Buuza Kamisona 67

Bungi ki obw’ebyamaguzi ebikkirizibwa okutambuliza mu takisi olugendo oluwanvu, katugeze omuntu ava ku bbooda e Busia?

Teri bungi bwa kika kyonna omuntu atambulira mu takisi bw’ateekeddwa kuba nabwo. Kyokka, ekyetaagisa z’empapula ezoogera ku byamaguzi by’otambula nabyo okusingira ddala ng’ova mu bitundu by’ensalo za Uganda n’amawanga amalala. Wano oteekeddwa okulaga obukakafu nti bisasuliddwa omusolo gwa Kasitomu (bwe guba kwe guli)

Driving permit ezaggwaako enkadde ez’ebipapula, nkyasobola okugizza obuggya?

Nedda. etteeka ly’ebyentambula ligamba nti omuntu bw’amala ebbanga lya myaka etaano nga tannazza buggya Driving License ye, ateekeddwa okudamu buto emitendera gy’okugezesebwa n’okuweebwa empya. Jjukira nti Driving License z’ebipapula zaakoma dda okukozesebwa (okusukka emyaka etaano emabega).

Mu nkola y’okukyusa okuva ku TIN okudda ku nnamba y’endagamuntu (NIN), kitegeeza nti buli alina endagamuntu ateekeddwa okussaamu litaani n’okusasula omusolo?

Nedda. Mu kukyusa okuva ku TIN okudda ku NIN, ekiseera kino kikolebwa kw’abo abalina TIN nga mu kwewandiisa baalina ennyingiza. Mu ngeri y’emu n’omuntu omulala aneetaaga okwewandiisa ku musolo ng’akozesa NIN ye ateekeddwa okuba n’ennyingiza.

Bizinesi yange entonotono nayo ekakatibwako okukozesa enkola ya EFRIS?

Bizinesi entonotono bw’eba egwa mu kkowe ly’ezo ezaalondobwayo okukozesa enkola ya EFRIS, nayo ekakatibwako okukozesa enkola eyo.

Florence Nassonko e Kassanda: emisolo gya URA kitukakatako okugisasula naffe abali mu byalo? Tuzze tufuna obubaka ku ssimu ne tulowooza nti oba bafere.

Mukyala Nassonko, bw’oba omukozi wa bizinesi afuna ennyingiza, URA ekusuubira okwewandiisa ku musolo, oweebwe ennamba emanyiddwa nga TIN. URA era ekusuubira okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo, oluvannyuma osiige ekifaananyi ekiraga ennyingiza n’enfulumya ng’oyitira mu kussaamu ennyanjula oba litaani. Bwe wabaawo omusolo gw’okusasula, ogusasule mu bbanka gy’oba weerondedde. Nkusaba owandiise bizinesi yo ku musolo, otuukirize obuvunanyizibwa bwo, tukulaakulanyize wamu eggwanga.

Nina ekyuma kya zzaala. Litaani ki ze nteekeddwa okussaamu?

Bw’oba olina ekyuma kya zzaala nga waweebwa olukusa, osuubirwa okussaamu litaani zino wammanga:

  • Litaani ya buli wiiki (buli Lwakusatu)
  • Litaani ya Gaming Information Return eya buli mwezi (essibwamu nga 15 omwezi oguddako terunnayita)
  • Litaani y’omusolo gwa Withholding tax (nayo essibwamu nga 15 omwezi oguddako terunnayita)
  • Bwe wabaawo abakozi abasasulwa omusaala buli mwezi, litaani y’omusolo ogwo emanyiddwa nga PAYE return nayo essibwamu nga 15 omwezi oguddako terunnayita.

Bwe nteekamu okwemulugunya kwange ku musolo (objection), kitwala bbanga ki okukola ku nsonga zange?

Omuntu yenna bw’agerekerwa omusolo n’atamatira nagwo, alina ebbeetu okussaamu okwemulugunya ku musolo ogwo. Oluvannyuma lw’okugerekerwa omusolo, omuntu aweebwa ennaku 45 okussaamu okulaga obutali bumativu ku musolo ogumugerekeddwa (objection). URA eteekeddwa okumuwa okusalawo kwayo mu nnaku 90 oluvannyuma lw’efunye okwemulugunya kwe.

Ssekalema Fred e Nansana – Nga nneetaaga Tax Clearance Certificate, nnina kutuukiriza bizaanyizo ki?

Mwami Ssekalema, Tax Clearance Certificate (TCC) kye kiwandiiko ekikakasa omuntu oba kkampuni nti etuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo ku musolo okuli okukuuma ebiwandiiko, okussaamu litaani n’okusasula omusolo. Ekiwandiiko kino kiraga obujjumbize mu kusasula omusolo n’okutuukiriza obuvunanyizibwa obulala obwogeddwako waggulu. Mu mbeera y’emu, kikozesebwa akifunye mu kuvuganya ku ttenda za gavumenti ne kkampuni endala ezikifuula ekisaanyizo ku kufuna ttenda zaayo. Ebisaanyizo by’okufuna TCC bye bino wammanga:

  • Ebikwata ku kuwandiisa bizinesi yo mu bujjuvu biteekeddwa okubaawo.
  • Okuba ng’okozesa enteekateeka ez’enjawulo okugeza EFRIS, DTS n’ebirala bw’oba ng’ogwa mu ttuluba ly’abateekeddwa okuzikozesa.
  • Oteekeddwa okuba ng’otaddemu litaani ku misolo egy’enjawulo kwe wawandiisibwa mu budde bwazo
  • Oteekeddwa okuba ng’osasula omusolo mu budde bwagwo oba ng’oli ku nteekateeka egusasula mu bitundutundu ebikkiriziganyiddwako ne URA.
Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content