
Nina bizinensi ya galaji era bwe ngibalirira eri mu mitwalo 80 naye nga natandika ne mitwalo 20. Mu kiseera kino kinkakatako okusasula omusolo oba ngira nindamu etuuke mu bukadde nga 10.
Bwe tuba tuggya omusolo ku bizinesi entonotono tetusinziira ku kapito waayo, wabula tusinziira ku ttunzi erikoleddwa mu mwaka. N’olwekyo, bw’oba oyagala okutegeera omusolo gw’osasula mu bizinesi yo, nkusaba okuume ebiwandiiko by’ettunzi nga bwe linaasukka obukadde 10 mu mwaka, bizinnesi yo ejja kuba etuuse okusasula omusolo.
Yosia Aggrey e Kyengera; ndi dereeva wa mmotoka ennene. Poliisi y’ebidduka ku nguudo bwenkuba lisiiti (fine) nga embeera y’emmotoka si nnungi lwaki ate engassi bagiteeka ku permit yange ng’ate si buvunanyizibwa bwange okugisasula?
Mwami Yosia, buvunaanyizibwa bwa muvuzi wa kidduka okugoberera amateeka g’okuluguudo okuli okuvuga ekidduka ekiri mu mbeera ennungi, obutayogerera ku ssimu ng’avuga, obutavuga ndiima n’ebirala. Okusinziira ku tteeka erirungamya entambula y’ebidduka (Traffic and Road Safety Act, 1998), omuvuzi w’emmotoka bw’asangiba ng’alina erimu ku mateeka g’okuluguudo ly’amenye, aweesebwa engassi ng’era engassi eno essibwa ku pamiti ye butereevu. N’olwekyo, nkukubiriza okwewala okumenya amateeka g’okunguudo olwo owone okusasuzibwa engassi.
David Atwiine e Mukono; navuga piki ku loan UDN ne ngimalayo kyokka ngenda okukizuula nga kaadi tesoma mannya gooyo eyaginguza ku kibanja mpola ate ne number plate n’egwa. Nkole ntya okufuna enamba endala n’okukyusa card okugizza mu mannya gange?
Mwami Atwine, bw’oba tomanyi nannyini pikipiki eyo, osabibwa okuyisa ekirango mu mawulire okumala wiiki bbiri, nga singa tewaabeewo yeesowolayo kukutegeeza nti ye nnyini yo, ojja kweyongerayo mu kkooti okube ekirayiro, oluvannyuma oweebwe ekiragiro kya kkooti (Court Order) okukyusa ekidduka kino okudda mu linnya lyo. Jjukira nti weetaaga okumanya ekika kya kkaadi ya pikipiki eyo (oba katabo ka kiragala oba kkaadi njeru). Oluvannyuma, kyalira woofiisi ekola ku bidduka ku kitebe kya URA ekikulu e Nakawa, nga pikipiki yaakukyusibwa okudda mu linnya lyo, oluvannyuma lw’okusasula ensimbi 49,000/=. N’ennamba yaayo yaakukyusibwa kyokka nga yo oli wa kugisasulira ensimbi 50,000/=.
Singa nfuna obulemu nga sikyasobola kukola mirimu, era kibeera kinkakatako okuwa omusolo gwa bizinensi yange?
Omusolo guggyibwa ku nnyingiza y’omuntu okuli eyo eva mu bizinesi, omusaala n’ennyingiza y’ekika ekirala kyonna. Singa omuntu afuna obulemu nga takyalina nnyingiza, talina musolo gw’asasula kubanga n’ennyingiza eyo eba teriiwo. Kyokka ate bw’ofuna obulemu naye n’osigala ng’olina ennyingiza eva mu bizinesi yo, okakatibwako okusasula omusolo.
No Comments yet!