
Mugyebale gye muweereza, mbuuza misolo ki emipya gye tulina?
Obudde buno, teri musolo mupya, okuggyako ennongoosereza ezaakolebwa mu misolo egyasangibwawo mu mwaka gw’ebyensimbi 2025-26.
James Bwogi e Mpereerwe, Singa ntikka sukulaapu okumutwala gye basaanuusiza ebyuma, nsasula ntya omusolo?
Mwami Bwogi, bw’oba okola omlimu gw’okukungaanya sikulaapu, weetaaga okuba nga wawandiisa bizinesi yo ku musolo. Bw’otuuka okutwala sikulaapu okumutunda eri abamusaanuusa, tutunuulira ennyingiza n’ensaasaanya yo, olwo ne tubalirira omusolo gw’oteekeddwa okusasula ku magoba. Mu mbeera y’emu, gw’oguza sikulaapu ateekeddwa okukuggyako ebitundu 6 ku 100 (6%) ez’omusolo ogumanyiddwa nga Withholding tax nga kino kibaawo singa otunda ensimbi ezisukka mu kakadde kamu ate nga ne gw’oguza yaweebwa olukusa okukuggyako ensimbi ezo.
Omulunzi n’omulimi naye alina emisolo gyasasula era gye giriwa?
Omuntu yenna oba kkampuni eyeenyigira mu bulimi n’obulunzi ku mutendera gw’okutunda (commercial farming) asasula omusolo ku nnyingiza ku by’aba atunze, bwe biba bitundiddwa ku muwendo ogukkirizibwa ouggyibwako omusolo. Kyokka ebintu ebiva n’ebikozesebwa mu byobulimi bingi byaweebwa obuweerero ku musolo okugeza, mu tteeka ly’omusolo gwa VAT, ebiggyibwa mu by’obulimi n’obulunzi tebisasulirwako musolo gwa VAT ebbanga lye bimala nga tebinnagattibwako mutindo, kuno ssaako n’ebikozesebwa mu byobulimi n’obulunzi okuli tractor, ebinywerwamu n’ebiriirwamu enkoko, obuuma obukozesebwa okufuuyira ebirime, ebyuma ebiyamba okukama ente n’embuzi n’ebirala.
Ekisonyiwo ya URA ku misolo kye mpulira kikoma June 30, 2026?
Yee. Ekisonyiwo ku musolo (tax waiver) kikoma nga 30 June 2026. Wano, omuntu yenna abanjibwa omusolo (principal tax) okutuuka nga 30 June 2024, bw’agusasula nga nsalessale oyo waggulu nannayita, asonyiyibwa amagoba n’engassi ebyamussibwako ku musolo ogwo.
Njagala kumanya oba kiituufu nti Pulezidenti Museveni ssente z’akozesa mu kampeyini nazo ziva mu URA?
Obuvunaanyizibwa bwa URA bwa kugereka, kukungaanya na kuwa mbalirira ku musolo. Omusolo ogukungaanyiziddwa guweerezebwa mu kittavu ky’eggwanga (consolidated fund). Kino kikolebwa okusinziira ku mateeka g’omusolo agayisibwa olukiiko lw’eggwanga olukulu.
Omusolo gwe tusasula mu Kampala Gavumenti egukozesaako kuba enguudo mbi, simanyi oba bayitako e Nateete?
Ku nsimbi entonotono ezikungaanyizibwa KCCA, mulimu obuvuaanyizibwa okuddaabiriza enguudo ez’enjawulo nga n’olwe nateete me tulutwalidde. Kyokka, oluguudo luno lugwa mu buvunaanyizibwa bwa minisitule y’ebyentambula, era enteekateeka weeziri okulumaliriza mu bbanga eritali lya wala.
Lwaki bwe tuba tusasula omusolo gw amayumba temutufunira ennamba emu kwe tusasulira (identifier number) okusinga buli mulundi okutufunira PRN buli lwe tuba tusasula.
Waliwo enteekateeka y’okuweebwa nnamba emu nga y’eyawula nannyini kizimbe oba nnannyini mayumba ku mulala mu bitundu eby’enjawulo. Kino kikyabagibwa wakati wa URA, KACCA ne gavumenti z’ebitundu. Bwe kinaaba kiteereddwa mu nkola, buli landiloodi wa kufuna ennamba eyo, naye nga si kyakuggyawo kukozesa nnamba kusasulirwa musolo (PRN), kuba eno y’esasulirwako omusolo n’ebisale ebirala.
Nsaba mutubuulire email kwe tusobola okusindika okusaba kwaffe abaagala ekisonyiwo ky’omusolo kuba sigimanyi?
Ekisonyiwo kino ku musolo tekyetaaga kuweereza bubaka bwonna okusobola okukiganyulwamu. Ky’olina okukola, kumanya musolo ogukubanjinwa okutuuka nga 30 June 2024, okole ku nteekateeka y’okugusasula (generate payment), oluvannyuma osasule omusolo ogwo. Wano, amagoba n’engassi bya kukusonyiyibwa butereevu. Jjukira nti osobola okusasula omusolo guno mu nkola ya kibanjampola nga buli lw’okendeeza ku musolo ogukubanjibwa, amagoba n’engassi bya kukusonyiyibw aokusinziira ku bitundu ku buli kikumi by’oba osasudde.
No Comments yet!