Buuza Kamisona 11

Njagala kukyusa log book yange eya green nfune empya, nkola ntya?

Okukyusa logbook yo eya kiragala okudda mu njeru, goberera emitendera gino wammanga:

  • Oteekeddwa okuba ng’amannya agali mu kkaadi gago oba nga nnyini go osobola okumufuna
  • Bw’oba oli Kampala n’emiriraano, emmotoka yo gireete e Nakawa yeekebejjebwe nga wano osasula ensimbi 12,000/= (Inspection fee).
  • Nannyini mannya agali ku kkaadi eya kiragala, ajja mu buntu ku wofiisi za Ministry of Works e Nakawa ku URA, ne kkopi ya kkaadi, inspection report, TIN ne Paasiwaadi ye eya TIN, kkaadi eyo n’ekyusibwa

Joseph Ssemaganda; Nasuubula screen z’essimu za 6,550,000/= okuva e Dubai kyokka bwe byatuuka e Ntebe ne bansaba 18,000,000/= ne zinema kyokka neetawudde ku ofiisi za URA emirundi nga bang’amba ninde maneja naye tabeerawo.

Mwami Ssemaganda, ensonga ezikwata ku musolo ogusasulirwa ku byamaguzi ebiyisibwa ku kisaawe Entebbe zivunaanyizibwa kw’akulira URA ku kisaawe (Manager Customs). Bw’oba ng’olina ensona yonna ekwata ku kuyingiza ebyamaguzi byo, nkusaba otuukirire Sylvester Kiwanuka ojja kuyambibwa.

Company yange nagiwandiisa ne URSB kati wayiseewo emyaka 10. Kati njagala kugiwandiisa ne URA era kiki ekyetaagisa kuba eno sole company.

Weebale kutwala buvunaanyizibwa n’owandiisa Kampuni yo ne URSB. Kisobokera ddala bizinesi eno okugiwandiisa ne URA oluvannyuma lw’ebbanga eryo olwo n’ogifunira TIN. Bye weetaaga okwewandiisa ku musolo by’ebiwandiiko okuli Certificate of Incorporation ne Company Form 20, nga kuno kw’ossa ne National ID yo nga dayirekita wa Kampuni, gye tukozesa okukufunira TIN.

Alex Kigozi, Okuwa omusolo kitwongerako ki kuba ffe tetulaba kyeyongera ku ggwanga?

Mwami Kigozi, okuwa omusolo kirina emigaso ntoko okugeza okusasula abakozi ba gavumenti, okunyweza obutebenkevu nga kino kikusobozesa okussaawo bizinesi yo, n’okola emirimu gyo nga teri akutaataaganyizza, okuzimba enguudo na ddala zi mwasa njala eziri okwesuulako ekibuga. Mwattu ennaku zino, bw’oba oyiseeko mu kibuga Kampala, enguudo nningi nnyo ziddaabirizibwa, okwo ssaako n’okuvujjiririra enkola ya bonna basome ku mitendera okuli ogwa Pulayimale ne Sekendule. N’olwekyo, nkukubiriza okusasula omusolo ku lw’emiganyulo gyagwo

Habibu e Itengero; Lwaki mutugamba okuzza obuggya pamiti z’emmotoka buli mwaka ng’ate mbeera nagezesebwa dda ne bakakasa nti manyi okuvuga.

Mwami Habibu, pamiti zizzibwa obuggya mu mitendera esatu okuli:

  • Ez’omwaka ogumu, nga wano omuntu asasula ensimbi 110,000/= okigizza obuggya.
  • Ez’emyaka esatu nga wano omuntu asasula ensimbi 210,000/= okigizza obuggya.
  • Ez’emyaka etaano nga wano omuntu asasula ensimbi 310,000/= okigizza obuggya.

N’olwekyo, kiri eri nannyini pamiti okulondawo engeri gy’azza pamiti ye obuggya.

Ensonga lwaki pamiti ziggyibwa obuggya oluvannyuma lw’ekiseera kwe kukakasa nti nannyini yo atuukiriza ebisaanyizo ebimusobozesa okuvuga ekidduka okuli okulaba n’okuwulira obulungi, n’okubeera n’ebitundu by’omubiri by’akozesa okuvuga.

Ekiseera ky’obululu abatembeeyi babaleka ne batundira ebintu ku makubo mu Kampala. Mulina entegeka ezibaggyako omusolo nga bannaabwe abakolera mu maduuka.

Abatembeeyi tebaggyibwako musolo mu butongole kubanga emirimu gyabwe tegyatongozebwa kitongole kiddukanya Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA). Buvunaanyizibwa bwa KCCA okukakasa nti abatembeeyi bano tebataataaganya mirimu gy’abo abakolera mu maduuka kubanga basasulira we bakolera n’okuwa omusolo eri gavumenti.

Lwaki gavumenti etiitiibya nnyo ba musiga nsimbi ng’ebasonyiwa omusolo kyokka ffe bannansi ne batubinika?

Gavumenti essaawo obukwakkulizo omuntu yenna bw’alina okutuukiriza okutwalibwa nga musigansimbi, okugeza omuwendo gw’ensimbi ogussibwa mu bizinesi n’emirimu egikolebwa okuli okugatta omuwendo ku by’obulimi n’obulunzi, amakolero n’ebirala.  Munna Uganda atatuukiriza bukwakkulizo obwo waggulu naye alowoozebwako nga mu nnongoosereza z’omusolo ez’omwaka 2025/26, gavumenti we yassaawo obuweerero eri omuntu yenna eyawandiisa bizinesi okuva nga 01 July 2025, bw’aba nga kapito tasukka bukadde 500, ng’ono wa kusonyiyibwa omusolo ku nnyingiza okumala emyaka esatu. Kino kikola singa nannyini bizinesi aba akuuma ebiwandiiko n’assaamu ne litaani eri URA okulaga bizinesi eno nga bw’etambula.

Lwaki URA egya omusolo ku bintu, oluvanyuma ebikwaatibwa UNBS olw’omutindo omubi? Lino si kkobaane eriri wakati wa URA ne UNBS okulya ssente ku basuubuzi abanaku ababisuubula mu ggwanga? 

URA ekolagana n’ekitongole kya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) mu kukakasa nti ebyamaguzi ebiyingizibwa mu eggwanga bituukana n’omutindo nga tebinnasasulirwa musolo. Ng’ekitongole, tukakasa nti ebintu byonna ebiggyiddwako omusolo byekenneenyezeddwa ekitongole ky’omutindo. Kyokka, wabaawo embeera abamu ku basuubuzi we beebalama ekitongole ky’omutindo, ekiviirako ebikwekweto ebikolebwa olw’okwebalama emitendera egyo. N’olwekyo, bw’oba oyingiza ebyamaguzi, okubirizibwa okufuna satifikeeti y’omutindo emanyiddwa nga PIVOC, nga wano omusolo gwa kubalibwa butereevu nga totaataaganyiziddwa UNBS.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content