttanya ensimbi y’omuwi w’omusolo balondoolwa kaliisoliiso wa gavumenti (Inspector General of Government)
Mpulira nnyo ekigamba litaani mu by’emisolo, mugibala mutya?
Litaani oba ennyanjula kwe kulaga bizinesi bw’eba ekoze mu kugula n’okutunda oba ennyingiza n’ensaasaanya mu kiseera ky’omusolo ekiba kirambikiddwa. Litaani zino zaawulwamu ebiti eby’enjawulo okuli ezissibwamu buli mwaka n’ezissibwamu buli mwezi. Buli musolo gwe weewandiisaako, gukubanja okussaamu litaani okugeza;
- Litaani ku nnyingiza ya bizinesi nga kuno kw’otadde n’omusolo oguggyibwa mu bipangisibwa, nga zino za buli mwaka ziba za buli mwaka
- Litaani z’omusolo gwa VAT, oguggibwa ku musaala gw’abakozi (PAYE), ogwa Local Excise Duty, n’ogwa Withholding tax, zino za buli mwezi
- Litaani z’omusolo ogusasulwa abeenyigira mu zzaala nga zino zissibwamu buli wiiki.
Nkujjukiza nti buli lw’oteekamu litaani, oba oweereddwa ebbeetu okwegerekera omusolo ku bizinesi yo mu mwaka, omwezi oba wiiki.
Okukyusa log book ng’eva mu nkadde okudda mu mpya, kitwala bangaki era kimalawo ssente meka?
Okukyusa logbook okuva mu nkadde (eya kiragala) okudda mu mpya (enjeru) kya bwereere, okuggyako ng’olina bye wakyusa ku mmotoka n’otabikyusa mu kkaadi okugeza langi, ogitwala e Nakawa eri aba munisitule y’ebyentambula. Okwekebejja emmotoka eno kisasulirwa ensimbi 12,000/= era buli kisangibwanga kyakyuuka, okisasulira ensimbi 20,000/=. Ensimbi bw’oba ozisasudde, akatabo akeeru kaakukuweebwa.
Nsaba kuntangaaza ku nkola ya Tax Waiver Masavu bwekola? James Miti e Jinja.
Mwami James Miti, enkola ya Tax Waiver kye kisonyiwo ekyassibwawo ku ngassi n’amagoba eri abo abaalemererwa okussaamu litaani n’okusasula omusolo okutuuka nga 30 June 2024. Abawi b’omusolo ababanjibwa okutuuka nga 30 June 2024, bwe basasula omusolo nga 30 June 2026 terunnayita, ba kusonyiyibwa amagoba n’engassi. Ekisonyiwo kino kikola ku musolo oguwoozebwa munda mu ggwanga okuli omusolo ku nnyingiza (Income Tax), ogwa VAT, Local Excise Duty, Pay As You Earn (PAYE) n’emisolo emirala. Kyokka ekisonyiwo kino tekikola ku musolo gwa Kasitomu nga kuno kw’ossa n’engassi eyassibwa ku bawi b’omusolo olw’obutakozesa nkola ezimu okugeza EFRIS.
No Comments yet!