Buuza Kamisona 35

Singa nsasula omusolo mu URA okufuna pamiti y’okuvuga emmotoka nga ya myaka esatu, kyokka oluvannyuma ne nkizuula nga nandibadde nsasula ya myaka etaano. Nsobola okwongerayo ssente z’emyaka ebiri ne nfuna lumu pamiti y’emyaka etaano.

Bw’oba osasudde ensimbi okufuna pami y’emyaka esatu naye ng’ekigendererwa kyali kya kusasulira nyeka etaano, system yakolebwa mu mbeera nti oba tosobola kwongerezaako (top-up). Wabula ky’okola, osasulira pamiti y’emyaka etaano, n’ogizza obujja olwo n’ossaamu okusaba okuddizibwa ensimbi za pamiti y’emyaka esatu eziba zaasasulwa mu butanwa.

Kituufu nti URA esala omusolo ku ssente za NSSF ze bawa omuntu ng’awumudde?

URA teggya musolo ku nsimbi za NSSF omukozi yenna z’aba yeeterekedde. Kino kiri bwe kityo kubanga ensimbi zino we ziterekebwa, ziba ziggyiddwako omusolo. N’olwekyo, mu kiseera ky’okuwummula, nnyini zo zimuweebwa bulambalamba.

Ssebo kamisona nsaba nga URA mututeerewo enkola y’okutuzimbira amayumba ng’ekitongole nga bwe tusasula mpola.

Tweyanzizza ekiteeso ky’oleese eky’okuzimbira banna Uganga ennyumba eez’omulembe ku bbeeyi ensaamusaamu. Naye, obuvunaanyizibwa buno bugwa mu minisitule y’ebyamayumba n’enkulaakulana y’ebibuga (Ministry of Housing and Urban Development). N’olwekyo, minisitule eno y’esaanidde okutunula mu kiteeso kyo.

URA mututaase ku kitongole kya UNEB nga kitusaba ssente nnyingi okukakasa ebiwandiiko byaffe, we muba nga si mmwe muzitwala ng’omusolo?

Buli kitongole kya gavumenti kirina obuvunaanyizibwa obwetongodde okukola ku nsonga zaakyo nga mwe muli n’okussaawo ebisale by’obuweereza obw’ennjawulo. Na bwekityo, bw’oba n’okwemulugunya kwonna, nkusaba obatuukirire mwogerezeganye ku nsonga ezigwa mu kkowe eryo.

Omubaka wa Palamenti bamusalako omusolo gwa ssente meka buli mwezi?

Buli mubaka wa Palamenti akakatibwako okusasula omusolo ku musaala gwe buli mwezi. Embala y’omusolo esinziira ku bungi bw’omusaala omubaka gw’afuna, nga wano we tusinziira okumuggyako omusolo. Mu kukola kino tugendereramu okussaawo obwenkanya mu kusasula omusolo nga bwe kiri ku bakozi abalala (ng’oggyeeko abo abaasonyiyibwa okusasula omusolo ku misaala gyabwe).

Mwebale aba URA okutusomesa ku by’emisolo buli kadde. Naye lwaki abakozi bammwe basusse obukambwe nga batukwata.

Si nkola ya URA okutulugunya abawi b’omusolo, oli ne bwaba ng’azizza omusango ku nsonga z’omusolo. Mu mbeera eno, tuteekeddwa okumuyisa mu nkola y’obuntubulamu ng’amateeka bwe galagira. N’olwekyo, bwe weesanga nga waliwo abakozi ba URA abakuyisizza obubi, osobola okututuukirira ku nnamba y’essimu, 0772141075 ojja kuyambibwa. Kino kiri bwe kityo kubanga ng’ekitongole tulina abavunaanyizibwa ku kukwasisa empisa eri abakozi baffe be ziba zisiiwuuseeko.

Bwe mba njagala okufuna ebbaluwa ezimpa obuyinza ku bintu by’omufu (Letters of Administration) nsasula omusolo gwa ssente meka?

Ebbaluwa ewa omuntu obuvunaanyizibwa bw’okulabirira eby’obugagga by’omugenzi (Letters of Administration) egabwa kkooti ewuliriza emisango gya famire (Family Court), ng’eno etuula Makindye. Ebbaluwa eyo tesasulirwa musolo, kyokka waliwo ekiwadiiko ekissibwako omukono oyo aba aweereddwa olukusa okulabirira ebyobugagga by’omugenzi, nga kino kimanyiddwa nga Administration Bond. Kino okukikakasa ng’akiwandiiko okikkirizibwa mu mateeka, kisasulirwa omusolo gwa Stamp Duty gwa UGX15,000.

Add to Bookmarks
Please login to bookmark Close
Add to Bookmarks (0)
Please login to bookmark Close

No Comments yet!

Your Email address will not be published.

Skip to content