Buuza Kamisona 53

Bwe nsasula omusolo nga sitaddeemu litaani munsasuza engassi?

Yee. Omuntu yenna bw’atandika bizinesi, asuubirwa okugiwandiisa mu mateeka n’ekitongole kya URSB oluvannyuma n’agiwandiisa ku musolone URA. Bizinesi bw’ewandiisibwa ku musolo, nannyini yo ateekeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa ku musolo okuli okukuuma ebiwandiik, okussaamu litaani n’okusasula omusolo. Bw’osasula omusolo nga totaddeemu litaani kitegeeza nti oba olina etteeka ly’omenye ng’era wano osasuzibwa engassi ya bitundu 2 ku 100 (2%) oba ensimbi 200,000, ekisingako obungi kw’ebyo. N’olwekyo, buli kiseera ky’okusasula omusolo mu bizinesi yo bwe kituuka, ssaamu litaani otusiigire ekifaananyi ku ngeri bizinesi yo gy’etambulamu, oluvannyuma osasule omusolo.

Omuntu alina you tube channel mumuggyako musolo ki?

Omuntu yenna alina YouTube channel, afuna ennyingiza okuva mu bagoberezi be (subscribers) n’abo abalaba by’ateeka ku mukutu ogwo (viewers). Nga bizinesi endala zonna, nannyini YouTube channel ateekeddwa okuwandiisa omukutu gwe, n’assaamu litaani okusiiga ekifaananyi ku ngeri gy’ayingiza ne gy’asaasaanyaamu. Oluvannyuma asasula omusolo ku nnyingiza okusinziira ku magoba g’akoze mu kiseera ekyo.

Smuggling kye ki?

Smuggling kwe kukukusa ebyamaguzi okubiyingiza oba okubifulumya eggwanga n’ekigendererwa ky’okwebalama okusasula omusolo. Kino kitera nnyo okulabikira mu kuyisa ebyamaguzi ku nnyanja n’ebitundu by’ensalo ebitaliiko nnyo kulawuna (porous borders). Omuntu yenna eyeenyigira mu kukukusa ebyamaguzi aba azzizza omusango era bwe gumukka mu vvi, ebyamaguzi by’abadde akukusa biboyebwa ne bitundibwa ku nnyondo, kuno ssaako n’ebidduka okuli emmotoka, pikipiki, eggaali, eryato n’entambula endala yonna, nabyo biboyebwa ne bitundibwa ku nnyondo. Abantu bonna bakubirizibwa okwewala ekikolwa kino baleme kugwa mu buzibu obwo waggulu.

Kaboggoza e Buikwe: emisolo gya URA kitukakatako okugisasula naffe abali mu byalo? Tuzze tufuna obubaka ku ssimu ne tulowooza nti oba bafere.

Mwami Kaboggoza, bw’oba omukozi wa bizinesi afuna ennyingiza, URA ekusuubira okwewandiisa ku musolo, oweebwe ennamba emanyiddwa nga TIN. URA era ekusuubira okukuuma ebiwandiiko bya bizinesi yo, oluvannyuma osiige ekifaananyi ekiraga ennyingiza n’enfulumya ng’oyitira mu kussaamu ennyanjula oba litaani. Bwe wabaawo omusolo gw’okusasula, ogusasule mu bbanka gy’oba weerondedde. Nkusaba owandiise bizinesi yo ku musolo, otuukirize obuvunanyizibwa bwo, tukulaakulanyize wamu eggwanga.

Singa kkooti eragira okuliyirira omuntu ssente olw’okufiirizibwa nazo Gavumenti eziggyako omusolo? Shakirah e Mbarara.

Mukyala Shakirah, okumanya oba waliwo omusolo gw’okusasula ng’oliyiriddwa kisinziira ku mbeera ekuviirako okuliyirirwa era ensonga eno ekwatibwa mu ngeri za mirundi ebiri okuli:

  • Singa oliyirirwa okugeza olw’okufiirwa obudde, okwonoona erinnya lyo n’embeera endala egwa mu kkowe eryo, wano toggyibwako musolo kubanga ekikuliyiriddwa tewandikisasulidde musolo singa tewabaddeewo buzibu obwo.
  • Kyokka singa oliyiririddwa olw’okugobwa ku mulimu mu bukyamu kkooti n’eragira osasulwe omusaala gwe wandibadde ofuna mu kiseera ekyo, wano oggyibwako omusolo kubanga mu mbeera ya bulijjo ennyingiza eyo eggyibwako omusolo.

Singa nsikira ekibanja kya jajja ne njagala okutereeza ebiwandiiko ng’okufuna ekyapa bidde mu mannya gange nakyo kiriko omusolo gwe nina okusasula? Franka Ntambi

Mwami Ntambi, bw’oba oyagala okukyusa obwannannyini ku ttaka ly’osikidde, osasula omusolo gwa Stamp Duty nga guno gusasulwa ku bitundu 1.5 ku 100 (1.5%) ku muwendo ogubaliriddwa omubalirizi wa gavumenti (government valuer). Okugeza, singa ettaka libalirirwamu ensimbi 10,000,000, omusolo gubalibwa bwe guti:

10,000,000 X 1.5% = 150,000.

N’olwekyo, omusolo gw’okusasula mu mbeera eno guli 150,000. Bw’omala okusasula omusolo guno, oweebwa ekyapa mu mannya go.

Ensako aba L.C gye bafuna buli mwezi nayo Gavumenti egiggyako omusolo?

Nedda. Ensako ya ba LC teggyibwako musolo kubanga egwa wansi w’ensimbi ez’essalira okuggyibwa omusolo. Bano basasulwa ensimbi 100,000 (ex-gratia) buli mwezi, ate nga ensimbi z’essalira ziri waggulu wa 235,000 buli mwezi.

Ng’oggyeko omusaala gwa babaka ba Palamenti, waliwo ekika ky’abantu abalala abasasulwa omusaala nga tebaggyibwako musolo?

Ababaka ba Palamenti basasula omusolo ku musaala gwabwe omutongole. Okutaggyibwa musolo y’ensako gye bafuna (allowances). Waliwo abantu abalala abafuna omusaala kyokka nga tebaggyibwako musolo okugeza:

  • Ab’ebyokwerinda okuli ab’eggye ly’eggwanga (Uganda Peoples Defense Forces), aba Poliisi (Uganda Police Force), abaamakomera (Uganda Prisons), aba ISO ne ESO ng’oggyeeko abakola mu bitongole bino mu mbeera y’abantu ba bulijjo.
  • Omuwaabi wa gavumenti mu woofiisi ya ssaabawaabi (DPP), nga naye kennyini mw’omutwalidde.
  • Omuntu afuna omusaala ogutasukka 235,000 buli mwezi.
  • Omukozi mu bbanka y’ebyensimbi eya East African Development Bank.
Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content