Buuza Kamisona 52

Nze Ssekidde e Kalerwe. Mbuuza, nga URA mukkiriza omuntu yenna okusasula omusolo ng’ekiseera kyago tekinnatuuka? Era bw’aba agusasudde mulina engeri gye muyinza okumusalirako?

Mwami Ssekidde, omuntu yenna okusasula omusolo ateekeddwa okukikola oluvannyuma lw’okussaamu litaani, ng’eno y’emulambika ku bungi bw’omusolo bw’aba alina okusasula. Ng’ekitongole, tukkiriza omuntu yanna okusasula omusolo gw’omumaaso bw’aba ng’anassaamu litaani mu kiseera kyayo. Jjukira nti mu kiseera ekyo, omusolo okusinziira ku litaani gy’otaddemu, bwe guba nga guli wansi w’ogwo gwe wasasula, oteekeddwa okugugattako. Olw’okuba omusolo ggwe ogwegerekera ng’oyita mu kussaamu litaani, teri nkola ya kukukendeereza ky’olina okusasula.

Ebyamaguzi ebyawerebwa bye biriwa? Era omuntu bw’asangibwa ng’abiyingizza eggwanga kiki ekimutuukako?

Ebyamaguzi ebyawerebwa (prohibited goods) by’ebyo ng’okubiyingiza eggwanga kimenya mateeka. Ekyokulabirako ebiragalagala nga Kuber, enjaga n’ebirala, eby’okulwanyisa okuli emmundu, amasasi n’ebirala, eby’obuseegu okuli obutambi n’ebikozesebwa ebirala mu mbeera y’obuseegu, n’ebirala. Omuntu yenna asangibwa ng’ayingizza ebyamaguzi ebyawerebwa bimuboyebwako, naye ng’omuntu n’akwatibwa, n’avunaanibwa mu mbuga z’amateeka. Bwe gumukka mu vvi, aweebwa ekibonerezo okusinziira ku tteeka ly’omusolo gwa Kasitomu erya East African Community Customs Management Act (EACCMA).

Singa nkola loosi mu bizinesi yange mu mwaka gw’ebyensimbi guno, ngibalirira ntya mu mwaka oguddako?

Bw’okola loosi mu mwaka gw’ebyensimbi, oteekeddwa okugiraga mu litaani y’enkomeredde eggalawo omwaka ogwo (Final Income Tax Return). Bw’oba otandika omwaka gw’ebyensimbi oguddako, loosi eyo gy’otandika nayo ne weeyongera mu maaso n’okusiiga ekifaananyi ky’omwaka ogwo. Jjukira nti bw’oba okoze loosi mu bizinesi yo, teri musolo gw’osasula okubanga omusolo guggyibwa ku magoba.

Abwoli e Kamwenge. Twagala kutusomesa ku nsonga z’omusolo. Tutuukirire woofiisi ki okuyambibwa?

Mwami Abwoli, buvunanyizibwa bwa kitongole kya URA okusomesa abantu ku nsonga z’omusolo. Ng’owe Kamwenge, bw’oba weetaaze okusomesebwa, tuukirira woofiisi yo ekutwala (eye Ibanda) ng’eno ya kukolagana ne woofiisi evunaanyizibwa ku kusomesa omusolo (Tax Education Division), enteekateeka ekolebwe obuweereza obwo bubatuusibweko.

Naguze takisi zange n’ekigendererwa ky’okuikozesa okusaabaza abantu. Mbuuza nti nina kusasula musolo ki era ntya?

Bw’oba oguze takisi, omusolo gw’olina okusasula gwe gwa Advance Income Tax ng’era guno gugerekebwa bweguti:

Buli mutto gugasulirwa ensimbi 20,000 buli mwaka

Olw’okuba takisi esaabaza abantu 14 mu mateeka, obaliririra

14 X 20,000 = 280,000.

Omusolo guno gukuggyibwako buli lw’oba ofuna oba okuzza obuggya layisinsi ya PSV (Ogusasulira wamu ne layisinsi eno) buli mwaka.

Omwana atannaweza myaka 18 bw’aba ne bizinesi nayo mugiggyako omusolo?

Yee. Bizinesi eno eggyibwako omusolo bw’eba erina ennyingiza. Jjukira nti bizinesi kika kino eteekeddwa okuba ng’ewandiisibwa mu mannya g’omwana ng’ayambibwako omuntu omukulu avunaanyizibwa ku mwana oyo ng’asukka emyaka 18 (Guardian).

Byamaguzi byenkana ki byenteekeddwa okubeera nabyo nga nnyingira eggwanga okuyita ku kisaawe bye nteekeddwa okufunira clearing agent?

Ebyamaguzi by’oteekeddwa okufunira clearing agent by’ebo by’oyingiza mu ggwanga mu mbeera y’obusuubuzi. Jjukira nti bw’oba n’eyamaguzi ebibyo ng’omuntu ng’omuwendo gwabyo gusukka ddoola 2000, nabyo oteekeddwa okubifunira clearing agent akukolere ku nsonga zo ez’omusolo.

Florence Nassali e Kassanda: emisolo gya URA kitukakatako okugisasula naffe abali mu byalo? Tuzze tufuna obubaka ku ssimu ne tulowooza nti oba bafere.

Mukyala Nakandi, bw’oba omukozi wa bizinesi afuna ennyingiza, URA ekusuubira okwewandiisa ku musolo, oweebwe ennamba emanyiddwa nga TIN. URA era ekusuubira okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo, oluvannyuma osiige ekifaananyi ekiraga ennyingiza n’enfulumya ng’oyitira mu kussaamu ennyanjula oba litaani. Bwe wabaawo omusolo gw’okusasula, ogusasule mu bbanka gy’oba weerondedde. Nkusaba owandiise bizinesi yo ku musolo, otuukirize obuvunanyizibwa bwo, tukulaakulanyize wamu eggwanga.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content