Buuza Kamisona 16

Bubonero ki kwe tusobola okwawulira agenti omutuufu ku w’ebicupuli kuba nsanga bangi nga batugamba nti ba agenti ba URA.

Nga URA ba ajenti be twakkiriziganya okukolagana nabo ku nsonga z’omusolo bali mu biti bino wammanga:

  • Ajenti w’omusolo oguwoozebwa munda mu ggwanga (Domestic Tax Agent)
  • Ajenti w’omusolo gwa Kasitomu ng’ono akuyambako okukola ku byamaguzi by’oyingiza n’okufulumya eggwanga (Customs Clearing agent).

Okutegeera nti ajenti gw’okolagana naye mutuufu, yitira mu mitendera gino wammanga:

  • Kyalira ekibanja kya URA ku ura.go.ug
  • Kebera ku mukono gw’ekibanja ogwa kkono wansi, onyige ku Choose An Agent
  • Ojja kulaba enkalala za ba ajenti ab’enjawulo abaaweeba olukusa. (Licensed Customs Agents ne Licensed DT Agents)
  • Nyiga ku kamu kw’obwo, ojjakulagibwa olukalala lwa ba ajenti
  • Yingizaamu TIN ya ajenti, oluvannyuma olabe obubaka obukakasa nti ajenti oyo yaweebwa olukusa

Bw’oba weetaaga okumanya ebisingawo, tutuukirire ku nnamba zaffe ezitasasulirwa; 0800117000 oba 0800217000 oba okuyita ku mukutu gwa WhatsApp ku 0772140000, ojja kuyambibwa.

Lwaki URA ekyagya omusolo ku mmotoka ze Sino truck nga ezireetebwa mu ggwanga ng’ate zikola obubenje kumpi buli olukya olw’obutabeera mu mbeera ezikkiriza kuttika obuzito obusukkiridde ku makubo omuli olw’obutabeera ne “brake” ezigiyamba okusiba? Olowooza si kya bwenkanya okuzigaana okuddamu okuyingizibwa mu ggwanga nga tuyita ku kweesonyiwa okuzigyako omusolo.

Obuvunaanyizibwa bwa URA bwa kukungaanya musolo mu ggwanga wamu ne ku bintu ebiyingizibwa n’okufulumizibwa mu Uganda. Obuvunaanyizibwa bw’obulamu bw’ekidduka ekiyingizibwa mu ggwanga buli wansi wa minisitule y’ebyentambula, ng’eyabibwako poliisi y’eggwanga okulungamya ebidduka ku nguudo. N’olwekyo, ebidduka byonna ebyakkirizibwa okuyingizibwa eggwanga biggyibwako omusolo ng’amateeka bwe galambika.

Okulinnya kwa ssente ya shillingi ku ddoola kirina engeri gye kiyambako ku bawi b’omusolo oba tekituyamba.

Buli nsimbi ya Uganda bwe yeeyongera okulinnya ebbeeyi bw’ogigeraageranya ne ddoola ya America, kikendeeza omugugu eri babawi b’omusolo mu Uganda. Kino kiri bwekityo lwa nsonga nti omusuubuzi aba yeetaaga ensimbi za Uganda ntonotono okufuna ddoola olwo n’asuubula ku bbeeyi ensaamusaamu. Embeera y’emu eri ne mu kusasula omusolo gw’eggwanga.

Lwaki enguudo n’amalwaaaliro bikyaali mu mbeera mbi wano mu ggwanga ng’ate ssente URA z’esolooza oluvanyuma lw’okutubinika omusolo omuyittirivu zigambibwa okuba nga ziteekeddwa okukola kunsonga eyo?

Ekitongole kya URA kivunaanyizibwa ku kukungaanya musolo ne guweerezebwa mu ggwanika ly’eggwanga n’ekigendererwa ky’okutuusa obuweereza ku bantu. Ensimbi ezo bwe ziweerezebwa, minisitule y’ebyensimbi ezitemaatema ne ziweerezebwa mu bitongole eby’enjawulo okuli ebyokwerinda, ebyobulamu, ebyentambula, ebyenjigiriza n’ebirala. Obuvunaanyizibwa bw’okulondoola engeri ensimbi gye zisaasaanyizibwamu mu malwaliro n’enguudo mu ggwanga bwa minisitule okuli ey’ebyobulamu n’enguudo nga ziyambibwako, ssaababalirizi wa gavumenti (Auditor General) ne kaliisoliiso w’eggwanga okukakasa nti teziwuwuttanyizibwa.

Kituufu nti URA yeeviiriddeko ba landiroodi okutwongeza ssente z’obupangisa buli olukya olw’emisolo emiyitirivu gye mubabinika? Lwaki temugikendezaako ne tuwona okutwongeza ssente z’obupangisa?

Omusolo ogusasulwa ba landiloodi nga guggyibwa mu bipangisibwa okuli ebizimbe, ennyumba ezisulwamu n’ebibangirizi guggyibwa ku nnyingiza eva mu bintu ebyo ebimenyeddwa. Guno teguteekeddwa kusasulwa bapangisa wabula landiloodi yennyini. Omusolo guno gweyongera buli nnyingiza ya landiloodi lwe yeeyongera era si kya buvunaanyizibwa landiloodi kwongeza nsimbi za bupangisa ng’asinziira ku musolo ogumuggyibwako. Jjukira nti ennongoosereza eyasemba okukolebwa ku musolo guno yali ya mwaka 2021/22.

URA yaggulawo enkolagana eyenjawulo ne kkampuni ya Toyota efulumya emmotoka?

Teri nkolagana ya njawulo URA gye yaggulawo na kkampuni ekola emmotoka eya Toyota. Emmotoka ezifulumizibwa kkampuni eno ziggyibwako omusolo nga tuyita mu kubalirira ng’ebika by’emmotoka endala zonna

Ddi URA lwerina okweeyambisa eryaanyi oba obutalyeeyambisa okuteeka munkola entekateeka gaayo ag’ebyemisolo mu ggwanga?

Mu kaweefube w’okukungaanya omusolo gw’eggwanga, okukozesa eryani si kye kimu ku bisooka okulowoozebwako ekitongole kya URA. Tusooka ne tusomesa omuwi w’omusolo nga yaakafuna TIN n’ekigendererwa ky’okumuteekateeka okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Oluvannyuma twogera naye bwe tuzuula ng’alina obuvunaanyizibwa bw’atatuukirizza nga tuyita ku mikutu egy’enjawulo okuli essimu, okuweerezebwa obubaka ku e-meil n’engeri endala. Ebyo byonna bwe bigaana, awo tusobola okukozesa amaanyi ag’ekigero okukakasa nti omuwi w’omusolo atuukirizza obuvunaanyizibwa bwe.

Omukozi ateekeddwa okusasula omusolo gwa Pay as You Earn atandikirwako abeera ayingiza ssente meka?

Omukozi asookerwako okusasula omusolo gwa Pay As You Earn ateekeddwa okuba ng’asasulwa omugatte gw’omusaala gwa nsimbi ezisukka 235,000/=. Omusolo guno gweyongera buli musaala gw’omukozi lwe gweyongera.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content