Buuza Kamisona 2

Kituufu nti mwatandika okuwooza omusolo ku ssente abantu ze bafuna eza NSSF?

Nedda. Ensimbi abantu ze batereka n’ekittavvu kya NSSF teziggyibwako musolo okusinziira ku mateeka g’omusolo ku nnyingiza. Kino kiri bwe kityo kubanga omuntu w’aziterekerayo, ziba ziggyiddwako omusolo.

Omusolo gwa stamp duty kituufu gwavaayo nga tugula ettaka?

Okuva nga 01 July 2025, omusolo gwa Stamp Duty ku ndagaano zonna nga n’ezettaka mw’ozitwalidde gwayimirizibwa, oluvannyuma lw’ennongoosereza ezaakolebwa mu mateeka g’omusolo. Kyokka bw’oba okyusa obwannannyini ku ttaka ly’ekyapa, osasula omusolo ogwo ku bitundu 1.5% ku bbeeyi y’ettaka nga bw’eba ebaliriddwa omubalirizi wa gavumenti.

Batugamba ebirime tebiwa musolo, naye lwaki aba tulafiki bayimiriza emmotoka?

Abaserikale ba tulafiki bavunaanyizibwa kuluamya ntambula ya bidduka okuli embeera y’ekidduka, yinsuwa ya Third Party, layisinsi z’abagoba b’ebidduka n’ebirala. Owa Tulafiki akuyimiriza talina lukusa luwooza musolo ku byamaguzi by’oba otisse ku kidduka.

Nga URA mutuyambye mutya ku kampuni za bawola ssente (money lenders) ababunye mu byalo nga batwala ebintu byabantu olw’okulemwa okubasasula nga kiva ku magoba amangi ge basaba.

Ekitongole kya URA kivunaanyizibwa kukuaanya musolo gwa ggwanga. Kkampuni eziwola abantu ensimbi ziruamizibwa ekitongole ki Uganda Microfinance Regulatory Authority (UMRA), ng’ekitongole kino kye kivunaanyizibwa ku bitongole ne kkampuni zonna eziwola abantu ensimbi.

Brahim Masembe; Ekitongole kya URA kyatandika ddi mu Uganda?

Ekitongole kya URa kyatandikibwao nga 05 September 1991 nga kyeyubudde okuva mu minisitule y’ebyensimbi.

Brian Katamba e Mukono; Nsaba kumanya bajeti y’omwaka ogujja ogwa 2025/26 erimu misolo ki emipya gye tuba twetegekera okusasula?

Mwami Katamba, embalirira y’omwaka 2025/26 tumuli misolo mipya, kyokka waliwo ennongoosereza ez’enjawulo ezaakoleddwa mu mateeka g’omusolo omwabadde okuwa obuweerero ku bika by’omusolo eby’enjawulo, n’okwongezaamu ku musolo mu bintu ebirala. Ezimu ku nnongoosereza ezongezza ku musolo oguwoozebwa mu ggwanga mulimu;

  • Ebitundu 15 ku 100 (15%) mu musolo kw’abo abatuusa obuweereza bw’enkola ya kalimagezi (digital services) eri banna Uganda, nga guno gwayongezeddwa okuva ku bitundu 5 ku buli 100 (5%)
  • Omusolo gwayongezeddwa ku sigala nga buli miti 1000 gya kusasulirwanga omusolo gwa nsimbi 65,000 okuva ku 55,000 ezibaddewo.
  • Omusolo gwongezeddwa ne ku mwenge, kyokka ate kw’ogwo ogukolebwa okuva mu bintu ebirimiddwa wano gwakendeezeddwa okusobozesa okukulaakulanya amakolero ga wano.
  • N’ennongoosereza endala nnyingi.

Mu ngeri endala, waliwo omusolo ogukendeezeddwa oba oguggyiddwawo okugeza:

  • Omusolo guggyiddwawo ku batuuze b’omumawanga g’omukago gwa East Africa nga ne Uganda mw’ogitwalidde abatandika bizinesi mu Uganda oluvannyuma lwa nga 01 July 2025 nga balina kapito wa nsimbi za Uganda ezitasukka bukadde 500
  • Omusolo gwa Stamp Duty guggyiddwawo ku ndagaano z’ebika byonna.

Habib Jogo e Sheema; Njagala kufuna nnamba ya mmotoka empya, kyetaagisa ki okukyusa okufuna ennamba empya ze mwaleeta?

Mwami Jogo, oteekeddwa okuba ng’olina TIN ne paasiwadi yo, okyalire ekibanja kya URA (www.ura.go.ug) oyingire mu akawunti yo eya TIN, ogoberere emitendera gino:

  • Genda mu Motor Vehicle
  • Nyiga ku Appication for digital number plate
  • Yingizaamu ennamba yo ey’emmotoka gy’oyagala okukyusiza number plate
  • Oluvannyuma ofuna ebikwata ku mmotoka
  • Yingizaamu ensonga nga kwe kukyusa okufuna ennamba ya digito
  • Bw’omaliriza, nyiga ‘Submit
  • Fulumya olupapula kw’osabidde okukyusa, nga kuno kujjirako akapapula kw’osasulira, olwo olutwale ku woofiisi evunaanyizibwa ku kugaba number plate.

Weetegereze: Bw’oba oyagala number plate ya pikipiki, osasula ensimbi 50,000, bw’oba weetaaga ya mmotoka, osasula ensimbi 150,000.

Jane Muhindo e Fort Portal; Okumala emyaka etaano nzize ngoberera ensolooza yammwe ey’omusolo nga tewali mwaka gwe mwali mutuukirizza ssente zaali zibalagiddwa kusolooza. Kiva kuki ate buli mwaka okulinnyisa target yammwe?

Mukyala Muhindo, ng’ekitongole, tuweebwa tajeti ez’enjawulo mu buli mwaka gw’ebyensimbi, ng’okugituukiriza kisinziira ku nsonga ez’enjawulo okugeza engeri eby’enfuna gye bitambulamu mu ggwanga, engeri abawi b’omusolo gye bajjumbira okusasula n’ensonga endala nnyingi. Emyaka etaano emabega, eggwanga lyali lirwanagana n’ekirwadde kya Covid 19 ekyakosa ennyo bizinesi z’abantu mu ggwanga. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera ekyo, eggwanga lyadda engulu, era omusolo guwoozebwa bulungi ng’okuva mu bizibu ebyo, tuzze tutuukiriza ekkatala ly’ensimbi eziba zituweereddwa.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content