
Etteeka eryayisiddwa Palamenti erifuga ebiyiiye erya Copy Right Bill, ligenda kuyamba litya URA?
Etteeka lino, omukulembeze w’eggwanga bw’anaaba alissizzaako omukono, lya kuyambako URA okuggya omusolo gwa Withholding tax ku nsimbi ezisasulwa bannabitone buli biyiiye byabwe lwe bikozesebwa, ekitegeeeza nti awaggyibwa omusolo wanaaba wagaziye. Ebitundu 10 ku 100 (10%) bya kuggyibwanga ku nsimbi ezisasulwa mu kimanyiddwa nga loyalties.
Kituufu nti abasirikale ba UPDF abaateekebwa ku nguudo ez’enjawulo ezifuluma Kampala mbu babayambako okuzuula abantu abatawa musolo bulungi?
Omusirikale wa UPDF aweebwa obuvunaanyizibwa bwonna okuva eri bakama be okusinziira ku bwetaavu obubeerawo mu kiseera ekyo. Ennaku zino waliwo abasirikale abassibwa mu bifo eby’enjawulo kyokka obuvunaanyizibwa bwabwe si kunoonya musolo gwa gavumenti, wabula ensonga endala ezimanyiddwa eggye ly’eggwanga.
Singa neesanga nga nsasudde ssente nnyingi okusinga ze nina okuwa, waliwo omukisa gwokuzongerezaako omulundi gwe nziramu okusasula?
Omukisa ogwo weeguli. Kino kiri bwe kityo kubanga URA etunuulira ebitabo byo ng’ekugguliddewo ledger n’emanya omusolo gw’olina okusasula. Singa kizuulibwa nti mu kiseera ekiyise wasasula omusolo mungi ko okusinga ogwo gwe wali oteekeddwa okusasula, olwo, guno guyambako okukendeeza ekkatala ly’omusolo gw’oba olina okusasula mu kiseera ekyo
Bwemba nagula piki enkadde ng’eriko card nga number plate yagwa. Bwe mba njagala okufuna number plate endala nkola ntya
Buli lw’oba weetaaga okufuna obuweereza ku kidduka, amannya agali ku kkaadi gateekeddwa okuba nga gago oba nga ga muntu gw’osobola okutuukako amangu. Emitendera gy’oyitamu mu mbeera eno gye gino wammanga:
- Langa mu mawulire ng’otegeeza omuntu yenna ayinza okuba nga yalonda ennamba ya pikipiki yo, ng’ekirango kino kirina okumala ebbanga lya wiiki bbiri okuva lwe kifulumiziddwa.
- Oluvannyuma tegeeza poliisi ku nnamba ya pikipiki yo eyabula oweebwe alipoota ya poliisi.
- Yingira mu akawunti y’oyo ekidduka mwe kyaswandiisibwa, owanuleyo ffoomu eri wansi wa Motor Vehicle naye ng’esaba Duplicate ya Number Plate.
- Mu ffoomu eyo waliwo w’ossa alipoota ya poliisi n’eggulire lye walangamu
- Ssaamu okusaba nnamba plate bbiri kubanga ne bw’oba nga wasuula nnamba plate emu oteekeddwa okuweebwa ennamba bbiri.
- Oluvannyuma kyalira woofiisi y’ekitongole ky’ebyentambula esangibwa ku kitebe kya URA ekikulu, ensonga yo ekolebweko.
Ddi lwe mpanduukulula TIN ya bizinesi yange era nkikola ntya?
Bw’oweebwa TIN kitegeeza nti okola bizinesi, olina ennyingiza era otuukiiriza obuvunaanyizibwa bwo ku musolo. Kyokka bwe weesanga nga bizinesi tesobola kugenda mu maaso olw’embeera eteebereka, otukyalira n’otutegeeza nga bizinesi yo bw’etakyakola. Wano oweebwa ffoomu n’ogijjuza, olwo TIN yo n’eyimirizibwa. Bwe weesanga ng’ozzeemu okukola bizinesi, era otutegeeza TIN yo n’eddizibwawo.
Singa ntandika bizinesi empya, nteekeddwa okugifunira TIN yaayo oba nkozesa yange ng’omuntu?
Bw’otandika bizinesi empya kyokka ng’osangiddwa olina TIN, ekisingako kwe kugatta bizinesi eyo ku TIN yo, olwo ensonga za bizinesi yo naawe ng’omuntu n’oziddukanyiza wamu.
Mirembe e Lungujja, mulina lipooti eraga ssente ze mukung’anya kye zikola, kuba tukooye okuwa omusolo nga buli wantu wajjudde kasasiro?
Mukyala Mirembe, URA ekola alipoota eraga ensimbi ezikungaanyizibwa buli mwaka eri minisitule y’ebyensimbi n’eri banna Uganda. Oluvannyuma, ensaasaanya y’omusolo ogukungaanyiziddwa n’enkozesa yaagwo byanjulwa buli mwaka eri banna Uganda mu mwezi ambalirira mw’esomerwa.
No Comments yet!