
Aggrey e Kyengera; neebaza Kamisona olwokuzibula Bannayuganda amaaso. Kye mbuuza omuntu afuna ddi TIN nnamba, era kyetaagisa ki?
Mwami Aggrey, weebale kugoberera nteekateeka mwe tuyita okuddamu ebibuuzo ebikwata ku musolo. Omuntu asuubirwa okufuna TIN bw’atandika bizinesi ey’ekika kyonna. Jjukira nti n’omukozi asasulwa omusaala asuubirwa okufuna TIN mangu ddala nga yaakafuna omulimu. Eby’etaagisa okufuna TIN bye bino wammanga:
- Eri omuntu ssekinnoomu, bw’oba olina endagamuntu, esobola okwetengerera yokka, olwo n’oweebwa TIN mu bunnambiro mu nkola emanyiddwa nga Instant TIN Registration. Bw’oba tolina ndagamuntu, osobola okukozesa ebibiri ku biwandiiko okuli; Driving Permit, Paasipooti, Employment ID, Bank Statement ey’emyezi esatu egy’omuddiringanwa ng’ekakasiddwa bbanka, kkaadi ya NSSF n’ebirala.
- Eri Kkampuni, weetaaga Certificate of Incorporation ne Company Form 20 okuva mu URSB
- Ng’owandiisa bizinesi yo ng’omuntu ssekinnoomu, weetaaga Certificate of Registration, n’oyongerako ekimu ku biwandiiko ebyogeddwako waggulu.
Abdullah Magala e Mbarara; nasoma mu Bukedde nga mugamba nti business etaweza bukadde 30 tesasula income tax. Naye ndaba aba URA batambula nju ku nju nga babanja income tax. Amateeka ge gaakyuka oba bakikola mu bukyamu?
Mwami Magala, bizinesi etandikirwako okusasula omusolo ku nnyingiza eteekeddwa okuba ng’ekola ettunzi erisukka bukadde 10 mu mwaka. N’olwekyo, bw’oba okuumye ebiwandiiko byo ng’osobola okubyanjula eri omukozi wa URA ojja kuggyibwako omusolo okusinziira ku nnyingiza eri waggulu w’ensimbi ezo.
Solomon e Zzana; nagula piki ku nnyondo nga yali ya ttendekero lya Arua Primary Teachers College ne bampeerako lisiiti, log book. Piki yaliko namba ya bwanannyini nga si ya Gavumenti. Nkola ntya okukyusa log book yaayo okudda mu mannya gange.
Mwami Solomon, bw’ogula pikipiki ku nnyondo, goberera emitendera gino wammanga:
- Funa kkopi y’ekirango ekyassibwa mu mawulire okutegeeza abantu nti wanaabaawo okutunda pikipiki ku nnyondo
- Funa ID y’oyo eyatunda pikipiki ku nnyondo (Auctioneer’s ID), nga kuno kw’otadde ne layisinsi ya kkampuni eyaokoze eyakoze omulimu gw’okutunda ku nnyondo.
- Wanula Transfer forms okuva ku kibanja kya URA (eziri manual), ozijjuzeemu. Ew’omuntu atunda, Actioneer y’assaawo signature, n’assaako stamp ne seal ku buli form
Oluvannyuma Sasula Transfer fees za nsimbi 74,000/=. Ssaako obukakafu obulaga nti wasasulira pikipiki eyatundibwa ku nnyondo, olwo ogitwale e Nakawa yeekebejjebwe. Sasula ensimbi 12,000/= ez’okugyekebejja, oweebwe inspection report ogigatteko, ekyusibwe okudda mu mannya go, oweebwe log book.
Nina bizinesi entono era gye buvuddeko nasoma mu Bukedde ku bantu abalina okusasula income tax. Business yange tevaamu wadde 3,000,000/= omwaka kyokka agamba nti tulina okusasula 80,000/= Kyokka agent wa URA bwe namunyonnyola bye twasoma mu Bukedde, yampakanya. Kati tulina kwekubira wa enduulu okuyambibwa.
Etteeka erirungamya enkungaanya y’omusolo ku nnyingiza liwa obuweerero eri bizinesi entonotono ezitasussa nnyingiza ya bukadde 10 mu mwaka. Okutegeera nti bizinesi yo tesussa nnyingiza eyo, oteekeddwa okuba ng’okuuma ebiwandiiko byayo. Kyalira woofiisi ekutwala n’obukakafu bw’ebiwandiiko ebyo, bizinesi yo eggya kulambulwa. Bwe kizuuliba nga bizinesi tefuna nnyingiza eyo, teri musolo gw’ojja kusasula. Jjukira okulaga ennyingiza yo ey’omwaka ng’ossaamu litaani ya bizinesi yo (presumptive return).
Gye buvuddeko baatugamba nti URA yalina entegeka z’okwongera ku bakozi, entegeka eyo yakomawa kuba abamu tuli mu kunoonya mirimu.
Enteekateeka yakolebwa, ekirango ne kifuluma mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo nga URA yeetaaga abakozi, ne wabaawo okugezesebwa okw’enjawulo, abakozi ne bafunibwa. Nkusaba okwongera okukebera ku kibanja kyaffe, bwe wanaabaawo ekirango ekirala, osseemu okusaba.
Brian Muhumuza e Kasese; Kituufu nti abasirikale ba poliisi ne UPDF tebasasula musolo, bwe kiba kituufu lwaki temubaggyako ate nga nabo balina ennyingiza?
Mwami Muhumuza, abaserikale ba poliisi ne UPDF baaweebwa obuweerero ku misaala gyabwe olw’etteeka erirambika nti tebateekeddwa kuggyibwako musolo. Kino kiri bwe kityo lwa nsonga nti bano beerekereza ne bakola omulimu obutaweera okutuusa ku bannansi bafuna obukuumi ekiseera kyonna.
Nina eddembe ly’okugaana okuwa omusolo singa nkizuula nga ssente ze basoboola tezirina kye zinnyamba?
Buvunaanyizibwa bwa buli munna Uganda alina ennyingiza etuuse okuggyibwako omusolo okugusasula. Eky’obutafuna buweereza kivunaanyizibwa ku kitongole ekirina okubukutuusaako. N’olwekyo, tuukiriza obuvunaanyizibwa bwo obw’okusasula omusolo oleme okutaataaganyizibwa.
Emabegako twalina omusolo gw’omutwe era gwayambanga nnyo Gavumenti z’ebitundu. Mulaba mutya singa guddawo ne gwongera ku nnyingiza?
Gavumenti yakola ennongoosereza ku omusolo gw’omutwe ne gusikizibwa ogwa Local Service Tax (LST) nga guno gusasulwa alina ennyingiza mu bizinesi n’abasasulwa omusaala. Ensimbi zino ziddizibwa mu kitundu asasudde gy’akolera oba gy’asula ne guganyula ekitundu ekyo.
No Comments yet!